TOP

Yiika bbiri ez'entungo nfunamu obukadde 2

Added 24th November 2014

Omukulu okuva mu kibiina kya Blessed Organic Release Limited, Margaret Laloyo yatandika kaweefube w’okulwanyisa obwavu e Gulu ng’abantu bayita mu kulima entungo

Bya Noah Jagwe


Omukulu okuva mu kibiina kya Blessed Organic Release Limited, Margaret Laloyo yatandika kaweefube w’okulwanyisa obwavu e Gulu ng’abantu bayita mu kulima entungo n’okukungula ebitontogolo ebigwa ku miti gya shea nut nga bakozesa ennima ey’obutonde era eyambye bangi okufuna ssente ezibabeezaawo ne bawona okusabiriza

Ekitundu kyakosebwa nnyo entalo era nga balowooza kuweebwa buyambi.

Abasinze okujjubira okulima b’e Gangbero, Latanya, Omia, pachwa ebisangibwa e Pader ne Gulu.

Okulima entungo

Ongwec Walter, 27, ne Godfrey Okello be bamu ku balimi b’entungo. Balina yiika bbiri, bagamba nti bakungula ensawo ttaano nga buli emu ya kkiro 100.

Ongwec alima ekika ky’entungo ekimanyidwa nga “Lagimo”mu lulimi olucholi. Ekika kino kibala nnyo ate tekirumbibwa biwuka era agumira embeera z’obudde bwonna.

Engeri gye balabirira ennimiro yaabwe baginnyonnyola bwe bati;

Entungo tezeetaaga kufuutiika. Okuva ku kikolo ekimu okutuuka ku kiddako olekawo ffuuti bbiri ne zeegazaanya bulungi okubala.

Tetukozesa ddagala zzungu kutta buwuka ku ntungo. Twekolera eddagala mu bikoola bya neemu tree, katunguluccumu, evvu ne kaamulali.

Ennimiro tugirimamu omuddo ne gutanyuunyunta bigimusa ebiyamba ntungo okukula obulungi.
Entungo zikulira mu bbanga lya myezi esatu ku ena n’otandika okukungula.

           Enkungula y’entungo ey’omulembe

Abalimi b’entungo bangi babadde bagikwata bubi ne batta omutindo kuba mubaamu ettaka.

Omukungu okuva mu Blessed Organic, Margaret Laloyo agamba nti abalimi babatendese mu nkungula empya etetta mutindo. Abalimi bakubirizibwa okwanika entungo ku lutandaalo oluzimbiddwa. Kuno kw’osiba ebinywa by’entungo okutuusa lw’ekala.

Omulimi alagibwa okusimba akatandaalo kano okuva wansi nga aleseeyo sentimita ssatu. Wansi n’oyaliirirawo akaveera.

Kwata akati okube ku binywa ng’ensigo, bwe kunkumuka ku kaveera.

Laloyo agamba nti, bagezaako okugula entungo ku balimi baabwe ku bbeeyi eya waggulu okubazzaamu amaanyi. Kkiro y’entungo bagigula wakati wa 4,000/- ne 5,000/-.

Abasuubuzi obutatudondola ffenna bwe tukungula entungo tuzitereka wamu mu kyagi. Ffenna tuba n’ebbeeyi emu.

Abalimi balina n’ebibala ebiva mu muti ogumanyidwa nga shea nut. Omuti guvaako entontogolo nga zino baziguza abaamakolero abakolamu butto afumba, ebizigo n’amafuta agafumba.

 

 

 

 

 

Yiika bbiri ez’entungo nfunamu obukadde 2

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaaya ne ofiisa wa poliis...

POLIISI ng’eri wamu n’ekitongole ekirwanyisa obuli bw’enguzi mu maka g’obwapulezidenti ekikulirwa Lt. Col. Edith...

Pulezidenti Magufuli

Bawakanyizza obuwanguzi bwa...

Mu kiseera kino ng’ensi eri ku bunkenke olwa Corona era nga n’amawanga mangi gakyali mu muggalo, Magufuli yagaana...

Israel etenderezza Museveni...

EGGWANGA lya Israel litenderezza Pulezidenti Museveni olw’okuba omusaale mu kubatabaganya ne Sudan bwe baludde...

Badayirekita ba KCCA babiri...

YINGINIYA Andrew Mubiru Kitaka alekulidde emirimu gy’abadde akola mu kitongole kya KCCA. Ono nga y’abadde avunaanyizibwa...

Katikkiro Mayiga awabudde A...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...