TOP

Ennyaanya nzifunamu lwa butalimira ku sizoni

Added 14th April 2014

Leero edward sserinnya akuleetedde Joseph Katende e Wakyato - Nakaseke mulimi wa nnyaanya wabula akakodyo kakozesa okuzifunamu talinda sizoni ya nkuba kubanga afukirira.

 

Leero edward sserinnya akuleetedde Joseph Katende e Wakyato - Nakaseke  mulimi wa nnyaanya wabula akakodyo kakozesa okuzifunamu talinda sizoni ya nkuba kubanga afukirira.

ENNYAANYA kimu ku birime ebiyinza okukufuula omugagga ffugge singa oba oyize saayansi w’ennima yaazo, naye esinga okukola obulungi y’eyo gy’obazizza mu biseera by’omusana n’etuuka ng’akatale kakalu.

Joseph Katende omulimi w’ennyaanya e Wakyato mu Nakaseke agamba nti, ye okufuna mu kulima takyadda mu byakulinda nkuba kuba yakizuula ng’afiirwa kwe kufuna pampu era okuva lwe yagifuna kati takyaliko sizoni ya nnyaanya olumu aleka okuzirima ng’abaze nti akatale tekajja kuba kalungi.

Ayongerako nti, ye yakiraba dda ng’ennyaanya erimiddwa mu biseera eby’omusana y’esinga okukwata ensimbi kuba bangi bavaamu olw’obutasobola kufukirira.

Olw’embeera eno bangi balemwa okufuna mu nnyaanya, kuba obusobozi bwabwe buba mu kulima sizoni ya nkuba, buli w’asimbira ne batundira mu kidibo.

Ennyaanya ng’eri ku kidibo bookisi egula wakati 25,000/- ne 50,000/- kino kiba kitono nnyo kyokka nga aba yalima ku musana bookisi agitunda wakati w’emitwalo 25 ne 40.

Sizoni z’ennyaanya ziri mmeka?
Kino kirime ky’osobola okufuula obutabaako sizoni singa oba okifukirira ng’ozirimira ebweru oba mu kiyumba (Green House).

Wabula nga bw’olaba ebijanjaalo singa oba ozirima kwankuba bw’osimba mu March oba okungula mu gwamukaaga oba ogw’okutaano nga guggwaako okusinziira ku kika ky’ennyaanya ky’oba walima. Ate abasimba mu gwomunaana bo bakungula mu November.

Okuyiwa beedi
Katende agamba nti, okuyiwa nnassale beedi, olina kusooka kutegeka nnimiro w’ogenda okuyiwa, mu kalimiro kano olina okutemaatema ettaka ne ligonda bulungi era kikulu nnyo okuteekamu nnakavundira oba obusa nga buwoze bulungi, bino bikola ekigimusa ne zikula mangu, era singa olaba nga tezikula bulungi oyinza okufuuyirako Rapid grow ne zidduka mangu.

Omulimi ng’apika amazzi.

Beedi era kyandibadde kirungi okugiyiwa mu nnimiro mwennyini n’otokoowa nnyo ng’osimbuliza.

Bw’oba oyiwa ensigo z’ennyaanya, osobola okuyiwa beedi ng’omansa bumansa mu kalimiro, oba okuyiwa mu layini era ng’enkola eno y’esinga okuba ennungi, singa beedi ogirabirira bulungi mu wiiki ssatu oba osimbuliza, wabula Katende ye beedi agiyiwa amansa olwo n’ekola ekibira n’asimbuliza.

Mu mbeera eno olina kulondamu bulokwa bunyirira bwokka okusobola okukwata, okukula n’okudduka amangu.

Jjukira nti, singa obudde buba bwa musana olina okufukirira beedi yo buli ku makya n’akawungeezi ate ne bw’oba omaze okusimbuliza nga biseera bya musana kuuma ng’ofukirira.

Ng’omaze okuyiwa, bikkako ebisubi ofukirireko amazzi singa ettaka liba temuli mazzi bulungi. Bwe wayitawo ennaku nga ssatu bubikkule ozimbeko akayumba waggulu, serekako na ssubi, naye olina okumanya nti muyitamu amazzi n’ekitangaala okusobola okukula.

Okufukirira
Singa oba ozirimye kumpi n’ekidiba ggwe oli bulungi kuba osobola okukuba amazzi ng’ogatwala butereevu mu nnimiro.

Jjukira nti waliwo pampu ezikozesa ebigere ng’osamba n’endala ezikozesa emikono. Zino zibeera wakati wa 180,000/- ne 350,000/- ate ezikozesa amafuta ziba wakati w’emitwalo 80 n’okweyongerayo.

Gwe atali ku mazzi, oyinza okusima ekidiba okumpi n’ennimiro yo n’ofukirira ng’amazzi ogakuba gava omwo oba okufuna obupipa obunene n’okozesa obwo.

By’olina okukola okubaza ennyaanya
Kuuma ennimiro nga nnyonjo: Kirungi okukuuma ennimiro nga temuli muddo, kino kijja kukuyambako kuba ebiwuka bibulwa we byalulira amagi gaabyo, kino kikuyamba okukuuma ennyaanya zo nga tezirumbibwa biwuka.

Ebikola mu nnimiro: Enkumbi, ebiso n’ebintu ebirala byonna ebikola mu nnimiro yo kisaanidde okuba nga tobyazika, kuba buli lw’okikola ate omulala asobola okubikozesa mu nnimiro erimu obulwadde nga Kiwotokwa ne butambula naawe n’obufuna mu nnimiro yo.

Era kakasa nga ekuuma ebikozesebwa byo mu nnimiro nga sizoni eweddeko.

Ezirwadde zikuule: Buli lw’olaba akannyaanya akayongobevu mu nnimiro kakuulemu, kubanga kandiba kanaaluzaala w’obulwadde.

Eziwotokedde ddala nazo zikuule, towaliriza kuba zino zandivaako obulwadde ne bubuna omusiri gwonna. Era ennyaanya gy’olaba nga mbi togiteekako bigimusa.

Ebigimusa: Kuuma ennimiro yo ng’okozesa ebigimusa bino biyambako mu kugimusa ennyaanya n’okuzikuuma nga tezirumbiddwa bulwadde nga si nyongobevu.

Wabula weewale okutabiikiriza ebirime ebirala mu nnimiro yo okugeza nga taaba okumusimba mu nnyaanya, kino kyongera omukisa obulwadde bwa taaba okukwata ennyaanya.

Okufuuyira: Engeri ebiseera bino gye biri eby’enkuba, omulimi ng’olina omusiri gw’ennyaanya kisaanidde okuba ng’ofuuyira, eddagala ly’ekikome, kyokka era tolina kusuula kufuuyirako ddagala litta buwuka olwo n’osobola okukuuma ennimiro yo nga terumbibwa buwuka.

 


Kkampuni ya Vision Group efulumya Bukedde, ekwataganye ne bbanka ya dfcu, ekitebe kya Budaaki mu Uganda  ne kkampuni y’ennyonyi eya KLM okunoonya omulimi n’omulunzi asinga mu Uganda.

Abanaavuganya mu mpaka zino mujja kutuweereza amannya gaabwe tubatuukirire tubawandiikeko buli Mmande okutuuka mu September.

Anaanywa mu banne akendo waakufuna obukadde150 tumutwale n’okulambula abalimi n’abalunzi abaatikirivu mu Budaaki.

Omuwanguzi waakulangirirwa mu October 2014.


Ennyaanya nzifunamu lwa butalimira ku sizoni

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...