TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • 'Ennyaanya zannema ssente nzifunye mu kulima bimuli'

'Ennyaanya zannema ssente nzifunye mu kulima bimuli'

Added 23rd June 2014

GEORGE Kazibwe omutuuze w’e Sekiwunga ekisangibwa e Mawokota mu disitulikiti y’e Mpigi amaanyi agatadde mu kulima bimuli by’agamba nti bimusingira okulima ebyokulya abantu bye basinga okwettanira.



Bya HELLEN BABIRYE  NE GEORGE BUKENYA


GEORGE Kazibwe omutuuze w’e Sekiwunga ekisangibwa e Mawokota mu disitulikiti y’e Mpigi amaanyi agatadde mu kulima bimuli by’agamba nti bimusingira okulima ebyokulya abantu bye basinga okwettanira.

Kazibwe agamba nti yasooka kulima nnyaanya wabula ne zimulema kwe kutandika ku bimuli mw’afunye ssente eziwera n’aweererako abaana n’okulabirira amaka ge.

Agamba nti waliwo ebika by’ebimuli ebirimibwa bingi wabula ye amaanyi asinze kugassa mu bimuli ebiyitibwa Chrynthemuma. Abirimira ku yiika 4 era ng’omwaka afunamu obukadde okusukka mu 20 kw’atoola ez’okugula eddagala n’okusasula abakozi.

Okubifunamu agamba nti abirima omwaka gwonna sso si kulinda nkuba. Engeri gy’aliraanye ekisenyi yagula akuuma akasika amazzi n’agakung’aanyiza mu kidiba. Kino kimusobozesezza okukungula emirundi esatu omwaka. Engeri gye yatandika okulima ebimuli aginyumya bwati;

Okutandika okulima ebimuli
Saalina ssente nnyingi kutandika kulima bimuli era nnalina emitwalo 30 mwe nnagula ensigo. Kubanga bikula mangu nsobodde okugaziwa n’okufuna ssente.


Kazibwe mu kiyumba mwalimira ensingo z’ebimuli.

Ennima y’ebimuli
Ebimuli ng’ebirime ebirala byetaaga ettaka eggimu. Byagala ettaka erigonda ate nga liyiika ate nga teriregamamu mazzi.

Ebimuli bitawaanyizibwa nnyo obuwuka obuyinza okukufiiriza nga bulya ebikoola n’ebimuli. Bino mbirwanyisa nga mbifuuyira eddagala eritta obuwuka buno nga Datamaster oba erya Locut.

Ng’obirabiridde bulungi nga bifunye n’amazzi agamala mu myezi ebiri n’ekitundu oba okungula.
Ebimuli byagala amazzi era mbifukirira emirundi esatu olunaku. Ku makya mbifukirira mu ttuntu n’akawungeezi.

Obutakosebwa nnyo musana ebimuli mbibikka okumala wiiki bbiri. Bwe bimala okukwata mbibikkula bimulise ekimuli.

Ekimuli bwe kyelambulula kiba kituuse okutundibwa era olina okukyanguyira okukisala, bw’olwawo kyonooneka.  Ensigo y’ebimuli ngirimira mu biyumba ne nsimbuliza ebweru nga bikuze.

Okusoomoozebwa
Ekimu ku bizibu ebisinga okunsumbuwa y’empewo n’enkuba bwe biyitirira byonoona ebimuli.
Abasuubuzi abamu abajja okugula ebimuli balyazaamaanya ssente ne zitavaayo bulungi.

Mu biseera ky’omusana nsaasaanya ssente nnyingi okuggya amazzi mu kisenyi n’ogasindika mu kidiba nga mu wiiki nkozesa liita bbiri okugula amafuta ga petulooli ekyuma ge kikozesa.

Ebbeeyi y’eddagala eritta ebiwuka n’ebigimusa nayo eri waggulu ate oluusi biba bya bicupuli.

Akatale
Ebimuli mbitunda Kampala era mbisuubuza ab’amaduuka ku pioneer Mall n’abantu basekinnoomu abagula eby’emikolo. Akatale tekantawaanya. Ebimuli mbitundira mu binywa ebiri wakati wa 2,000/- ne 4,000/- okusinziira mu kiseera.

By’afunye
Nguze poloti ne nzimba n’ennyumba. Nfunye emmotoka ennyamba okutambuza ebimuli.

‘Ennyaanya zannema ssente nzifunye mu kulima bimuli’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aloysious Mukasa ( ku ddyo) ng’ayambaza owa bodaboda ekikoofiira kye yamuwa.

Abavuganya abayiye ssente m...

Mukasa avuganyiza ku kaadi ya NUP mu Lubaga South bw'omuzza mu kyama agamba nti bw'abalamu ssente ze yakasaamu...

Ekimu ku bizimbe by’omugagga. Mu katono ye Baseka ne Kisige

Eyanoba emyaka 30 akomyewo ...

MARY Norah Baseka baamukuba embaga mu 1981. Yatabuka ne bba n’anoba kati emyaka 30 egiyise. Wabula bwe yawulidde...

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...