TOP

Anaafuna mu bulimi tokyayinza kwesiba ku nkumbi

Added 24th August 2015

TOKYAYINZA kufuna magoba mangi mu bulimi n’obulunzi bw’oba togenda na mulembe. Bw’okozesa tekinologiya aliwo, ojja kukwata sizoni, ofune amakungula mangi nga ne ssente z’oggyamu zirabwako.

 Bya MADINAH NALWANGA

TOKYAYINZA kufuna magoba mangi mu bulimi n’obulunzi bw’oba togenda na mulembe. Bw’okozesa tekinologiya aliwo, ojja kukwata sizoni, ofune amakungula mangi nga ne ssente z’oggyamu zirabwako.

Emmanuel Miiro, omulimi era omulunzi w’e Kira ku kyalo Bulindo mu Wakiso, agamba nti okukozesa ebyuma mu kulima oba okulunda kye kisinga.

“Nze nkozesa tulakita era ennyambye nnyo okukwata sizoni,” bw’agamba. Nga nnaakatandika okulima, nnakozesanga nkumbi era oluusi nga nteekako n’abapakasi. Abapakasi nga yiika bagirimira omwezi mulamba ate ne banzigyako ssente ennyingi ddala, nga 200,000/-.

Buli kizibu ekyabatawaanyanga nga nange kinnyiga. Okugeza omukozi bw’alwala, okufi irwa oba okulwaza ng’emirimu gyange gifa ekyataataaganyanga sizoni yange.

KATI MPANGISA TULAKITA

Bwe nnatuula wansi ne mbalirira ssente ze nkozesa ku bakozi nga nnyingi. Kwe kusalawo mpangise tulakita okuva e Gayaza ku 130,000/- okulima yiika ennamba.

Tulakita ekozesa eddakiika 45 okulima yiika,” Miiro bw’agamba.

Agamba nti liita y’amafuta agayiibwa mu tulakita gali ku 3,100/-, yiika etwala liita 15- 20 ezimalawo emitwalo nga 70,000/-. 

Tulakita weerimye tewakaddiwa mangu olw’ebisubi by’ezingira mu ttaka ng’erima ebireeta ebigimusa.

OKWALUZA AMAGI

Miiro agamba nti oluvannyuma lw’okufuna ssente n’okuzuula obulungi obuli mu tekinologiya, yasalawo agule ebyuma ebyaluza amagi g’enkoko. Ekikye yakigula ku Kasolo akola ebyuma bino e Kira.

“Nagula ebyuma 5 ebyaluza amagi, buli kimu ku 10,000/-. Amagi olugassaamu gamalamu ennaku 12 ne gaalulwa. Ebyuma bino bitwala ekifo kitono ddala bw’obigeraageranya n’enkoko eziyinza okwalula amagi omutwalo, ate bizza amagoba mu bbanga ttono. Bw’oyaluza amagi, ebizibu by’obukoko okufa biba bitono,” Miiro bw’annyonnyola.

Ssente azikola mu kwaluza magi g’abalunzi abalala, buli ggi alyaluza nnusu 200/-.

Agamba nti muno yagulamu emmotoka ssatu ezimuyamba mu mirimu gye egya bulijjo.

EBBOMBA YA YINGINI

Charles Ssenfuma, omulimi w’e Seeta- Nazigo mu ggombolola y’e Nakisunga mu Mukono agamba nti naye akozesa kyuma okufuuyira ennyaanya.

“Ennyaanya nzirimira ku yiika bbiri naye nnakiraba nga bwe nkozesa abantu okuzifukirira kijja kutwala ssente n’obudde bungi.

Nnagula ebbomba efukirira ku 2,500,000/-; nkozesa petulooli liita 3 buli lufuuyira ku yiika ebbiri. Ebbomba eziweekebwa nnazikozesaako naye nga zitwala eddagala lingi ddala, zirwaza ekifuba kubanga buli bbomba ebeeramu liita 20.

Buli yiika ngifuuyiza liita z’eddagala ettabule 200, z’eppipa 10. Nnakizuula nga ebbomba eya yingini we nfuuyiza eppipa 10 yo nkozesaawo epipa ttaano,” Ssenfuma bw’annyonnyola.

Ssenfuma agamba nti ebbomba ya yingini etwala obudde butono kubanga yiika gye wandifuuyiridde essaawa 10 ate ng’okozesezza abantu nga bataano ku bbomba ya yingini okozesaawo essaawa bbiri, n’abantu babiri, akwatirira olukoba obutamenya nnyaanya, n’akwata oluseke olufuuyira.

Ebbomba ya yingini temenya kubanga teweekebwa ng’ey’oku mugongo, eddagala libuna ekikolo ky’ennyaanya kyonna ekitali ku bbomba eweekebwa.

Osobola okugikozesa ng’ofuuyira emiti emiwanvu nga ovakedo n’emicungwa ekitali ku bbomba ya ku mugongo ate tenywa nnyo mafuta.

Ebbomba ey’oku mugongo yeetaaga abakozi bangi ng’olimye wanene ate ng’abamu balina omuze gw’okubba eddagala. 

Eya yingini osobola okutabula lumu eddagala mu ppipa n’ovaawo kasita omanya liita ezigendawo, olwo gw’okozesezza n’akukolera omulimu n’omutima gumu nga temuli kukumpanya.

Anaafuna mu bulimi tokyayinza kwesiba ku nkumbi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...