TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Yiga ennima y'entangawuzi zireme kukumalamu maanyi nga tezibaze

Yiga ennima y'entangawuzi zireme kukumalamu maanyi nga tezibaze

Added 30th June 2014

Entangawuuzi kye kimu ku birime abantu kye batakyayagala kujjumbira kuba zimanyi obutadda ate oluusi n’okuzifunamu ssente ntono.





Bya MUZAFALU KATAMBA


Entangawuuzi kye kimu ku birime abantu kye batakyayagala kujjumbira kuba zimanyi obutadda ate oluusi n’okuzifunamu ssente ntono.

Muhammad Ssozi, omulimi w’entangawuuzi e Simba mu Ggombolola y’e Kibibi e Butambala agamba nti entangawuuzi kye kimu ku birime ebirimu ssente singa omuntu aba azinyiikiridde ate n’asobola okugumiikiriza okusoomoozebwa okuzirimu.

Okulima entangawuuzi kw’amuwonya ennaku y’obusomesa ey’okulindanga omusaala ogw’omwezi ate nga gwali tegumumala olw’ebyetaago ebingi bye yali alina. Obudde bw’amala mu kusomesa yabukendeeza n’ayongera amaanyi mu kulima.

“Entangawuuzi nzirima sizoni emu ne nfuna ssente ezikubisa mu musaala gw’omwezi gw’obusomesa gwa mwaka”, Ssozi bwe yategeezezza.

Agamba nti yiika y’entangawuuzi agifunamu obukadde obutakka wansi wa munaana buli sizoni era nga ze zimuyambye okweggya mu bwavu.

“Yiika emu ngiggyamu wakati w’ensawo 25 ne 30 ez’entangawuuzi ennene oba ze bayita enzungu ate obutono oba ke bayita ‘akatangawuuzi akaganda’ ziba ensawo 20 ku 27 kubanga kko tekazitowa nnyo naye ate nga kaseerebwa okusinga ennene.

Buli nsawo kati ngitundira wakati w’emitwalo 38 ne 50 era yiika nsobola okugifunamu obukadde wakati w’omunaana ne 10”, Ssozi bwe yagambye.

Ennima y’entangawuuzi
Ssozi agamba nti ennima y’entangawuuzi y’evaako okubala n’okuba ennungi okusobola okuziganyulwamu oba okukusala.

Agamba nti ensigo z’entangawuuzi osooka kuzimenyamenya n’ozaanika ennaku nga 4 oluvannyuma n’ozibikkira mu kifo ekirina ettaka eggimu ate nga wannyogovu nga wansi w’omuti ne zisooka zireeta emitunsi nga tonnazisimba ne zisobola okumera amangu.

Ensigo ng’ozibisse ozifukirira buli lunaku singa tebiba biseera bya nkuba ate ku nkuba osobola okuzifukirira oba okuzireka okusinziira ku bungi bw’enkuba era nga kino kiziyamba okufubukuta emitunsi amangu ne zanguwa okumera era kiyinza okuzitwalira wiiki 2 ku 3 okusinziira ku ndabirira”.

Nga zikubye emitunsi, oba olina okuzisimbuliza mu kifo kye wayooyoota obulungi. Nziwa amabanga agefaanaanyirizaako ag’ebijanjaalo.

Wabula ebinnya biba biwanvuko yinki nga 5 oba 7 okugenda wansi kubanga zikula zidda ku ngulu buli lwe zigejja.

Entangawuuzi ekubalira singa ogiwa bulungi ekigimusa ekimala era nga gy’okoma okugiwa ekigimusa n’okukubalira.

Wadde ng’entangawuuzi zaagala amazzi agazimala mu ttaka naye tezirimibwa mu ntobazzi ettaka lirina okuba nga liyiikayiika.

“Bwezitandika okubala zidda ku ngulu era kasita zitandika okuleeta emitunsi otandika okuzifuuyira ekigimusa oba okuzongerako obusa n’okuzitemerako ettaka kiziyambe okugejja.

Bw’oba ozitemera olina okwegendereza obutazitema kubanga buli gy’otema eba eddirira oba okuvunda era weegendereza ng’okozesa enkumbi naye enkumbi y’amannyo y’eba esinga obulungi ku azitandika obutandisi okuzirima.

Ayongerako nti ng’entangawuuzi ziwezezza emyezi musanvu toddamu kuzitemera kubanga awo ziba zitandise okukula nga tezikyeyongerako nnyo kugejja naye nga nazo osobola okuzibikka singa zisangibwa sizoni y’omusana ate n’okuzifukirira n’ozikuumiramu obunnyogovu obuziyamba okugejja.

Okusomoozebwa
Abantu abasinga entangawuuzi bazitya lwa bbeeyi yaazo ekyukakyuka buli sizoni naye okukirwanisa entangawuuzi ozisimbira mu mitendera n’otafiirwa lumu.

Okugula eddagala erifuuyira nalyo liri ku buseere kyokka ng’entangawuuzi bw’otozifuuyira kizibu kuzifunamu.

Omusana nagwo gusumbuwa kubanga kasita guzookya emitunsi nga tezinnakula ziddirira ne zivundira mu ttaka naye nga bwe zikwatibwa omusana ozifukirira buli lunaku oba n’okozesa eddagala lya Green miracle. Eddagala lya miiru 60 ly’otabula mu bbomba eya liita 15.

Entangawuuzi zeetaagisa kugumiikiriza era atasobola kugumiikiriza tazirima olw’ensonga nti ebbeeyi tetereera ate nga zitwala akabanga akawerako okukula.

Yakubirizza abalimi okwongera okufuna amagezi ku ebyo bye baba bateeseteese okulima nti kubanga kyongera ku mulimi okumanya n’asobola okuganyulwa mu ekyo ky’alima.

 

Yiga ennima y’entangawuzi zireme kukumalamu maanyi nga tezibaze

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...