TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Endwadde omulunzi z'alina okwerinda mu biseera by'enkuba

Endwadde omulunzi z'alina okwerinda mu biseera by'enkuba

Added 27th August 2014

ENKUBA etandise okutonnya, wano abalimi baba mu kwejaga nga basimba naye nga bwe bagamba nti essanyu ly’omu ate olumu eba nnaku y’abalala, ate abalunzi bbo baba ku kanaayokya ani olw’ensolo zaabwe okulumbibwa endwadde ezitali zimu.

Bya EDWARD SSERINNYA

ENKUBA etandise okutonnya, wano abalimi baba mu kwejaga nga basimba naye nga bwe bagamba nti essanyu ly’omu ate olumu eba nnaku y’abalala, ate abalunzi bbo baba ku kanaayokya ani olw’ensolo zaabwe okulumbibwa endwadde ezitali zimu.

Omusawo w’ebisolo e Nakawuka Jonhnbosco Jingo agamba nti, mu biseera by’enkuba ebisolo bitawaanyizibwa endwadde nga;

Ente 

1. Ebiwuka by’omu lubuto: Mu biseera by’enkuba ebiwuka byalula era bitawaanya nnyo ente. Obutakosebwa olina okuziwa eddagala ly’ebiwuka buli mwezi.

2. Kipumpuli: Guno musujja oguleetebwa kawawa n’ebivu, ate mu budde bw’enkuba kawawa n’ebivu biba bingi. Mu mbeera eno omulunzi alina kukanya kufuuyira, buli wiiki okusobola okugwerinda.

3. Omusujja gw’enkwa: enkwa zaalula nnyo, era omulunzi atafaayo kufuuyira nte ze aba talina ngeri yonna gy’ayinza kwewalamu musujja guno, genda mu maaso n’okufuuyira okutuusa ng’enkuba eweddeyo. 

Embuzi n’endiga

Alina embuzi oba endiga weerinde nnyo obulwadde bw’ekijonjobalo ne ssennyiga.

Embizzi

 Tezikosebwa kiri awo mu biseera byenkuba ate endwadde zaazo zisinga kutambula mu musana..

Enkoko 

1. Fowl typhoid: Guno musujja gutawaanya nnyo enkoko era guleetera enkoko okufuna ekiddukano, kirungi okuzigema buli luvannyuma lwa myezi ebiri, wabula gwe alina obukoko obuto ku mwezi olina okubugema omusujja guno.

2. Ekijonjobalo: Kino kivaako enkoko okufuna ekiddukano eky’omusaayi n’okumera oba okusuula obukooti era enkoko ogenda okugiraba wayita olunaku lumu n’obutawera n’efa. Mu biseera bino oziwa ku ddagala lya kosidiyosiisi mu mazzi.

3. Ssennyiga: Ono naye atambula nnyo mu biseera by’enkuba, era akosa nnyo enkoko n’olumu ezimu zifa. Okumulwanyisa enkoko ziwe eddagala lya Enrovet oba Tylosin mu mazzi.

Abalunzi b’enkoko balina okwegendereza ensanafu kuba nazo zibaawo nnyo mu biseera by’enkuba, si kirungi kusuula magumba oba ebintu ebirala ebisobola okuzisikiriza okuliraana ekiyumba ky’enkoko. 

Endwadde omulunzi z’alina okwerinda mu biseera by’enkuba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...