TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • 'Yiika emu taata gye yampa ngikozesezza okugula endala 10'

'Yiika emu taata gye yampa ngikozesezza okugula endala 10'

Added 4th May 2015

Ono mu kiseera kino aweza yiika ezisukka mu 12 ng’alima kasooli, ebitooke, emmwaanyi, ennyaanya n’ebirala by’agamba nti bimuyambye okweyimirizaawo n’okugaggawala era ng’aliko enteekateeka ez’enjawulo z’atandise okulaba ng’asikiriza n’okutumbula okulima n’okulunda mu kitundu kino.

Mu kaweefube w’okutumbula ebyobulimi n’obulunzi kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde ng’ekolagana ne bbanka ya dfcu, ekitebe kya Budaaki mu Uganda, kkampuni y’ennyonyi eya KLM bajja kusunsula mu balimi n’abalunzi abeetabye mu mpaka z’omulimi asinga omwaka guno.

Abawanguzi bajja kugabana obukadde 150 n’okubalambuza ffaamu ezomulembe e Budaaki basobole okwongera okubayigirako.

Abavubuka abeenyigira mu bulimu n’obulunzi abakola obulungi baakuwangula obukadde 10.
Leero HERBERT MUSOKE akuleetedde Jackson Kirabira omutuuze w’e Mibongwe mu disitulikiti y’e Mityana ng’alina kasooli, emmwaanyi, ebitooke n’ebirala.

JACKSON Kirabira ow’e Mibongwe-Maanyi mu Ssaza ly’e Busujju, Mityana, ettaka lya yiika emu kitaawe Ssaalongo Mukasa lye yamulekera alikozesezza okufuuka omu ku balimi abamanyiddwa mu Mityana olw’obungi bw’ebirime naddala emmwaanyi by’akungula.

Ono mu kiseera kino aweza yiika ezisukka mu 12 ng’alima kasooli, ebitooke, emmwaanyi, ennyaanya n’ebirala by’agamba nti bimuyambye okweyimirizaawo n’okugaggawala era ng’aliko enteekateeka ez’enjawulo z’atandise okulaba ng’asikiriza n’okutumbula okulima n’okulunda mu kitundu kino.

OKUTANDIKA
Bakadde bange baali balimi era nga balunda kyokka nga wadde baali bafunamu ssente ezituyimirizaawo naddala okutusomesa n’okutulabirira okulima kuno twali tetukutwala ng’omulimu oguvaamu ssente.

Mu 1996 nnatandika okulima kwa bizinensi era nga nnatandika na kasooli. Ennaku zino nnima yiika za kasooli ttaano nga ntera okukungula ttani 10 (kkiro 10,000).

Kasooli wange nfuuyira mufuuyire okusobola okutta omuddo era nga nkozesa abakozi basatu be nsasula 5,000/- buli lunaku nga kiyinza okutwala ennaku nga ssatu okuba nga bamaze okumufuuyira olwo ne batwala n’endala nga 27 nga bamuzzaako ettaka asobole okunywa obulungi amazzi anyirire.

Wano mbeera nsaasaanyizza 450,000/- ku bakozi ate ng’okufuuyira yiika ettaano kitwala ccupa z’eddagala taano nga buli emu egula 14,000/- olwo eddagala ne litwala 70,000/- ng’omugatte kitwala 590,000/-.

Mu ngeri y’emu n’okukungula mbasasula 5,000/- olunaku nga kiyinza okututwalako wiiki bbiri okumumalamu ne kitwala 105,000/- ate okumukongola nkozesa kuuma akakozesa amafuta ga petulooli nga buli liita ekongola kkiro 20 ne kitegeeza nti kkiro 10,000/- zitwala 1,625,000/- ekitegeeza nti nsaasaanya 2,215,000/-.

Kasooli ono mutunda mu mberenge nga sizoni ewedde twamutunda ku 500/- buli kkiro ne kitegeeza nti nnamufunamu 5,000,000/- ne kitegeeza nti nsigaza 2,785,000/-.

EBITOOKE
Oluvannyuma lw’okusimba emmwaanyi ne zitandika okubala n’asalawo okusimba n’ebitooke. Mu 2011 nnasimba olusuku olutongole lwa yiika emu nga nnina kika kya Mpologoma ne Nakitembe.

Muno ntemamu enkota 30-40 omwezi ne nzitunda 10,000/- buli mwezi ne kitegeeza nti nfunamu wakati 300,000/- ne 400,000/-.

Olusuku lwange nnalubikka okukuuma amazzi, obugimu n’okulwanyisa omuddo era muno nsinga kukuulamu bukuuzi muddo.

EMMWAANYI

Emmwaanyi zimanyiddwa nti ky’ekirime ekivaamu ssente mu Uganda wadde nga mu kiseera kino n’ebirala byonna ebyali bitatundibwa nabyo bisobola bulungi okutundibwa ne tubifunamu ssente.

Nnina yiika mukaaga mu kiseera kino ez’emmwaanyi nga muno nkungulamu ensawo 60-70 mu sizoni esooka. Eyookubiri nkungula ensawo ezisoba mu 30 nga buli emu ngibalira kkiro 75.

Zino zitwala ku kyuma ne baziggyako akakuta. Buli kkiro 100 eza kibooko nfunamu kkiro za kase 60. Kino kiba kitegeeza nti nkungula wakati wa kkiro 4,500 ne 5,250 ate sizoni eyookubiri nfuna 2,250 olwo ne nfuna kase kkiro 2,700 ne 3,150 ne 1,350 nga buli kkiro egula 4,000/- olwo ne nfuna 10,800,000/- oba 12,600,000/- sizoni esooka ne 5,400,000/- eyookubiri. kyokka nga zino nzeekoleramu nzekka okuzirongoosa.

Emmwaanyi zino okuzikungula abakozi mbasasula 1,500/- buli ndebe ng’endebe 12 ze zikola ensawo enkalu ekitegeeza nti buli nsawo enogebwa 18,000/- ne nsaasaanya 1,080,000/- oba 1,260,000/-. Ate mu sizoni eyookubiri nsaasaanya 540,000/-.

Mu ngeri y’emu buli nsawo etambuzibwa 4,000/- ne kitegeeza nti nsaasaanya 240,000/- ne 280,000/- ate sizoni eyokubiri 120,000/-. Kitegeeza nti nfuna 9,480,000/- oba 11,060,000 ate mu yookubiri 4,740,000/-.

ENNYAANYA
Ntera kuzisimba mu biseera bya kasana kubanga wano zitwala eddagala ttono ddala ate zibeera n’akatale.

Oluvannyuma lw’ennyaanya zange okukula nnazitundira ku musiri ku bukadde busatu. Kirabika nga kifiiriza kyokka bw’ogenda e Nakasero oba mu katale akalala emirundi egisinga abasuubuzi batudondola nga bagamba nti oli mulimi olwo ne batatuwa ssente ziwera.

Ennyaanya zino nzikozesa okufuna ssente ezirabirira ffaamu ng’okunoga emmwaanyi, okufuuyira n’ebirala olwo ne ng’enda okufuna amakungula mu bino nga tewali zivuddemu ze ntaddemu oba okutundira ebyange ku musiri okusobola okumalako sizoni.

OKULUNDA
Mu 2013 nnafuna ente enkazi okuva mu nteekateeka ya Gavumenti era mu kiseera kino yazaala ennyana ennume ate ngeri ggwako lya mwezi musanvu ng’empa liita z’amata 10 olunaku.

Nnina enteekateeka y’okukola ffaamu ennene era nga nnasimbye ebisagazi yiika bbiri ne ku nsalossalo zonna okusobola okufuna ebisagazi by’okuliisa ente zange. Ente zino zinnyambye okwongera okugimusa ettaka kuba obusa bugenda mu mmwaanyi n’olusuku era birabika bulungi ddala.

OKUSOOMOOZEBWA
Ettaka lyange lirabika nga likaddiye era nga lyetaagisa okuliikiriza kyokka ebigimusa ebyandikozeseddwa bya buseere. Mu ngeri y’emu eddagala lye tugula erisinga jjingirire.

Wabula wadde nga waliwo okusoomoozebwa kuno kwonna nfunye okulaba nga ntambula n’embeera nga nkozesa ebigimusa by’obutonde, okulabira ku banange, okuyamba abalala okuyiga era ng’abantu naddala abali ku kyalo bangi abazze ne bayiga okulima nabo ne batandika nga n’okukuuma ebitabo kinnyamba okumanya kye nnina okukola.

‘Yiika emu taata gye yampa ngikozesezza okugula endala 10’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mukyala Nsegumire nga yeetondera Mboize.

Aba NRM mu Kampala beeyuliz...

Olukiiko olwayitiddwa okutabaganya abeesimbyewo ku kkaadi y’ekibiina kya NRM mu Kampala Central n’abo baamegga...

Mwine Mukono

Mwine alina emisango mu kkooti

OMUBAKA wa munisipaali ya Mityana, Francis Zaake yaloopa DPC Mwine Mukono ne banne okuli RPC Kagarura n’abalala...

Mwine ng'ayogera eri abatuuze b'e Mityana abaali beekalakaasa.

Ebikolobero ebizze birondoo...

ABADDE aduumira Poliisi y’e Mityana, Alex Mwine Mukono eyaduumidde abaakubye ttiyaggaasi mu bannaddiini n’abeekika...

Ssentamu ng'asiiga langi ku ddame.

Bayize okukola ebitimbibwak...

HADIJAH Ssentamu akozesezza ekiseera ky’obulwadde bwa ssennyiga omukambwe okugatta obwongo n’abaako ky’ayiiya....

Ono oluggya yaluteekamu ebitebe abantu we bawummulira.

Engeri gy'osobola okukola s...

Oluggya bwe lusukka mu lumu ziba ziyitibwa empya era ebimu ku byafaayo byalwo mu Uganda lubadde lwakwewunda nga...