TOP

Engeri esinga ey'okubaza muwogo ow'okutunda

Added 23rd February 2016

Omulimi ali mu bizinensi, osaana okukyusa obukodyo bw’olimisa muwogo. Yiika emu osobola okugifunamu obukadde 15 oba okusingawo bw’okozesa obukodyo buno.

 Ssewava Nsereko ng’alaga ekikolo kya muwogo ekirabiriddwa obulungi bwe kibala.

Ssewava Nsereko ng’alaga ekikolo kya muwogo ekirabiriddwa obulungi bwe kibala.

MUWOGO y’emu ku mmere ey’ettunzi ekiseera kyonna, kyokka abalimi bangi bakyamulimira mu nkola enkadde n’atabala nnyo.

Omulimi ali mu bizinensi, osaana okukyusa obukodyo bw’olimisa muwogo. Yiika emu osobola okugifunamu obukadde 15 oba okusingawo bw’okozesa obukodyo buno.

Mu nkola ey’omulembe, ssinga oba n’emiti emirungi n’embeera y’obudde n’ebeera nnungi, ekikolo kimu oba bibiri bivaako ensawo nnamba.

N’omulimi alimira ku poloti asobola okuteekawo ebikolo nga biibyo n’afunamu ssente. Ensawo ya Muwogo ennaku zino egula wakati wa sh 80,000/- ne 130,000/- ku musiri, okusinziira ku balimi Jimedine Nsereko ow’e Butambala ne Mohammed Kasirye ow’e Mukono.

Jimedine Nsereko Ssewava, omusomesa w’ebyobulimi e Nsozibbiri mu ggombolola y’e Kalamba mu Butambala agamba nti anoonyerezza ku nnima ya muwogo n’emiti gya muwogo egisimbibwa egitali gimu n’azuula ng’ekizibu ekisinga okulemesa abalimi okuyoola ssente mu muwogo si bbula lya miti mirungi, katale, ttaka ddungi, oba obulwadde wabula enteekateeka y’ennimiroembi.

“ Nnalondebwa mu 2012 nga Omumuli gwa Katikkiro eri abavubuka b’essaza ly’e Butambala mu byobulimi tukolere wamu nabo tweggye mu bwavu. Nina diguli mu busomesa ate ne satifikeeti mu byobulimi.

Abalimi bangi balima muwogo naye ekizibu ekitulemesa okumubaza y’ennima embi emugaana okubala.

Omutono gwe tufuna tumulima ku ttaka eddene ryandikoze ebirala. Nze kati nnima muwogo n’abala ne nfunamu kinene nga sikozesezza ttaka ddene.

Bwe nalondebwa, Katikkiro Ying. J.B.Walusimbi, nasalawo okunoonyereza ku nnima ey’ebirime eby’enjawulo abavubuka bye balima, era nazuula nti muwogo twali tumulima mu nkola enkadde.

Mu nnima ya bulijjo, abalimi ekiseera ky’okusiga bwe kituuka nga basaawa ebisambu, basima ebinnya nga basimba muwogo. Bw’amera nga balyoka bakoolamu.

Bwe wayitawo emyezi ng’ebiri nga baddamu bakoolamu nga n’okumutemera bamutemera. Tebafa nnyo ku bugimu bwa ttaka, wadde amabanga. Wabula emiti emirungi bagirina ate n’abatagirina basobola okugifuna.

Mu mbeera eno Muwogo tayinza kubala kuba enteekateeka y’ennimiro zaffe mbi.

OKUTEEKATEEKA ENNIMIRO YA MUWOGO

Muwogo ayagala ettaka eriddugavu, eggwanvu, ate nga liyiikayiika.

Teririna kulemaganamu mazzi oba okubaamu ebbumba. Emmere yonna ey’omu ttaka eyagala ettaka eggonvu n’esobola okwegazaanya nga tekaluubirirwa kuwaguza bw’eba ekula.

Ettaka bwe liba likaluba, ne bwe libeera ggimu nga n’emiti mirungi n’enkuba etonnya, muwogo tasobola kubala.

Nze muwogo mwanguyizaako ku mulimu gwe ogw’okubala. Ekisambu nsooka ne nkisaawa, ne nkabala, ne nkuba amavuunike ettaka ne lisobola okugonda.

Ekyo nga kiwedde, ngezaako okulisika nga nninga alituuma ng’agenda okutema ebikata kyokka siritemamu bikata. Kino nga kiwedde nsimba emiti gyange.

Nsima ekinnya kya ffuuti bbiri obuwanvu ne ffuuti ssatu obugazi. Nga mmaze okusima ekinnya nzizaamu ettaka eriddugavu ne likoma mu makkati awo ne nsimbamu emiti.

Mu buli kinnya nsimbamu emiti ebiri nga ngitegese mu ngeri y’akasaalaba ne mbikkako ettaka.

Emiti gino ntemaatekma gya ffuuti emu emu buli gumu. Mu makkati nkolokotawo akakuta kiyambe omuti okufuna emirandira emingi kubganga gino gye givaamu muwogo.

Emirandira gisinga kufubutuka eno ku busongezo omuti gye gukoma era ne muwogo gy’asinga okubalira.

Wabula ne mu makkati g’omuti bw’okolokotawo, wafubutukawo emirandira ekikolo ne kibaako muwogo mungi.

Ettaka bwe libeera eggimu, ebiriisa kitegeeza bibaawo mu bungi, emirandira gino gibikozesa ne gifuukamu muwogo ne giwanvuwa n’okugejja ne gigejja. Mu nteekateeka eno buli kikolo kibala.

AMABANGA, EBIKA, N’OKUGIMUSA

Mbadde ngezesa emiti egy’enjawulo okuva ku mipya ate n’egyaffe egy’edda naye gyonna kasita oteekateeka bulungi enimiro muwogo abalira ddala okukira bw’abadde abala. Waliwo ebika by’emiti egisukkuluma ku ginnaagyo okubala.

Mu gino mulimu Kamiiri, Kayumba, Nakacaacaali, Kiweererabaana n’emirala. Ayagaagala era ayagala amabanga amagazi.

Ono kumpi asimbibwa mu mabanga nga ga bitooke, ffuuti 10x10. Mu yiika emu nsimbamu ebikolo 450 era mba nsuubiramu ensawo ezisoba mu 200.

Akulira wakati w’omwaka n’omwaka ogumu n’ekitundu. Bw’oba ogenda kulima ku ttaka ng’olaba si ggimu osobola okukozeza ebigimusa nga Single Super Phosphate (SSP).

Bino bitabulwa mu ttaka nga tonnasimba. ‘Phosphte’ kye kiriisa ekisinga okuyamba emmere y’omu ttaka okubala n’okugejja kale bw’abula mu ttaka, emmere tebala.

Ebirala ebikulu ku kulima muwogo: Emiti gy’osimba giteekeddwa okuba emiramu ate toddira bikozesebwa ng’enkumbi n’ebiso ebiva mu misiri gy’oteekakasa okuyingira mu nnimiro yo sikulwa nga bijjirako obulwadde.

Muwogo bw’alwala nga tannaweza myezi munaana tofunamu. Ensangi zino ensawo ya muwogo eri ku 100,000/- ku musiri e Butambala kyokka w’etuukira mu Kampala nga zisusseewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...