TOP

Okulima kasooli kungaggawazza

Added 9th September 2013

SAM Kanimba agamba nti okukola ennyo n’okuba omugumiikiriza mu bulimi n’obulunzi kimuyambye okutuuka ku buwanguzi.




Bya HENRY NSUBUGA
SAM Kanimba agamba nti okukola ennyo n’okuba omugumiikiriza mu bulimi n’obulunzi kimuyambye okutuuka ku buwanguzi.

“Ettaka kwe natandikira okulima yiika 13 nasooka kulipangisa wabula bannannyini lyo ne
bagamba nneegule era nagenda mbasasula mpola.

Kati nnina eryange lya yiika 28, Kanimba bw’agamba. Kanimba mutuuze mu disitulikti
y’e Mukono n’e Buikwe.

Akolera e Lunnya-Wankobe ekisangibwa mu ggombolola y’e Naggojje mu disitulikiti y’e Mukono ssaako ku kyalo Nsenya ekisangibwa mu ggombolola y’e Kawolo mu disitulikiti y’e Buikwe.

Kanimba alunda ente eng’anda ng’alima ne kasooli, lumonde, ensujju, muwogo n’ebitooke.
Nakolanga ku ffaamu ya Mehta ey’ebikajjo okumala emyaka 17 nga Clerk nga bwe nnima ekitonotono wabula bwe nnawummula omulimu ne ngukwasa maanyi.

Nsinga kulima kasooli era mufunyeemu ssente mwempeeredde abaana. Yiika 8 sizoni nziggyamu obukadde 6 ebisoolisooli ne mbiriisa ente mu kyeya

Engeri gy’alima kasooli
Sizoni eyaakaggwa nasimba yiika munaana eza kasooli mu nnimiro eri e Kawolo. Nakozesa ttulakita okwanguwa okuteekateeka ekibangirizi era yantwalako emitwalo 96.

Nnagula ensigo za Long 10 kkiro 80. buli kkiro yali ku 4000/- .

Mu kusimba buli kinnya nassaamu ekigimusa ekya Dap. Nnagula ensawo z’ebigimusa 2 ku mitwalo 6 buli emu.

Abakozi abaasiga n’okukoola nabasaasaanyaako emitwalo 70 Kasooli bwe yaweza emyezi 2 namufuuyira okusobola okutta n’okuziyiza obuwuka obwandimwanganze, era nakozesa emitwalo 15 ku mulimu guno.

Nasimba mu layini bbiri bbiri, ng’okuva ku layini eziriraaniganye ebbiri ndekawo ffuuti 1.5 ate layini engazi ezaawula ne ndekawo ffuuti 3.5. Ennima eno nagiggya mu musomo gw’ennima ey’omulembe.

Kasooli amala emyezi 3 okukula kati nze ngattako omwezi mulamba ogw’okukala n’okukungula ne giba 4.

Ebikolo kw’onoga kasooli bw’oba n’ekyuma obisalaasala n’obipaakinga n’obikaza n’obitereka ente zibirya mu budde obw’ebbula ly’omuddo. Ate nze oluusi mbikozesa okubikka olusuku lwange.

Kanimba mu lusuku.

Ssente ze nafuna mu kasooli
Nakungula ttani 12 nga zino ze kkiro 12,000. Buli kkiro nsuubira okugitunda nnusu 700 bwe nnaaba ntunze kasooli mukalu nga si kawunga.

Mu sizoni yonna mu kulima kasooli nateekamu obukadde 2,090,000 ku yiika zino 8. Nsuubira okufunamu 8,400,000.

Ate ku nnimiro y’e Naggojje nafunyeeyo ttani 10 nga ze kkiro 10,000. Siwagira balimi batunda kasooli ng’akyali mubisi kuba kino kifiiriza.

Lwe mba nkubisizza akawunga lwe nsinga okufunamu kuba nfuna ebikongoliro ate bye nkozesa ku ffaamu yange, ‘maize brand’ ate naye gwe ntunda oba ne ndiisa ente.  Akawunga nkaguza amasomero, n’amaduuka amanene mu Lugazi.

Ebitooke
Mu kiseera kino nnina yiika emu ey’ebitooke lwe nasimba mu 2010. Nnina ebikolo 450. Mbirabirira bulungi era oluvannyuma lw’okuzaala buli kikolo nkirekako ebikolo 3 ekikulu ekissizza ekinaatera okussa n’ekito ddala.

Bw’oleka ekikolo ne kiba n’ebitooke ebingi kiviirako olusuku okukanduka amangu.

Endabirira ewangaza olusuku
Tetulina kulima mu lusuku kuba bw’olimamu otema emirandira omuddo tukuula mukuule.
Okusimba olusuku tusima ebinnya ffuuti 3 ku 3 ate tubiwa amabanga ga ffuuti 10.

Nga twakasimba olusuku tusimbamu ebijanjaalo oba ennyaanya, ebyo olumala okubikungula
ng’ambikka.

Tukola kye bayita okuttira nga kino kwe kutta ensukusa eziba zijja okusukka kw’ezo z’oyagala,

Okusobola okukuuma olusuku nga lulamu nga terugenzeemu biwuka, weewale okuleeta obwambe, enkumbi, ejjambiya ne najjolo okuva ebweru ate n’obikozesa mu lusuku lwo.

Ekitooke tokireka kubeera na mpummumpu kumala bbanga. Kino kiyamba okugoba enjuki ezinuuna omubisi mu mpummumpu kuba zino nazo zitambuza obulwadde bw’ebitooke

Buli mwezi mu lusuku muno ntemamu enkota z’amatooke eziwera 100 nga buli nkota ngitunda 10,000. Omwaka nfunamu obukadde 18.

Ente
Nnunda ente eng’anda, nga ku ffaamu mpezaako nga 20. Zino olw’okuba si za lulyo lwamulembe, ente 6 ezikamibwa zimpa lita 15 ez’amata.

Ndowooza kudda mu kulunda ente enzungu kuba zzo zivaamu amata agawerako. Nalundako ente enzungu mu mwaka gwa 1989 era nga zaali zinkolera bulungi naye olw’okuba nali ate nkola ewa Mehta zannema okulabirira obulungi nga n’abantu be nteekako okunnyamba tebalina kye bakola kyamugaso era ne nsooka nziyimiriza.
 

Okulima kasooli kungaggawazza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mukyala Nsegumire nga yeetondera Mboize.

Aba NRM mu Kampala beeyuliz...

Olukiiko olwayitiddwa okutabaganya abeesimbyewo ku kkaadi y’ekibiina kya NRM mu Kampala Central n’abo baamegga...

Mwine Mukono

Mwine alina emisango mu kkooti

OMUBAKA wa munisipaali ya Mityana, Francis Zaake yaloopa DPC Mwine Mukono ne banne okuli RPC Kagarura n’abalala...

Mwine ng'ayogera eri abatuuze b'e Mityana abaali beekalakaasa.

Ebikolobero ebizze birondoo...

ABADDE aduumira Poliisi y’e Mityana, Alex Mwine Mukono eyaduumidde abaakubye ttiyaggaasi mu bannaddiini n’abeekika...

Ssentamu ng'asiiga langi ku ddame.

Bayize okukola ebitimbibwak...

HADIJAH Ssentamu akozesezza ekiseera ky’obulwadde bwa ssennyiga omukambwe okugatta obwongo n’abaako ky’ayiiya....

Ono oluggya yaluteekamu ebitebe abantu we bawummulira.

Engeri gy'osobola okukola s...

Oluggya bwe lusukka mu lumu ziba ziyitibwa empya era ebimu ku byafaayo byalwo mu Uganda lubadde lwakwewunda nga...