TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Enkuba etandise yiga engeri gy'onoosima ekidiba okwerinda ekyeya

Enkuba etandise yiga engeri gy'onoosima ekidiba okwerinda ekyeya

Added 9th September 2013

ENKUBA k’etandise okutonnya, buli mulimi alowoolereza mu kusiga, kituufu era osaanidde okusimba kuba ye sizoni.



Wiiki ewedde twakulaze engeri ekyeya gye kikosezaamu ebitundu bingi mu Buganda. Wiiki eno tutandise okukulaga engeri gy’oterekamu amazzi mu nkuba eno etonnya.

Bya EDWARD SSERINNYA
ENKUBA k’etandise okutonnya, buli mulimi alowoolereza mu kusiga, kituufu era osaanidde okusimba kuba ye sizoni.

Naye abalimi abamu bwe balaba enkuba beerabira nti ate ekiseera kijja kutuuka omusana gwake.

Nga bw’oli mu kusimba, wandibadde olowooza ne ku ngeri gy’oyinza okuterekamu amazzi ate gakuyambe mu biseera eby’ekyeya.

Godfrey Kigoye ng’ono asomesa byabulimi ate nga musimi wa bidiba mu Katende Harambe Rural Urban Training Center e Nsawo-Namugongo, agamba nti, waliwo engeri ennyangu omulimi mw’ayinza okuyita n’afuna ekidiba, oba sinakindi okukyesimira.

Kigoye agamba nti okusima ekidiba ekisookerwako tekyetaaga ssente nnyingi, katutwale ekyokulabirako ky’ekidiba ekya ffuuti 10 ku 10 mu bugazi n’obuwanvu.

Kino kisobola okutereka amazzi agasoba mu liita 20,000, kino okukisima oba weetaaga emitwalo nga 500.000/- gyokka.

Ekidiba kw’ozimba ennyumba osobola okukozesa akakadde kamu n’ekitundu ate ky’ozimbisa seminti okozesa ezisoba mu bukadde obusatu.

Okusima ekidiba
Kigoye agamba nti olumala okusima ekidiba, funa ekiveera. Obugazi bw’ekiveera eky’ogeddwaako waggulu, kiba n’obugazi bwa ffuuti 70, wabula zino ogula ffuuti 10 emirundi nsanvu olwo ne bakitunga kuba teri kiveera kiweza ffuuti 70.
Oluvannyuma okyaliirire mu kinnya.

Ebidiba bya mirundi ebiri Kigoye agamba nti, waliwo ekidiba ng’amazzi bifuna ga mukoko, gano omugaso gwago guba gwa kufukirira.

Ng’osima ekidiba eky’ekika kino, omukutu oguleeta amazzi nga ganaatera okuyiwa mu kidiba, simawo obunnya bubiri bwa fuuti ssatu ku ssatu, buno bujja kuyamba okusengejja amazzi agagenda mu kidiba, era ffaayo okubulongoosaamu ettaka buli lwe bujjula.

Ekidiba ekyokubiri amazzi gaba gava ku nnyumba, era okozesa engogo ne payipu okusobola okugatuusa mu kinnya, mu mbeera eno osobola okuzimba ku kidiba kino ennyumba n’eba nga wansi waliyo mazzi ate nga waggulu okolerayo emirimu gyo emirala.

Wabula waliwo n’engeri endala ey’okugula ttanka nayo ekuyamba okutereka amazzi, g’enkuba.

 

Enkuba etandise yiga engeri gy’onoosima ekidiba okwerinda ekyeya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?

Kakooza ng’alaga bwe yabuuse ekikomera.

Poliisi eyogezza eyakwatidd...

POLIISI eyogezza omusajja eyakwatiddwa ku by'okumenya n'okubba amaka we bazaala omugenzi Ssaabasumba Cyprian Kizito...