TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Okulima emmwaanyi ngattako okuzisuubula ne nfuna ekiwera

Okulima emmwaanyi ngattako okuzisuubula ne nfuna ekiwera

Added 14th April 2014

BASHIR Ziraba agamba nti, enjogera y’Abaganda egamba nti, Enkumbi terimba eyagireeta ddala kituufu yagituusa.



Bya SAUL WOKULIRA
BASHIR Ziraba agamba nti, enjogera y’Abaganda egamba nti, Enkumbi terimba eyagireeta ddala kituufu yagituusa.

“We nnatandikira okulima nga tewali kintu kyonna kye nnina wadde ettaka eryange ku bwange we nnimira era natandikira ku “zero” kyokka kati nfuna obukadde obusoba mu 200,” Ziraba bwe yagambye.

Ziraba yagambye nti, yamala ebbanga ddene ng’avuga bodaboda y’akagaali ka maanyi ga kifuba okutuusa lwe yafuna endowooza ey’okwenyigirako mu kulima.

Okukuuma ebitabo ng’awandiika ennyingiza n’ensaasaanya kimuyambye nnyo okukulaakulana n’okutwala mu maaso pulojekiti ze ez’obulimi.

“Nnatandika okweyazika ettaka kwe nnalimiranga ebirime ebyangu nga kasooli nga bwe nsonda ssente ne ntandika okugula bupoloti nga kati we twogerera nnina ettaka eriweza yiika 40 era omwaka we guggwerako nsobola okuyingiza obukadde obusoba 200 ezisinga ku zino nga nziggya mu kulima ate endala mu kusunsula emmwaanyi n’okuzirima,” Ziraba bwe yagambye.

Ziraba ng'ali mu nnaanansi ze

Ziraba alimira ku kyalo Kikwanya mu Ggombolola y’e Kangulumira mu disitulikiti y’e Kayunga.
Alima ennaanansi ku yiika 10 n’agattako emmwaanyi ez’ekika kya kolono n’olusuku gaggadde.

Ono y’omu ku balimi Ssaabasajja Kabaka wa Buganda be yalambula mu Bugerere era n’amusiima n’amuwa n’ekitiibwa eky’okuba omulimi asinga mu Ssaza ery’e Bugerere.

Ennimiro ya Ziraba yafuuka ssomero era abalimi bangi bajeeyuna ne basobola okuyigirako ennima ey’omulembe era ey’amagoba.

ENNAANANSI
Ziraba alina ebikolo by’ennaanansi 100,000 mu nnimiro ye era zino azikungula mu sizoni ssatu.
Agamba nti, ennaanansi emala emyezi 18 okukula olwo omulimi n’atandika okugikungula.

Agamba nti, ennaanansi ze ku musiri azitunda wakati wa 800/- ne 2,000/- okusinziira ku bunene bwayo buli emu era ng’azitwala Juba mu South Sudan ne Nairobi mu Kenya.

Agamba nti, ennaanansi zeetaaga okulekera amabanga ga fuuti ttaano okuva ku layini emu okutuuka ku layini endala ate mu layini emu okuva ku kikolo okutuuka ku kikolo ekirala balekawo fuuti emu n’ekitundu nga kino kiyamba ekikolo okufuna ebbanga eddene okwagagala n’okussa ennaanansi ennene.

Ziraba buli bbanga lya myezi ena aba akungula ennaanansi ze sizoni ssatu buli mwaka era sizoni bw’eggwaako ayitamu n’azisalira ne zisobola okuleeta ennaanansi endala ate olwo endokwa z’aba aggyeeko nazo azitunda eri abo abaagala okulima emisiri emipya.

Mu mabanga g’ennaanansi asimamu enkonko zino ne ziregamya mukoka n’atayita buyisi mu nnimiro era nga kiyamba okukuuma obugimu bw’ennimiro.

Ziraba Alima n’emmwaanyi.

EBITOOKE
Mu mabanga okuva ku layini emu okutuuka ku layini endala mu musiri gw’ennaanansi yayisaamu layini z’ebitooke kuno kw’agatta olusuku olw’etongodde lwe yasimba lwa yiika ttaano era buli mwezi atunda enkota z’amatooke 350 ate amalala n’agatwala mu maka ge ne bagalya. Enkota nzitunda wakati wa 8,000/- ne 15,000/- okusinziira ku bunene.

Agamba nti, eky’okubeera n’emmere emala mu maka kimuyambye okukendeeza ku nsaasaanya nga ssente ze yandibadde akozesa mu kugula emmere azitereka n’agaziya emirimu gye.

Abalimi bensuubulako emmwaanyi mbawa emisomo ku mutindo

ZIRABA alina omusiri gw’emmwaanyi gwa yiika 20 era nga sizoni anogamu kkiro eziri wakati wa 36,000 ne 40,000.

Agamba nti, emmwaanyi zino bw’azinoga azitwala ku kyuma kye yazimba e Kangulumira n’azisunsula n’atunda kase olwo n’asobola okwongera ku nsimbi z’afuna.

“Okusobola okuyimirizaawo ekyuma ekyo nsuubula emmwaanyi okuva mu balimi abalala era wano ewange ntegekera abalimi b’emmwaanyi emisomo ne mbayigiriza engeri y’okukuuma omutindo okusobola okuzifunamu ekiwera,” Ziraba bw’agamba.

Akubiriza abalimi n’abantu bonna obuteenyooma kubanga buli omu asobola kasita abeera omumalirivu kubanga naye yali avuga bodaboda ate kati mulimi omukuukuutivu.

Okulima emmwaanyi ngattako okuzisuubula ne nfuna ekiwera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...