TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Ky'ekiseera okutandika okulembeka amazzi g'okufukirira

Ky'ekiseera okutandika okulembeka amazzi g'okufukirira

Added 22nd August 2016

Ky’ekiseera okutandika okulembeka amazzi g’okufukirira

 Ekidiba nga kino kikuyamba okufukirira mu kyeya.

Ekidiba nga kino kikuyamba okufukirira mu kyeya.

OKULIMA n’okulunda bikutte akati ensangi zino, abantu babitaddemu ssente wabula okubufunamu olina okubeera n’amazzi ekiseera kyonna.

Wadde ebisolo byetaaga amazzi, naye ate ebirime bye bisinga noolwekyo omuntu ayagala okukola omulimu gw’okulima amazzi kyabuwaze. Sizoni gye tufundikira abalimi basigadde beemagaza oluvannyuma lw’omusana okugikutulira wakati ebirime byabwe ne bifa.

Wabula buli ekiseera ky’omusana lwe kibaayo, wabaawo enkuba eyatonnya naye amazzi gonna ne gagenda ng’abalimi batunula ate omusana bwe gwaka ne bakaaba. Enkuba etandise okutonnya mu bitundu ebimu, kyokka ab’enteebereza y’obudde balaga nti ejja kutaba omwezi ogujja. Kino ky’ekiseera omulimi weetegeke olembeke ku mazzi g’enkuba ag’obwereere ogakozese okufukirira ku musana.

John Baptist Malinzi, omulimisa owa Katende Harambe Rural Urban Training Center e Namugongo-Nsawo akulaga engeri ez’enjawulo omulimi gy’ayinza okulembekamu amazzi: Okulembeka amazzi kigasa abalimi bonna okuviira ddala ku balima emmere y’okulya okutuuka kw’abo abalima ey’okutunda.

Amazzi agalembekeddwa mu nkuba gayamba okunywesa ensolo z’omulunzi ng’embizzi, ente, enkoko n’endala era kino kyongera ne ku mata n’amagi. Kiyamba okufuna amazzi agamala okulongoosa ebiyumba ensolo mwe zisula n’okukendeeza endwadde ezandikutte ensolo nga ziva ku bukyafu bw’ebiyumba mwe zisula.

Amazzi gano gayamba mu kufuuyira enkwa okuva ku nsolo nga gatabulwa n’eddagala nga omusawo omulimisa bwabeera akugambye nolyoka ogoba ebivu ne bintu ebyandi konzibiza enkula ye nsolo omulunzi nalyoka afunamu amagoba nga bwekisaanidde. Malinzi agamba nti okusima ekidiba ekisookerwako tekyetaaga ssente nnyingi.

Twala ekyokulabirako ky’ekidiba ekya ffuuti 10 ku 10 mu bugazi n’obuwanvu. Kino kisobola okutereka amazzi agasoba mu liita 20,000. Okukisima weetaaga 500,000/- gyokka. Ekidiba ky’ozimba ennyumba osobola okukozesa akakadde kamu n’ekitundu ate ky’ozimbisa sseminti okozesa ezisoba mu bukadde obusatu.

Okusima ekidiba Malinzi agamba olina okuba n’ekifo w’ogenda okukisima era kisime nga kya nsonda. Kino kiyamba okwanguya ekiveera okutuulamu obulungi mu kinnya ky’oba osimye. Olumala okusima ekidiba, funa ekiveera.

Obugazi bw’ekiveera eky’ogeddwaako waggulubuli ffuuti 70, wabula zino ogula ffuuti 10 emirundi 70 olwo ne bakitunga kuba teri kiveera kiweza ffuuti 70 nga kiri wamu. Kasita bamala okutunga ekiveera, teekamu amasanda omuba muyise wuzi kisobozese amazzi obutakiyitamu.

Bw’oba oyaliirira ekiveera mu kidiba, sima omufulejje nga gwetooloola ekidiba kyonna ate wansi gukke yinsi musanvu. Muno mugwamu ekiveera n’otuuzaako ettoffaali ne kiba nga tekisobola kugwamu nga mutandise okugendamu amazzi.

Waliwo ekidiba ng’amazzi kifuna ga mukoka, gano omugaso gwago guba gwa kufukirira. Ng’osima ekidiba eky’ekika kino, omukutu oguleeta amazzi nga ganaatera okuyiwa mu kidiba, simawo obunnya bubiri bwa ffuuti ssatu ku ssatu, buno bujja kuyamba okusengejja amazzi agagenda mu kidiba, era faayo okubulongoosaamu ettaka buli lwe bujjula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?

Kakooza ng’alaga bwe yabuuse ekikomera.

Poliisi eyogezza eyakwatidd...

POLIISI eyogezza omusajja eyakwatiddwa ku by'okumenya n'okubba amaka we bazaala omugenzi Ssaabasumba Cyprian Kizito...