
Abalimi b'e Namwendwa - Kamuli ng'alaga engeri ekyeya gye kyakubamu emisiri gye egya kasooli
Bya TOM GWEBAYANGA
Tuli mu makungula naye lwaki kkiro y’akawunga e Busoga ekyagula 1800/-? Kino kye kimu ku bibuuzo ekiri ku mimwa gy’abantu bangi. Amazima gali nti enjala ekyaluma abantu mu disitulikiti za Busoga ezimu, yadde tuli wakati mu makungula!
Ebbeeyi y’emmere erinnye tetalizza byalo na bibuga era mu disitulikiti y’e Buyende,Kaliro ne Luuka, ebbula ly’emmere eririyo balitaddemu ebyobufuzi.
Kino kivudde mu nkuba ebadde ey’omunyoto sizoni eno era ssente z’abalimi zitokomose kuba abaali balimye yiika ne yiika za kasooli nga basuubira okufuna ttani eziwerai bakkutte ku ttama olw’enkuba eyayiika omulundi ogumu ne yeesiba , ate bwe yaddamu okutonnya n’eba ya bbalirirwe wakati mu kuboola ebitundu bingi.
Kino kye kivuddeko amakungula amabi ng’ate mu mazima abantu baali beemazeeko emmere nga bamanyi nti enkuba ejja kutonnya nga bulijjo.Okunonyereza kwa Bukedde kw’akoze azudde nti yadde tuli mu makungula , ebbeeyi y’emmere eky’ali waggulu nga mu byalo okugeza nga mu muluka gw’e Bukutula , Kabukye, Nkoone , Bumogoli ne Irundu mu disitulikiti y’e Kamuli, kkiro ya muwogo omukalu eri ku 800/-, ate ey’akawunga eri ku 1,200/-.
Hussein Nsuwa, ng’ono y’akwanaganya emirimu gya Operation Wealth Creation mu ggombolola y’e Kagulu agamba nti abalina muwogo omubisi gwe baatundanga layini emu ku 10,000/- ng’eriko ebikolo nga 15 kati egula 30,000/-, nga kyava mu bantu okumweyunira ng’oli bw’azigula famire erwawo ng’eryako.
Ku kyalo Igalaza mu Kagulu, okusinzirira ku ssentebe wa LC1, Michael Bankyaye, ebbaafu ya muwogo omukalu eyagulanga 5,000/- kati eri ku 20,000/- ate kkiro y’akawunga ka kasooli egula wakati wa 1,200/- ne 1,800/- okusinziira ku kika.
Kansala akiikirira eggombolola y’e Kagulu ku disitulikiti y’e Buyende, Stephen Bagalana yagambye nti lumonde omukalu gwe bayita “Obukeke” naye takyagulikako, ensawo eyagulako 15,000/- kati eri ku 60,0000/- ng’ate n’okugifuna kuba kusiitaana.
Mu katale akanene mu kibuga ky’e Kamulii, omuceere gugula wakati wa 2,800/- ne 3,600/- okusinziira ku musuubuzi w’ebirime, Annet Ssonso.
Ensawo ya lumonde eyagulanga 80,000/- kati eri wakati wa 140,000/-ne 155,000/-, ekireetedde omulengo okulinyisibwa okuva mu 1,000/- ne gudda ku 2,000/-.
Ensawo ya muwogo eyali ku 45,000/- mu March mu kibuga Kamuli kati egula 90,000/- n’omusobyo, ekirinnyisizza ebbeeyi y’akatogo n’ebipimo okukendeera.
Abayiisa amalwa mu Industrial Area e Kamuli bakaaba lwabwe kuba kkiro y’obulo eyali ku 900/- kati eri ku 1,600/- ng’ate okubufuna olina kulagiriza omusuubuzi ow’omu kyalo n’akuyiggira ate bw’ogayaalamu n’afuna amwongeramu ssente toddayo kumulaba.
Kino kirinnyisizza n’ebbeeyi ya kkolokolo y’amalwa, eyali esinga obutono eyali ku 1,000/- yadda ku 2,000/- ate ennene eyali mu 2,000/- eri ku 4,000/-, okusinziira ku kaguyiisa omu, “Maama Bbooyi.”
Okusinzirira ku ssentebe w’akatale k’e Kamuli akanene, Robert Bwamiki, kkiro ya kasooli eyaakakungulwa tennaba kutegeerekeka wabula amakungula we gayingiriddewo ng’egula wakati wa 1,000/-ne 1,400/-, soya 3,000/-, ebinyeebwa 6,000/-, entungo zibadde wakati wa 8,000/0 ne 10,000/-.
Bwamiki agamba nti ekisseeko ku bbeeyi bwe bummonde obwali ku 1,800/- kati bugula 1,000/-, ne kasooli omwokye eyali asinga obunene ng’agula 700/- kati agula 400/-.
Olw’obudde obubadde obubi, obutunda nabwo bukyagula wakati wa 5,000/- ne 6,000/- mu butale bw’e Kamuli ne Jinja okusinziira ku ssentebe w’ekibiina ekibulima e Busoga, Ernest Mmungo.
Akulkira eby’obulimi mu disitulikiti y’e Buyende, Dr. Fredrick Kabbale yakubirizza abalimi okukozesa enkuba entono erabikawo basimbe emmere kuba sizoni z’emyaka z’asenguka (Shift of season), ng’eya ttogo eyalingawo mu Febwali ne March kati eri yadda mu April ne May, ate eya ddumbi yava mu July ne August kati etandika mu October n’emalira mu Desemba ne Janwali.
Akulira eby’obulimi e Kamuli, Richard Musenero yalabudde abantu b’ewale okwetundako emmere okutuusa nga b’ekakasizza nti amakungula ganaaba ku luda lwaabwe.
Wabula Asupasa Nadhomi,omulimi w’e Bupadhengo mu ggombolola y’e Nawanyago yagambye nti obuzibu abalimi bwe balina kwe kuba nti emmere ey’okulya (food crops) ate yafuuka ya kutunda (cash crops) okufuna fiizi z’abaana n’okumala ebizibu by’amaka omuli amabanja n’obujanjabi.