TOP

By'olina okwerinda ng'olunda enkoko obutakusala

Added 13th October 2014

KU Lwokutaano lwa wiiki ewedde Uganda yeegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’amagi, mu Uganda lwategekeddwa aba NOVUS International n’ebikujjuko by’okutabaala amasomero nga basomesa abayizi emigaso egiri mu kulya amagi.

Bya EDWARD SSERINNYA


KU Lwokutaano lwa wiiki ewedde Uganda yeegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’amagi, mu Uganda lwategekeddwa aba NOVUS International n’ebikujjuko by’okutabaala amasomero nga basomesa abayizi emigaso egiri mu kulya amagi.

Peter Ssenkungu, omukungu okuva mu NOVUS agamba nti, basabye n’emikutu gy’amawulire egy’enjawulo okugenda nga basomesa obukulu obuli mu magi n’okuwa abalunzi b’enkoko ez’amagi amagezi ku ngeri gye bayinza okutumbulamu omulimu gwabwe.

OLUGENDO LW’AMAGI MU UGANDA
Ssenkungu agamba nti, amagi gaatandika dda emyaka gisoba ne mu 500, wabula abalunzi nga tebalunda nkoko za kukola ssente nga bw’olaba ezirundibwa mu biyumba nga bettanira nkoko za waka era kyabanga kivve amaka g’omuntu obutabaamu nkoko.

Wadde ng’abamu baalundanga enkoko ne bazitunda, wabula ezisinga zaabanga za byabuwangwa nga zimala bibamba, abamu nga bazitwala ku basawo b’ekinnansi.

Wabula mu myaka gya 1950, enkoko zaatandika okujja wano mu Uganda ng’abantu banona obukoko ebweru naye era baabanga batono ddala ate abo abalina ku ssente ate nga bayivu. Mu 1987 okutuuka 1995 enkoko enzungu ez’amagi zaayongera okucaaka mu Uganda olwo abantu ne batandika okuzirundanga bizinensi.

Enkoko ezisinga okulundibwa wano ez’amagi kuliko Isa Brown eno eva Budaaki, Lohmann eno eva Girimaani kyokka ne South Afrika baafuna olulyo lwayo, Tetra y’e Hungary ne Dominant okuva e Czech Republic.

OKUSOMOOZEBWA MU MULIMU GW’OKULUNDA
Peter Ssenkungu omutabuzi w’emmere y’enkoko agamba nti, ekisooka tewali tteeka litambuza mulimu ogw’obulunzi bw’enkoko, erikwata ku bantu abatabula emmere embi nalyo linafu nnyo, tewali lirambika mutindo gwa ggi muntu ly’alina kulya ekikulu enkoko kasita eribiika nga balya.

Obuzibu obulala obuliwo bbeeyi y’ebirungo ebitabula emmere y’enkoko erinnya ekisukkiridde ne weesanga ng’olumu ccacu oba mukene alinnya nnyo ate amagi ne gasigala wansi.

Bbanka nazo tezeesiga balunda nkoko kubawola nsimbi, kuba zeekwasa nti omulimu guno kyangu omuntu okuteekamu ssente ne zifa kale ne kiba nga kikwetaagisa okuba n’erinnya okukwesiga.

Eddagala effu ku katale nakyo kifuuse ekizibu, nga bangi batunda eddagala eritali ku mutindo mu kifo ky’okujjanjaba ate ne likonya bulwadde ekivaamu abalunzi okufiirwa.

Simeon Kalanzi omusuubuzi w’amagi mu Kisenyi agamba nti, ekizibu ekirala ekikyali mu magi kwe kubulawo akatale akateredde nga kyangu okugasuubula 7,800/- okutuuka mu katale nga gali ku 7,500/- kino nakyo kifiiriza abasuubuzi ne badduka mu mulimu guno.

Ekirala akatale mu Bannayuganda katono ddala, kuba mwattu tebalya magi era gasinga kutundibwa mu mawanga agatwetoolodde nga South Sudan, Kenya, Rwanda n’amalala.


Ebirina okukolebwa okugonjoola obulunzi bw’enkoko

ABANTU basaanye okukomya okujja mu mulimu guno nga balowooza nti kuteekamu ssente nga kiwedde, sso nno ssente zeetaagisa naye amagezi n’obukugu ky’ekisinga obukulu bangi bayingiramu nga tebalina bukugu olufiirwa ne batandika kugukyayisa balala.

Mu mbeera eno Gavumenti esaanye okutegekangawo emisomo egy’enjawulo oba nga ku magombolola ne kiyamba abantu okufuna amagezi ku ngeri gye bayinza okukolamu omulimu guno obulungi n’okwongera ku bungi bw’amagi mu ggwanga.

Bayinvesita bangi beesulubabbye omulimu gw’okutabula emmere, singa Gavumenti eyongera okubasikiriza okujja mu mulimu guno batabule emmere kireetewo okuvuganya.

Ate kisaana n’okutunda emmere etali mpaakinge kukome, olwo abantu bagule emmere ng’eri mu buveera nga kuliko endagiriro y’abagitabula n’ebirungo ebyatabuddwa nga singa egaana okukolera omuntu alina w’atandikira okubalondoola.

Era Gavumenti esaanye okuwandiika n’okusunsula egabe layisinsi eri abo b’ezudde nti balina obusobozi obutabula emmere y’enkoko sso si buli asanga okuyingira mu mulimu kino kifiirizza nnyo abalunzi.

Abalunzi nabo basaanye okukomya okwagala layisi, okugula emmere lwakuba ya bbeeyi ntono kino kikyamu kubanga olumu weekanga ng’olowooza ofunamu kumbe ofiirwa bufiirwa.

Gavumenti esaana egaane abantu okutwala kasooli mu mawanga g’ebweru. Balina kutundayo buwunga ccacu ava ku kasooli n’aweebwa enkoko abalunzi ne batadaaga.

 

 

By’olina okwerinda ng’olunda enkoko obutakusala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...