TOP

Nakoma mu S1 kati nnunda enkoko 16,000 era sejjusa

Added 11th July 2016

ENKYUKAKYUKA mu bbeeyi y'emmere n'omutindo gwayo omubi gulemesezza bangi okufuna mu bulunzi bw'enkoko. Ne Hajji Musa Ssentamu kye kyali kimulemesa okutuusa lwe yatandika okwetabulira emmere.

 Hajji Ssentamu mu kimu ku biyumba by’enkoko ze.

Hajji Ssentamu mu kimu ku biyumba by’enkoko ze.

KKAMPUNI ya Vision Group efulumya Bukedde, ekwataganye ne bbanka ya DFCU, ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne kkampuni y’ennyonyi eya KLM okunoonya omulimi n’omulunzi asinga mu Uganda omwaka gwa 2015.

Abanaavuganya mu mpaka zino mujja kutuweereza amannya gaabwe tubatuukirire tubawandiikeko buli Mmande.

HERBERT MUSOKE akuleetedde Hajji Musa Ssentamu ow’e Nalumunye eyatandika n’enkoko z’ennyama 400 nga kati alunda 16,000 ezimukoledde ne kkampuni ekola emmere y’enkoko.

Hajji Musa Ssentamu ng’atabula emmere y’enkoko ze.

 

 

ENKYUKAKYUKA mu bbeeyi y'emmere n'omutindo gwayo omubi gulemesezza bangi okufuna mu bulunzi bw'enkoko. Ne Hajji Musa Ssentamu kye kyali kimulemesa okutuusa lwe yatandika okwetabulira emmere.

Mu kiseera kino alina enkoko z'ennyama 16,000. Ssentamu abeera Nalumunye mu Wakiso, era nnannyini kyuuma kya mmere y'enkoko n'ensolo ekya Takuwa Best Feeds e Nateete ku lw'e Nakawuka. Agamba nti emmere n’eddagala ery'ebicupuli kimu ku bisinga okufi iriza abalunzi b'enkoko kubanga ossaamu kingi ate n'otokiggyaamu.

“Bwe natandika okulunda enkoko, nalabanga nga zikula mpola ekitegeeza nti zibeera zirya ku magoba ge nandifunye. Bwe nnaweza enkoko 10,000 nasalawo okutandika okwetabulira emmere okusobola okugifuna nga ya mutindo, mu budde era mu bungi bwe nneetaaga.

Wano nga yeekebejja enkoko okulaba oba ndwadde.

 

Y’ensonga lwaki natandika ekyuma kya Takuwa Best Feeds. Ebyuma byange bikozesa dizero, liita bbiri zikuba ttani y'ekika ky'ebirungo emu gamba ey'obusonko. Wano ngula ebikozesebwa mu kukola emmere y'enkoko omuli kasooli, obusonko, mukene, sun fl ower , seed cake n'ebirala ne nkola ne gye nguza abalunzi abalala.

Ekyuuma kino kyannyamba okwongera ku magoba ge nfuna mu bulunzi kubanga enkoko zange zifuna emmere ennungi ddala ne zisobola okukula mu bwangu. Ku wiiki ttaano, mbeera nzitunda nga zikununkiriza okuweza kkiro bbiri ate nga nnamu bulungi.

Olwo n’eddagala ligenda kitono gubanga zifuna ebiriisa byonna ebyetaagisa mu mibiri gyazo.

Ekyuma kino era nkifunamu ssente kubanga buli lunaku okutwaliza awamu kimpa 250,000/- ekitegeeza nti nfuna 70,800,000/- ng’amagoba nga nzigyeko omusaala gw’abakozi, ezigula ebikozesebwa n’emisoso emirala egyetaagisa omuli ne layisinsi n’omusolo gwa Income Tax ogwa 1,360,000/- omwaka.

Amaka ga Hajji Musa Ssentamu e Nalumunye era w’alundira enkoko.

 

ENTANDIKWA

Ssaasoma kigenda wala, nakola mu S1 mu Masaka SS. Yo Pulayimale nagisomesa Kyabakuza P/S, kwe kutandika okusuubula enkoko n'embuzi mu butale obw'enjawulo. Nasinganga kugula nkoko nto, ne nzirunda kubanga ku kiseera ekyo ng'akakoko kagula 50/-, awo nga mu 1989.

Oluvannyuma nayingira obusuubuzi bw'ebirime naddala kasooli nga mmuguza aba Bulemeezi Farm Enterprises e Bweyogerere. Bano baali bakola emmere y'enkoko n'ensolo ate nga balunda n'enkoko. Nabayigirako engeri y'okutabula emmere y’enkoko era banjagazisa okulunda enkoko.

Mu 2007 natandika okuzirunda mu ggalagi we nali mpangisa nga natandika n'enkoko 400 ez’ennyama kubanga zino nakizuula nga tezirwawo kukula ate nga nnyangu za kubala n'omanya oba okoze amagoba oba ofi iriddwa.

Mu kiseera ekyo ng'akoko k'olunaku olumu kagula 650/- ate ng'enkoko okukula etuuke okutunda ebeera eridde 1,300/- olwo n'ogitunda 3,500/-. Kitegeeza nti buli nkoko ng'ogikolako amagoba ga 1,550/-.

Nalunda enkoko zino emirundi ena era ssente ze nakuηηaanyaamu ze zannyamba okugula ettaka ku bukadde buna e Nalumunye ne nzimbako ebiyumba by’enkoko 2,200 mu 2009. ηηenze nnyongerako mpola okutuuka mu nkoko 16,000.

Ekimu ku binnyamba okufuna mu bulunzi, ndi muntu eyeegomba n'okukoppa ebyo bye ndaba nga bya njawulo ku byange.

Lumu nalaba ebiriirwamu ebizungu omuyiirwa emmere n'egenda ng'ekka buli nkoko lwe zirya nange ne ηηenda mbyekozeseza era bye nkozesa.

Mu 2010 nasalawo okugula ekyuma ekikuba n'okutabula emmere y'enkoko ekikozesa dizero era kati nayo yafuuka bizinensi gye nfunamu ssente ng'oggyeeko okufuna emmere y'enkoko zange.

Enkoko zange nzitunda 10,000/- ku wiiki ttaano kyokka ssinga zirwawo gamba ng'akatale kabuze ne zisukka wano nzitundira mu kkiro nga buli kkiro ebeera ya 8,500/-.

Zino zibeera zizitowa okutuuka mu kkiro emu ne ggulaamu nga 80, nziguza Bayindi, abasala n'okusiba enkoko omuli aba Top Cuts n'abalala era nfuna amagoba ga 2,200/- ku buli nkoko okutwaliza awamu.

ABAKOZI

Nkozesa abakozi mukaaga ne mukyala wange akola ku byassente n'entambula y'enkyuma kino n'abeera wa musanvu.

Buli omu mmusasula 200,000/- buli mwezi. Mukyala wange y'avunaanyizibwa ku kubala ebitabo n'okukuuma likodi za bizinensi zombi, ye asasulwa 400,000/- ekitegeeza nti omwezi nsaasaanya 1,600,000/- ku musaala ate omwaka 19,200,000/-.

Mu nkoko nkozesaamu abakozi bana okuyonja ebiyumba, okwoza ebinyerwamu n'ebiriirwamu, okuziwa emmere n'amazzi, okulondoola obulamu bwazo n'ebirala. Abakola mu nkoko buli omu mmusasula 250,000/- . Ngoggyeeko okubasasula, mbaliisa, okubasuza, okubajjanjabisa n'ebirala.

ENNYINGIZA

Enkoko zino bwe nzibala, nga buli emu ngifunako 2,200/- ng'amagoba nga byonna omuli n'abakozi mbitaddeko kitegeeza nti nfuna 35,200,000/-. Nnunda emirundi ena omwaka olwo ne mbeera nga nfuna 140,800,000/-.

Ate ekyuma kimpa 250,000/- olunaku ng’amagoba, kitegeeza nfuna 7,500,00/- omwezi ate omwaka obukadde 90. Zino bw'oggyako 19,200,000/- ez'omusaala nfissa waakiri 70,800,000/- ng'amagoba. Bwe ngatta obukadde 140,800,000/- ez'enkoko ne 70,800,000/- nfuna obukadde 211,600,000/- omwaka ng'amagoba.

Nange ndi mukozi era nfuna omusaala gwa bukadde busatu buli mwezi okuva mu kyuma n'enkoko ekitegeeza nti omwaka nfuna obukadde 36. Buno bw'obutoola ku magoba g'omwaka kitegeeza bizinensi efuna 175,600,000/-.

BYE NFUNYE

Mu kiseera kino nsobodde okuzimba ennyumba yange erabika obulungi kyokka nnina endala gye ntandise okuzimba. Nina mmotoka ezikola ku kyuma okutambuza emmere n'okuleera ebikozesebwa okuva mu byalo era nange nina mmotoka ya buyonjo gye nvuga ekika kya Premio gye nagula mu 2014.

OKUSOOMOOZEBWA

Okusoomoozebwa okusinga kwa mazzi kubanga ag’ekitongole ge nkozesa ga buseere. Twagezaako okusima amazzi kyokka engeri gye tuli ku lusozi gaatulema okutuukako.

Ge tulina lwe gabeera gavuddeko tugula mmotoka ku 150,000/- nga gano gasoboka okukola okumala wiiki okusinziira ku bbanga lyazo.

Ng'abalunzi abalala bonna tulina okusomoozebwa kw'eddagala ly'ebicupuli kubanga lingi lye tugula kyokka ne litakola kye tuligulira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...