TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Engeri gy'olwanyisa endwadde mu nnaanansi n'otofiirwa

Engeri gy'olwanyisa endwadde mu nnaanansi n'otofiirwa

Added 14th October 2013

ENNAANANSI kye kimu ku birime ebitandise okujjumbirwa abalimi b’omu Kyaggwe okweggya mu bwavu, olw’akatale ke zirina mu ggwanga n’ebweru waayo.



Bya PADDY NSOBYA
ENNAANANSI kye kimu ku birime ebitandise okujjumbirwa abalimi b’omu Kyaggwe okweggya mu bwavu, olw’akatale ke zirina mu ggwanga n’ebweru waayo.

Wabula waliwo be ziremye okubaza ne bawalirizibwa okuzivaako kyokka ng’obuzibu
buvudde ku nnima.

Omukugu mu byobulimi, Baagala Walusimbi agamba nti ennaanansi kirime kirungi kigumira embeera y’obudde mu bitundu bya Uganda bingi ate kigumira ettaka ery’olunnyo okusinga ebirime ebirala.

Agamba nti bw’oba ozirimye mu nnima eyomulembe n’ozipimira n’amabanga amatuufu
nga ffuuti 1 ku 1 ku 3 mu yiika emu mubaamu ebikolo 21,600. Buli kibala bw’okitunda ku 300/- mu yiika ofunamu 6,480,000/-.

Musa Bisaso, omusuubuzi w’ebibala mu katale ka Kame Valley Market mu kibuga Mukono, agamba nti ennaku zino ennaanansi bazisuubula wakati wa 500/- ne 2000/-, okusinziira ku bunene.

Ku bbeeyi eno eriwo mu yiika emu omuva ennaanansi 21,600 buli nnaanansi bwogitunda
ku sh 500/- ofuna obukadde 10,800,000/-. Mu mwaka ennanansi zibala omulundi gumu.

EBIKA BY’ENNAANANSI:
Baagala agamba nti ennaanansi zirimu ebika ebirungi nga Smooth Cayene ezitalina maggwa mangi ku bikoola, ne Queen ez’amaggwa naye Smooth Cayene ziwooma nnyo ate ze zisinga okulimibwa mu Uganda.

ENTEEKATEEKA Y’ENNIMIRO
Zaagala okulima ku ttaka eritaliimu bbumba era eritalegamamu mazzi. Zigumira ettaka n’embeera y’obudde mu bitundu by’eggwanga bingi ate zigumira n’ettaka ery’olunnyo.

Ennimiro esaanidde okulongoosebwa n’okumalamu omuddo emiwangaazi ng’olumbugu,
olusenke, kanyeebwa n’emirala.

OKUSIMBA:
Endokwa ng’ozifunye zinnyike mu ddagala nga ‘Marshal EC’ oba ‘Diazinon’ okuziyiza obulwadde n’ebiwuka. Ezinnyikiddwa zisimbe obutasussa nnaku musanvu.

Simba ennaanansi mu nnyiriri nga zeesudde amabanga ga ffuuti ssatu okuva ku lunyiriri okudda ku lulala ate mu buli lunyiriri ennanansi ziwe amabanga ga ffuuti bbiri okuva ku kikolo okudda ku kikolo.

Bw’oba oyagala okugejja gano ge mabanga g’okozesa era mu yiika mugendamu ebikolo
5,400. Amabanga amalala gali ffuuti 1x1x3. Ffuuti emu okuva ku kikolo okutuuka ku kikolo ate ennyiriri okuva ku lumu okudda ku lulala.

Ennaanansi osobola okuzigimusa n’ebikuta by’emmwaanyi oba nnakavundira oba n’ebigimusa ebizungu nga N.P.K ne Urea.

Zimala emyezi emyezi wakati w’omukaaga ne 16 okubala okusinziira ku kika, endabirira
n’obugimu bw’ettaka. Ekibala kimala emyezi esatu okwengera.

EBITAWAANYA ENNANANSI:
Ennaanansi zirumbibwa ebiwuka nga ‘Root Mealy bugs’ n’obusiring’anyi oba ‘Nematodes’ obukwata emirandira ne binuunamu amazzi ne gikala.

Ebikoola byengerera n’ekirime ne kikonziba era obunaanansi bubeera butono. Obuwuka buno bufaanana nga obukulungwa obweru.

Kozesa eddagala lya ‘Diazinon’ oba ‘Carbosulfan’ ng’ogoberera ebipimo ebikuweebwa abakugu.

Waliwo ne Scale Insect nga buno bukwata ku bibala ne buleetawo oluziroziro. Kozesa ‘Malathion EC’ okubugoba.

Amavuuvumira nago galumba ennaanansi nga zikuze ne gaziwumulamu ebituli. Galwanyise ne ‘Ambush’ oba ‘Duducyper’.

Obulwadde; Okwengerera ebikoola n’ebikoola okukalirira ku busongezo kiva ku bbula lya biriisa mu ttaka kale omulimi osaanye okulaba ng’oyongeramu ebigimusa.
Ennanansi obutawooma.

Kino kitera kuva ku kukozesa ebigimusa bya Nitrogen mu ngeri enkyamu ne bisukka ku biriisa ebirala kale bw’oba okozesa ebigimusa ebizungu sooka weebuuze ku mulimisa bakebere ettaka lyo.

Ebigave oba ebintu ebya kitakataka munda mu nnaanansi nga bino bireetera ennaanansi okubwatuukirira n’obutawooma.

Ennaanansi ezirumbiddwa ‘Root Mealy bugs’ ne ‘Scale Insect’ ze zitera okufuna
obuzibu buno n’ezo ezifuuyiddwa n’eddagala lya ‘Glyphosate’ nga zitaddeko. Weewale eddagala lino ate lwanyisa n’ebiwuka ebyo.

Engeri gy’olwanyisa endwadde mu nnaanansi n’otofiirwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omubaka Ocan ng'akwasa Kalidinaali ebirabo.

Kalidinaali asiimye Omubaka...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala alabiseeko mu lujjudde oluvannyuma lw’ebbanga ng’abantu bamwebuuza. Kalidinaali okulabikako...

Poliisi ng’etwala Galabuzi (ku mpingu) ne mukyala we (ku ddyo) ku poliisi.

Babakutte kutulugunya mwana

ABATUUZE b’e Mbuya Kinnawattaka- Katoogo bavudde mu mbeera ne batabukira abafumbo abaludde nga batulugunya omwana...

Mugula ng’akutte amagi amafu ge baabakutte nago. Mu butono nabo baakwatiddwa.

Abagula amagi amafu ne bako...

POLIISI y’e Katwe ekutte abasajja bana abagambibwa okugula amagi amafu ne bakolamu keeki ze baguza abantu e Nateete....

Abazannyi ba Police nga bajaganya.

Police efunvubidde ku kikopo

Airtel Kitara 2-3 URA Police 3-1 Onduparaka UPDF 2-0 Mbarara City POLICE FC obusungu bw’okukubwa Vipers ebumalidde...

Derrick Kakooza, eyateeba ggoolo ey'obuwanguzi ku Mauritania.

Hippos erwanira World Cup

Leero mu Africa U-20 Cup of Nations (Quarter) Cameroon -Ghana,1:00 Burkina Faso - Hippos, 4:00 ez'ekiro ...