TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Lwanyaga ssente azikola mu kutunda malagala: 'Sizoni emu nkola ezisoba mu bukadde 10'

Lwanyaga ssente azikola mu kutunda malagala: 'Sizoni emu nkola ezisoba mu bukadde 10'

Added 14th April 2014

ABALIMI abasobodde okuzaaza (okwaza) ebirime balowooleza nnyo mu bintu ng'emmwaanyi, obutunda, emiti gya kalittunsi n’ebirala wabula ebirime nga lumonde tebabifaako olwo abalimi ne basigala nga bakozesa amalagala agatali malungi.



Bya EDWARD SSERINNYA

ABALIMI abasobodde okuzaaza (okwaza) ebirime balowooleza nnyo mu bintu ng'emmwaanyi, obutunda, emiti gya kalittunsi n’ebirala wabula ebirime nga lumonde tebabifaako olwo abalimi ne basigala nga bakozesa amalagala agatali malungi.

Mw. Vincent Lwanyaga, omulimi w’e Kikoota-Nkozi mu Mpigi agamba ye yalaba wano omwagaanya mu kulima lumonde n’atandika enkola ey’okuzaaza mu malagala n’agaguza abantu ssekinnoomu n’ebitongole eby’obwannakyewa.

Lwanyaga agamba nti, amaze emyaka egisoba mu 15 ng’alima lumonde era y’omu ku baguza abasuubuzi abatundira lumonde e Nkozi ne mu Lwera ku lw'e Masaka. Yaganda okulaba ng'omuntu atunda lumonde yekka tafuna nnyo kwe kusalawo okugenda e Kaabanyolo gye bakolera okunoonyereza ku bika bya lumonde ebyomulembe ng’ayambibwako aba Harvest-Plus n’ayigirizibwa abakugu engeri gy’alongoosaamu amalagala n’agaguza abalimi nga tegalina kirwadde kyonna. Era omulimu guno ogw’okwaza amalagala agukolera ku yiika nnya.

Okulongoosa amalagala 

Lwanyaga agamba nti, yakola nnassale ye nga muno mw’asookeza amalagala oluvannyuma n’agaggyamu n’agatwala mu nnimiro okugaaza olwo n’alyoka agaguza abalimi. Wabula ng’amaze okufuna amalagala okuva e Kabanyolo oba e Kiteezi, asooka kufumba ttaka ng'akozesa tekinologiya omwangu.

Agamba, yagula eppipa n’agisalamu entamu bbiri nga zino z’akozesa okufumba ettaka ng’alitadde mu kakutiya, waggulu n’ateekayo kalumonde oba omunwe gw'ettooke, kasita alaba nga guyidde olwo ng’amanya n’ettaka liyidde era obuwuka bwonna buba bumaze okufa.

Oluva awo ng’ettaka limaze okuwola, alitwala mu kayumba ka nnassale n’alisaasaanyaamu, olwo n’asimbamu amalagala. Mu kayumba kano ye yekka y’agendamu kuba aba yeewala abantu okuyingizaamu obulwadde ate naye asooka kulinnya mu ddagala. Muno amalagala gamalamu emyezi ebiri n’atandika okugasimbuliza.

Olina kugalima mu musana

Lwanyaga agamba ekimuyamba okutuukiriza omulimu gwe, w’alimira waliwo ekisenyi era bw'oba tolina mazzi tosobola mulimu gwa kuzaaza mu malagala kubanga ggwe agalima olina kugalima mu musana olwo abantu bbo ne bagalima mu nkuba. Ate naawe bw’ogalima mu nkuba olwo oba onoogaguza ani anaagalima mu musana? 

Abasinga mu kuzaaza amalagala we baviiramu kubanga tebalina busobozi bugafukirira. Ebika by’alima kuliko Naspot 8 abangi gwe bamanyi nga 11 ono abeera mumyufu kungulu ate munda wa kipaapaali, Naspot 1 (Bwenje) ono abeera abera wa nnamata ate munda abaamu ne kakyenvu katono, Naspot 12 ne 13 wa kipaapaali munda nga gano baagakolera Namulonge, Ejumula, Vita, Kakamega on yenna abeera wa kipaapaali ne Ssemanda ono abeera mumyufu kungulu ate nga munda mweru.

Amalagala asooka kugamereza mu kiyumba nga tannagasimba mu nnimiro

Okwaza amalagala 

Lwanyaga agamba nti, kikulu okusooka okufuna obukugu mu mulimu guno ate naawe okugukola nga ogwagala kubanga gutawaanya naddala mu kufukirira.

 Ennimiro mw’osimba amalagala erina okuba ng’erimiddwa bulungi, totema bikata ng’osimba lumonde kuba olwo tegajja kwala wabula gajja kukuwa mmere, sso nga si ky'ekigenderererwa kyo.

Oyinza okuteekawo obukata obutono nga buwanvuyirivu nga bw’olaba bwe batera okusimbako obummonde, olwo lumonde aba tasobola kugejja, olwo amalagala gajja kuba nga gaala.

Amalagala nga gasaakaatidde wadde tolina katale gasalemu, ogagabe oba ogasuule kuba ate gajja kuduumuuka nnyo olwo ekigendererwa kiba kifa. 

Ekirala olumu tekyebeereka naye singa olabamu amalagala agafudde nago gakuulemu kuba ate gaba gajja kulwaza amalala. 

Wabula osobola n’okwerinda ng'ofuuyirako eddagala eritta obuwuka. Ennimiro eyaza amalagala singa oba ogirabiridde bulungi esobola okulawo emyaka ena ku etaano ate nga bw’oteegeka endala.

Nkola obukadde 19

Lwanyaga agamba nti, abantu bagenze bajjumbira okulima lumonde ate n’ekitongole kya Harvest-Plus kimuyambyeko mu kutunda amalagala. Era ku mulundi guno yafunye wooda ya nsawo 1290, naawe kubisaamu ku 15,000/- buli nsawo olabe ezivaamu. 

Bye nfunyeemu 

Lwanyaga agamba nti, asobodde okuyamba abantu okufuna amalagala agomulembe ne baaza emmere mu kitund mw’abeera ne mubitundu ebirala. 

Asobodde okuzimbamu amaka, okuwereera abaana nga kati alina babiri abamaze okusoma ku yunivasite ate n’abalala basoma okwo gattako okutambuza obulamu bwe n’amaka ge. 

 

Lwanyaga ssente azikola mu kutunda malagala: ''Sizoni emu nkola ezisoba mu bukadde 10''

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssentebe Sserunjogi ng'alaga olukalala oluliko abantu be yagobye.

Ssentebe agobye abakulembez...

Ssentebe w'e Bujuuko agobye abakulembeze ku lukiiko lwe lwa kumutyoboola mu bantu. Francis Sserunjogi ow'e Bujuuko-...

Omugagga Dodoviko Mwanje ( ku kkono ) ng'ali ku kkooti e Kololo ne SSP Rashid Agero.

Okuwulira omusango oguvaanw...

WADDE nga gavumenti yamaliriza okunoonyereza ku musango oguvunaanibwa omugagga Dodovico Mwanje amanyiddwa nga Dodo...

Kityo eyakuliddemu enteekateeka y'ekyoto ng'ayogera.

''Ababuvuka mugondore amate...

OMWAMI wa Kabaka atwala eggombolola y'e Nsangi, Wasswa Mathias Kutanwa asabye abavubuka okuba abasaale mu kulwanyisa...

Abamu ku baana abaafudde.

Poliisi eyingidde mu by'aba...

POLIISI mu disitulikiti y'e Rakai eyingidde mu kunoonyereza ku kituufu ekyaviiriddeko abaana aba famire emu, abataano...

Brenda Nairuba ng’apooca mu ddwaaliro ly’e Kamuli-Mulago.

Bba amutemye lwa kumumma ma...

Maama wa bbebi ow'emyezi ebiri apooca. Ali ku kitanda mu ddwaaliro ly'e Kamuli-Mulago ekkulu oluvannyuma lwa bba...