TOP
  • Home
  • Emboozi
  • 'Olusuku ndusimbamu ennaanansi okufuna amagoba agawera'

'Olusuku ndusimbamu ennaanansi okufuna amagoba agawera'

Added 15th March 2016

OKUGOBAGANYIZIBWA ku mirimu ne mu bifo abantu we bakolera y'emu ku mbeera ebazza emabega.

 Naggalama ng’alaga ekitooke bwe kirabika bw’oba osimbyemu ennaanansi.

Naggalama ng’alaga ekitooke bwe kirabika bw’oba osimbyemu ennaanansi.

OKUGOBAGANYIZIBWA ku mirimu ne mu bifo abantu we bakolera y'emu ku mbeera ebazza emabega.

Abamu badda mu kwekubagiza, abalala ne batuuka okufa obumbula! Mustafah Masanga amanyiddwa nga Naggalama, omulimi e Buzibwera mu ggombolola y’e Kikyusa mu Luweero agamba nti wadde ng’okumulemesa omulimu gwe ogw’obukinjaaje kyasooka kumulumya mutwe, embeera gy’alimu essaawa eno emweyagaza era teyejjusa.

“Nali musuubuzi wa nte era nga zisala ennyama ne ngisuubuza bbuca e Kasawo, Busiika, Wabutungulu, Ziroobwe n'ebitundu ebirala.

Enjawulo gye nalina nti ennyama eyange nagitundanga bbeeyi ya wansiko okusinga abasuubuzi abalala.

Natandika okuwalanibwa bakinjaaje bannange ne babiyingizaamu ne bannabyabufuzi ne batuuka n'okwagala okunzita okutuuka lwe nadduka nneekweke okutaasa obulamu.

Embeera yasooka n’enkaluubiriza kyokka nasalawo okukozesa ssente entono ze nalina okutandika okulima era mu 2013 napangisa ettaka yiika mukaaga ku 500,000/- buli emu okumala emyaka etaano kwe nasimba ennaanaansi n'olusuku.

Wabula olw'okukaluubirizibwa kwa ssente, nasooka ne nsimba kasooli mu nnaaanansi okumala sizoni bbiri. Kino kyazikendeeza obunene, nga sizoni eweddeko nakungula kasooli kkiro 3,600 ze natunda ku 600/- ne nfuna 2,160,000/- ne zinnyambako okutwala ffaamu mu maaso.

  Naggalama ng’alabirira olusuku lwe.

 

ENAANAANSI

Mu makkati ga 2013 natandika okusimba ennanaansi. Buli yiika nagisimbamu ebikolo 1,500, mu mabanga ga ffuuti 2 ku 1.5.

Ekitegeeza nti kati nnina ebikolo 9,000 nga zino zitandise okukungulwa. We nasimbira ennaanansi nasooka ne nkozesa ssente ze nalinawo wabula natuuka ekiseera nga ssente zimpeddeko olwo ne ntandika okubyekolera naddala mu kiseera ky'okukoola.

Nabeeranga mu nnaanansi okuzikoola okutuusa lwe nazimaliriza.

Olw'okubulwa ssente, ebigimusa nabissa mu ttaka nga nsimba ennanansi kyokka kino tekizigaanye kukola bulungi era mpoomu ate nga sirina kye nziteekamu okuggyako okukakasa nti tezibeeramu muddo.

Ennaanansi etwala emyezi nga 24 okutandika okwengera ate osobola okuginogera emyaka esatu nga mu bulamu mwayo bwonna ekuwa ennanansi nnya.

Olunoga olusooka ekuwa ennanansi emu olwo n'efulumya ensukusa musanvu. Kuno otundako ttaano ku 50/- buli emu olwo n'olekako bbiri ezikuwa ennanansi bbiri mu mwaka ogwokubiri.

Kino kitegeeza nti buli kikolo kikuwa 250/- buli mwaka okuva mu nsukusa olwo mu yiika y'ebikolo 15,000 n'ofunamu 375,000/- mu nsukusa zokka. Nze nfuna 2,250,000/- mu nsukusa zokka buli mwaka kyokka nze ezange ηηenda kuzikozesa okusimba omusiri omulala gwa yiika 10 gwe ηηenda okusimba mu bitundutundu.

Buli lubala ennanansi efulumya ensukusa musanvu kyokka olw'okuba nti mu mwaka ogwokubiri ekikolo kitera okubeera nga kikuze era nga kikaddiye, olina kulekako ensukusa emu kireme kusinduka olwo omukaaga n'ogkuggyako.

Mu kiseera kino nafuna omukyala akungula ennaanansi, buli wiiki nkungulamu ennanansi 500 olwo omwezi ne mbeera nga ntunda 2,000. Okutwaliza awamu nzitunda 1,000/- ekitegeeza nti omwezi nfuna obukadde bubiri.

OKUSIMBA OLUSUKU MANYA BINO

Ayagala okutandika okulima ennanansi kikwetaagisa obukadde busatu okulabirira ennimiro ya yiika emu okutuuka lw'otandika okukungula. Singa obeera tolina ttaka, kigenda kukwetaagisa okupangisa ettaka nga buli yiika ya 500,000/-, okusaawa kwa 200,000/-, okukabala 200,000/-, okusimba 200,000/. Buli yiika egendamu ebikolo 1,500 nga buli ndokwa egula 50/- nga ze 75,000/-.

  Naggalama ng’alaga ekitooke bwe kirabika bw’oba osimbyemu ennaanansi.

 

 

Bw'ogattako entambula ya 450,000/- kitegeeza kikwetaagisa 1,625,000/-. Ennanaansi zidda nnyo awabadde ekibira kubanga wano omuddo tegumera nnyo ng’awabadde ekisambu ate n'obugimu bubeera bwa maanyi.

Ssinga obeera ogenda kukola obulimi bw'ennanansi ng'omulimu, bwe zitandika okwengera, wandibadde otandika okusimbawo omusiri omulala kubanga ssinga tokikola ne zituuka okukaddiwa ogenda kuviiramu awo.

OLUSUKU

Mu yiika omukaaga nninamu ebikolo by'ebitooke 1,200. Mu kiseera kino ntema amatooke asatu ku buli kikolo.

Kino kitegeeza nti omwaka ntema enkota 3,600 ze ntunda ku 10,000/- ne kitegeeza nti nfuna obukadde 36 okuva mu matooke omwaka.

Mu kiseera kino ntema amatooke okusinziira nga bwe gabeeramu kyokka nga buli lunaku nfuna wakati wa 45,000/- ne 50,000/- okuva mu bantu abagula amatooke ku nnimiro ekitegeeza nti omwezi mbeera nfuna 1,350,000/- oba 1,500,000/-.

OKULABIRIRA ENNIMIRO

Ennimiro eno ngikolamu nzekka okuviira ddala mu kukoola, okusalira n'emirimu emirala gyonna egy'okulabirira ennanansi n'olusuku.

Mu kiseera ky'okukungula naddala ennaanansi, abasuubuzi be bajja n'abakozi baabwe ababayambako.

Okusobola okukwasaganya obulungi ennimiro yange esigale ng'eri mu mbeera nnungi, nkeera nnyo ku ssaawa 1:00 nga ntandise okulima okutuuka ku ssaawa 4:00 olwo ne ntandika okusalira ebitooke n'ennanaansi n'okukola ebirala byonna okutuuka ku ssaawa 10:00 oluusi kutuuka ku 12:00.

ENTEEKATEEKA Z'OMU MAASO

Natandise okusaawa ekifo ekirala we njagala okusimba ennaanansi yiika 10 nga zino ηηenda kuzisimba mu mitendera gya yiika ttaano.

Okutwaliza awamu njagala yiika endala 20 mwe ndowooza okufuna ssente ezisoba mu bukadde obusoba mu 400 omwaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...