TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • 'Okulunda kunnyambye okuliikiriza olusuku mu lukoola'

'Okulunda kunnyambye okuliikiriza olusuku mu lukoola'

Added 23rd March 2015

KKAMPUNI ya Vision Group efulumya Bukedde, ekwataganye ne bbanka ya DFCU, ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne kkampuni y’ennyonyi eya KLM okunoonya omulimi n’omulunzi asinga mu Uganda omwaka gwa 2015.

KKAMPUNI ya Vision Group efulumya Bukedde, ekwataganye ne bbanka ya DFCU, ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne kkampuni y’ennyonyi eya KLM okunoonya omulimi n’omulunzi asinga mu Uganda omwaka gwa 2015.

Abanaavuganya mu mpaka zino mujja kutuweereza amannya gaabwe tubatuukirire tubawandiikeko buli Mmande. Leero HERBERT MUSOKE akuleetedde omulimi w’emmwaanyi, amatooke, ennaanansi, alunda
embuzi n’ente Allan Ndugga , omutuuze w’e Kabala – Kivumu Kito e Nakaseke.

ABANTU bangi balowooza nti mu nkoola tedda mmere olw’embeera y’obudde n’ettaka ekkalu. Abaayo batera kwettanira kulunda. Mw. Allan Ndugga, omutuuze w’e Kabala-Kivumu Kito mu Nakaseke endowooza eno tagigoberera kuba waliyo amawanga agali mu ddungu kyokka ne geenyigira mu kulima. Ndugga mulimi wa nnaanansi, amatooke, emmwaanyi n’emiti kuno kwagatta okulunda ente, embuzi n’enjuki. Bino abikolera ku
yiika 45.

“Agamba nti yakizuula nti ettaka bw’oliriikiriza lisobola okuddako ky’osimbye”, Ndugga bw’agamba.

OKUTANDIKA

Bwe nnava mu ssomero mu 2006, nnasooka kusuubula wabula nnalina ettaka lye nnafuna ku jjajjange nga tewali kye ndikolerako.

Abantu mu kitundu ky’e Kabala-Kivumu Kito abasinga baali balunzi wabula nze nnakula ndaba bazadde bange balimi era nga ndaba bye nsobola. Nasalawo okutandika okulima ettaka nga ndiriikiriza n’obusa bwe nnafunanga mu balunzi abaninaanye. Natandika na kulima mmwaanyi, ennaanansi, amatooke n’ebirala

EMMWAANYI
Nnasooka kusuubula birime omuli emmwaanyi, ebijanjaalo, ssoya, kasooli n’ebirala. Wano ekitongole kya World Vision, we kyaggira nga kitutwala okutusomesa ku byobulimi n’okutulambuza abalimi ab’amaanyi omwali ffaamu ya
Mw. Kizza e Masaka ng’akyaliwo n’ekitongole ekinoonyereza ku birime naddala emmwaanyi e Ntaawo-Mukono.

Kino kyannyamba okuyiga ebikwata ku byobulimi naddala emmwaanyi era mu 2007 ne nsimba kolono ku yiika 3. Kati mpeza yiika z’emmwaanyi 10 nga buli sizoni nnoga ensawo 70-120.

Buli nsawo ezitowa kkiro 75-80. Bwe zikala nzitwala ku kyuma ne nzikubamu kase ng’ensawo evaamu wakati wa kkiro 40 ne 45. Sizoni ewedde nnamutunda 4,500/- buli kkiro. Kino kiba kitegeeza nti ensawo ngifunamu wakati wa 180,000/- ne 202,500/- buli nsawo ekitegeeza nti omugatte nfuna wakati wa 12,600,000/- ne 20,300,000/- mu mmwaanyi sizoni.

Ndugga mu mbuzi.

Sizoni ziba bbiri esooka nkungula nnyingi wabula eddala zikendeeramu.
Zino nzissaamu abakozi nga buli yiika bagirimira 80,000/-, ekitegeeza nti emmwaanyi nzissaamu 800,000/- okuzirima nga zirimibwa ebirundi ebiri omwaka.

ENNAANANSI
Mu 2010 nnatandika okulima ennaanansi oluvannyuma lw’okusisinkana ennaanansi mu kibira kye twali tusaawa okusimba ebitooke. Okuyiga ennima yaazo nnagenda e Kikyusa eri abalimi b’ennaanansi ab’amaanyi ne mbeebuuzaako n’okufuna endokwa.

Nnatandika ne yiika bbiri. Mu kiseera kino nnina yiika 5 nga muno nnogamu ennaanansi 700 buli wiiki kyokka nga mu kiseera kino yiika ssatu zokka ze zivaamu ennaanansi. Buli emu ngitunda 1,000/- ne kitegeeza nti buli wiiki nfuna 700,000/- omwezi n’enfuna 2,800,000/-.

Wabula okusoomoozebwa kwe nsinze okusanga mu nnaanansi ke bannange bakyagaanye okunneegattako.
Kati nkaluubirirwa okuzitambuza era bwe nkungula entono zinsala. Abalimi b’ennaanansi abalala bali Kukyusa mayiro nga 45 okuva e Kabala-Kivumu Kito.

OLUSUKU
Luno natandika ne yiika nnya mu 2012 era nnima bitooke ebyaffe omuli Kisansa, Kibuzi, Mpologoma, Nakitembe
n’ebirala. Ky’ekimu ku byannyamba okufuna mu bitooke kubanga bigumira embeera y’obudde kyokka nga biwooma emmere.

Muno ntemamu amatooke 80-120 mu biseera by’enkuba buli luvannyuma lwa wiiki bbiri ne ngatunda okuva
ku 8,000/- okutuuka 10,000/- okusinziira
ku bunene.

Nfuna 800,000/- ne 1,200,000/- omwezi. Mu kiseera ky’akasana ntema enkota 50 - 70 oluvannyuma lwa wiiki
bbiri oba ssatu kuba embeera ebeera nzibu ddala.

OKULUNDA
Okukendeeza ku nsaasaanya y’okugula obusa nnasalawo okubunguza ne kimpaliriza okutandika okulunda mu 2013. Kati nnina embuzi 50 n’ente 25 naye nga njagala kuweza embuzi 100 n’ente 50. Ntunda ku mbuzi naye nga ntunda
ezo ze ndaba nga zitandise obutakola bulungi. Embuzi eri wakati wa 100,000/ ne 300,000/- ate ente 800,000/- ne 1,000,000/-.

EBIRALA
Omwaka oguwedde nsimba kalittunsi yiika 10 era ne ntandika n’okulunda enjuki nga nnina emizinga munaana.
Bino byonna mbikolamu n’abakozi bange bakulirwa maneja Afrikana

Ampeyire nga nnina abakozi bana ab’enkalakkalira be nsasula 400,000/- omwezi n’abalala abajja okukola okusinziira ku kibeerawo.

OKUSOMOOZEBWA
Engeri gye tuli mu kyalo, amasannyalaze kikyali kizibu kya maanyi nga kino kikyannemesezza n’okutandika okugatta omuganyulo ku bye nkola.

Mu ngeri y’emu olw’okuba nti ekitundu kisingamu balunzi ebyuma nga tulakita z’okupangisa okukozesa kizibu kinene ate nga za buseere okugula omuntu omu.

Akasana nako katuyisa bubi olw’okuba nti ekituntu kikalu ate ng’abantu baatema nnyo emiti okwokya amanda olwo ekitundu ne kisigala nga kyererezi

 

‘Okulunda kunnyambye okuliikiriza olusuku mu lukoola’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakooza Mutale ng'aliko byannyonnyola.

Enkwe za baminisita ze ziwa...

MAJ. Kakooza Mutale awabudde Pulezidenti Museveni ku nsonga ezaamuwanguzza mu Buganda n'awakanya abakissa ku busosoze...

Balumirizza Cameroon eddogo

KATEMBA yalabikidde mu mpaka za CHAN eziyindira mu ggwanga lya Cameroon, omutendesi wa Zimbabwe, Zdravko Logarusic...

Pasita Musisi n’abazannyi ba Busiro abaasoose mu kkanisa ye e Kaggala, Wakiso ku Ssande.

'Ababaka mulwanirire emizan...

PASITA Paul Musisi, akulira ekkanisa ya Caring Heart Ministries e Kaggala mu Wakiso adduukiridde ttiimu y’essaza...

Abavubuka ba Yellow Power.

Aba Yellow Power baagala Ka...

ABAVUBUKA b'ekisinde kya Yellow Power mu NRM, nga bano bakola gwa kukunga bantu, baagala Ssaabawandiisi  w'ekibiina...

Omuteebi wa Busiro, Usama Arafat ng’asindirira ennyanda ku ggoolo ya Kyaggwe gye yawangula 2-1 mu gy’ebibinja. Eggulo, Busiro yakubye Mawogola 1-0 eggulo okwesogga semi.

Busiro ne Bulemeezi ziri ku...

BULEMEEZI ne Busiro zifungizza okuwangula ekikopo ky'omupiira eky'Amasaza ga Buganda. Bulemeezi yatimpudde Busujju...