TOP

Longoosa entereka y'ebirime lw'onoofuna mu bulimi

Added 29th March 2016

EKIMU ku bisinga okufiiriza abalimi y'enkwata y'ebirime okuva mu nnimiro okutuuka lwe babituusa mu katale.

 Darlson ng’alaga akaveera k’amaze okusiba.

Darlson ng’alaga akaveera k’amaze okusiba.

EKIMU ku bisinga okufiiriza abalimi y'enkwata y'ebirime okuva mu nnimiro okutuuka lwe babituusa mu katale.

Wano waliwo obuzibu bunene naddala mu ntereka n’okugayaala okukungula ebirime mu budde.

Abamu tebalina sitoowa nnungi zitereka birime ne weekanga nga bakaluubirirwa, ne bawalirizibwa n’okutunda emmaali yaabwe ku bbeeyi eya wansi.

Ate oluusi weekanga olw’entereka embi n’okuteekamu eddagala effu, ebirime biwumba n’okuba ng’ebikerenda by’emmese abamu bye bakozesa birina obulabe ku bulamu bw’abantu.

Naye kati, bino bigonzeemu nga kati waliwo obuveera obusobola okuterekebwamu ebirime eby’okutunda n’okulya kuba tekaliimu butwa bwonna.

Ebikwata ku kaveera kano

Omu ku basuubuza obuveera buno Alex Mugisa owa Mugalex abatunda ebikozesebwa mu nnimiro e Masindi agamba nti, akaveera kano bakayita ‘Purdue Improved Crop Storage, Pics Bag’ nga kaakolebwa mu tekinologiya asobola okukuuma ekirime naddala ebyo eby’empeke okumala emyezi egisoba mu munaana ng’ali kawerette.

Akaveera kano kalimu obuveera busatu, akasawo akasooka kungulu nga kano aka bulijjo, akalala akaddako kalinga ekipiira n’akalala ke kamu nga muno mw’ossa ebirime byo.

Obuveera buno bugumu era bw’ogula akaveera kamu kasobola okukola emyaka ena, ssinga oba tokataddeeko kituli kyonna.

Kino kitegeeza ku mmere ey’empeke waakiri kaba kasobola okukola sizoni nga mukaaga.

Enkozesa y’akaveera

Muky. Darlson Kunihira, omulimi e Kirasa mu Disitulikiti y’e Masindi, ng’akozesa obuveera buno agamba:

Mu kutereka emmere eno teweetaaga kuteekamu ddagala lyonna, wabula ekikulu kukaza bulungi by’ogenda okuterekamu kuba ate omutawaana ssinga obiterekamu nga tebikaze bulungi omanya biba bigenda ate kuvunda. Akaveera kano kagula 7,000/-.

Mu buveera obusatu obuli munda, sooka oteeke ebirime ebisaamusaamu n’oluvannyuma otuuze mu kasawo omuli n’akaveera akalala. olwo n’otandika okupakira.

Waggulu tojjuza nnyo, kubanga olina okulekayo ekitundu w’olina okusibira. Siba bulungi onyweze, kabe nga tekayisa mukka gwonna, si nsonga ne bw’onoosibiramu obuwuka, buno mu kiseera kitono bugenda kuba nga buziyidde nga bufudde.

Bw’omala okusiba akaveera k’omunda, akeeru omuli ebirime, siba akaddako n’akasembayo olwo otwale mu sitoowa.

Wabula totuuza ku ttaka oba ku sseminti, wabula tuuza ku bibaawo.

Okukebera akaveera akafu

Engeri gy’oyinza okumanya akaveera nti si katuufu, ssinga okakwata n’okateeka mu maaso go olina okuba nga tolaba muntu ali mabega waako, tekayitamu maaso. Bw’okakwata n’okanyiga mu ngeri ekapakiramu omukka, gulina okuba nga gubeeramu ekiraga nti temuli kituli.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...

Nantale ne Batulumaayo

Ow'emyaka 77 alumirizza muk...

MUSAJJAMUKULU ow’emyaaka 77, omutuuze ku kyalo Kyambizzi ekisangibwa e Mwererwe-Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso...

Kiwanda ( ku kkono), Katikkiro Mayiga ne Ruth Nankabirwa nga bali e Mmengo.

Ekyatutte Kiwanda ne Nankab...

EYAAKALONDEBWA ku bumyuka bwassentebe wa NRM atwala Buganda, Godfrey Kiwanda asitudde ttiimu y’aba NRM omuli ne...

Kibalama ne Kyagulanyi nga bagasimbaganye mu kkooti

Bobi ne Kibalama bagasimbag...

Eyali akulira ekibiina kya National Unity Reconciliation and Development Party [NURP] ekyakyusibwa ne kifuulibwa...