TOP

"Ssente nziggya mu nte za nnyama"

Added 3rd October 2016

Nze nunda ente za maleeto zokka mu biti bibiri . Waliwo ze ngula ku bantu nga bukyali buyana ne mbuliisa okumala omwaka gumu ne nzitunda ku nnaku enkulu okuva ku kakadde k’ensimbi okutuuka ku bubiri.

 Ente ez'olulyo Nsereko z'alunda

Ente ez'olulyo Nsereko z'alunda

 KKAMPUNI ya Vision Group efulumya Bukedde, ekwataganye ne bbanka ya DFCU, ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne kkampuni y’ennyonyi eya KLM okunoonya omulimi n’omulunzi asinga mu Uganda omwaka gwa 2015.

Abanaavuganya mu mpaka zino mujja kutuweereza amannya gaabwe tubatuukirire tubawandiikeko buli Mmande.

Leero JOSEPH MUTEBI akuleetedde omulimi wa wootameroni ate nga mulunzi e Mityebiri- Kyotera, Mabiriizi Nsereko ng’akulaga bw’ofuna mu nte z’ennyama.  

GODFREY Mabiriizi Nsereko, 42, ssente aziggya mu kulima wootameroni n’okulunda ente ez’ennyama. Ye ente ze 200 z’alunda tazikama, era ennyana eyonka okutuusa lw’ekoowa naye egenda okuva ku mata wamu n’emmere ey’omulembe gy’aziwa ng’etuuse okutunda.

Asangibwa Mityebiri okumpi ne Kyotera e Buddu.

Agamba nti omuntu teyandikaayanidde nnyo mirimu gya ofiisi bw’aba alina ettaka w’asobola okulimira oba okulundira. “Nakuguka mu byabulimi e Makerere, wabula ebbanga lye mmaze nga nkola emirimu gya ofi isi n’ebitongole by’obwannakyewa sejjusa lwaki teyatandikirawo okulunda n’okulima.

Kati nina ettaka yiika 360 ku kyalo Mityebiri okumpi ne Kyotera kwe nnundira ente 200, n’okulima wootameroni ku yiika 25.

Nnima kaamulali Omuzungu ku yiika emu, emmwaanyi yiika ttaano, awasigadde we nnundira ente z’ennyama.

Nze nunda ente za maleeto zokka mu biti bibiri . Waliwo ze ngula ku bantu nga bukyali buyana ne mbuliisa okumala omwaka gumu ne nzitunda ku nnaku enkulu okuva ku kakadde k’ensimbi okutuuka ku bubiri.

Ofiisi ku faamu ya Nsereko

 

Zino ennyana nzigula wakati wa 500,000/- ne 600,000/-. Nsooka kuzijjanjaba ne zivaamu enjoka, ne nziwa amazzi kubanga nasima ddaamu, abantu gye bakaabira amazzi nze mbeera ffaamu eba etambula.

Nziwa omuddo ogw’ekiriisa. Waliwo maleeto ze nunda ezizaala. Zino nzifunira ennume ey’olulyo ne zizaala ennyana ez’amaanyi era zino sikkiriza muntu yenna kuzikama, amata gonna nze gaba na nnyana esobole okukula amangu.

Bw’okikola bw’oti kitegezza nti mu mwaka gumu n’ekitundu (emyezi 18) oba osobola okugitunda akakadde k’ensimbi.

Ente yonna ey’ennyama ezaala ng’oyagala okugifunamu bw’ezaala emirundi esatu n’emala okuyonsa omulundi ogusembayo olina okugitunda ate n’ozzaawo enddala.

Ng’oyagala okufuna mu bulunzi sooka omale okugula ettaka eriwera kwonookola ffaamu, olina okusimamu ddaamu ofune amazzi aga byli kiseera.

ENTANDIKWA

Bwe mbadde nkyakola mu ofiisi ez’enjawulo ng’omulimisa, nneewoola obukadde 47 okuva mu bbanka ya DFCU ne ngulako ente 45, okusiba olukomera n’okusima ddaamu y’amazzi ennene ddala.

Ente saagula Nzungu, nze nalonda mu zino ezaffe ennansi naye nga nnondamu ennungi ddala, olwo ne ntandika okulongoosa olulyo lwazo nga nziwa ennume ez’olulyo.

Bino nabikola mu 2011 era embeera eno esobodde okutambuza obulamu bwange, okumpa obuvunaanyizibwa obusingako n’okutuusa okusalawo okuleka omulimu nneemalire mu kulima. Ente ey’ennyama efa ndabirira.

Tubadde mu biseera bya musana, naye ente zange nga nziwa omuddo omukaze (sayiregi). Ngussaako omunnyo ogw’ekisula oba ssukaaliggulu. Kino kitegeeza nti erya nnyo naye gy’ekoma okulya n’enkalamata okugiruma, kale erina okunywa ennyo, ate gy’ekoma okunywa n’okugejja ennyo.

Ekirala ekirungi kwe kuba nti ente bw’eba enywedde nnyo, eba n’amata mangi, kale n’ennyama ekulira ku sipiidi kuba nze ewange obuyana busiiba n’enkulu nga buyonka.

Nfuba nnyo okuziwa eddagala ly’ebiwuka, ekisinga okulemesa abalunzi mu Uganda, ebisolo balwawo okubiwa eddagala lino, ebiwuka ne bizinywa ne zikonziba.

Ku ffaamu yange, ennume emalako emyaka ebiri gyokka ne ngitunda ate ne ndeeta endala. Kino kinnyambye okuba nga buli kiseera nnongoosa olulyo.

Ente enkazi etesobola nnume gye mba ngireetedde eyo ngitunda mangu kuba ndaba eba tesobola kumpa magoba ga nnyana ge nneetaaga.

Ku ffaamu nninako omusawo w’ebisolo abeerako buli ssaawa, naye ente bw’erwala bw’aba tasoboka kugijjanjaba olwo nga tuleeta omusawo omulala asobola okujjanjaba obulwadde obwo.

AKATALE

Akatale k’ennyama weekali, nze ente nzitunda mu lufula z’omu Kampala; nfuna tte4nda okuva mu wooteeri ennene n’abakola emikolo, bano mbaguza mu kkiro. Nakizuula nti akatale oluusi kalemesa abalunzi naye nze buli lwe nfuna omukisa ogwogera n’abantu abasalirawo amakampuni mba ntunda bye nnina.

Ekimu ku bizibu bye nfunye omwaka guno kwe kuba ng’okuva mu May enkuba ebadde tetonnya ewaffe, kale wadde nnasima ddaamu naye nayo ebadde eweddemju amazzi.

Omuntu nga nze akola obulunzi nga bizinensi embeera erina kunkaluubirira, amazzi tubadde tugaggya Kakuuto ze mayiro nga 10 okuva wano.

WOOTAMERONI

Nkoze mu bitongole eby’enjawulo nga nsomesa ebyobulimu okuva mu mwaka gwa 2000 okutuuka mu July wa 2016 bwe nagimaze. Muno mulimu Uganda Cooperative Alliance, Agro Forestry, Lutheran World Relief gye mbadde nkikulira mu Uganda yonna, nga bansasula bulungi wabula ne nsala- wo okulekulira.

Ekimu ku bimpa ssente mulimu wootameroni. Bw’oba oyagala okuzifunamu, kiteeke mu bwongo nti buli yiika ekuwa wootameroni 5,000. Kati ggwe zikubise mu yiika 25 ze nnina olabe engeri gy’oyinza okuzikolamu amagoba.

Mu mbala ennyangu, ssinga buli wootameroni ngitunda ku 3,500/-, n’okubisaamu 5,000 eziva mu buli yiika kitegeeza nti sizoni osobola okufunamu 437,500,000/- okuva mu yiika 25 ze nnina.

Nze bwe ndaba nga wootameroni zituuwa wakati, nnaatera okuzikungula olwo nga ntandika okutegeka yiika endala 25 we naazimba eza sizoni eddako.

Nze buli mwaka, ate nga wootameroni zirina sizoni nnya, nfunamu 1,750,000,000/- . Kati ggwe mbuulira omukozi wa Gavumenti ki asobola okufuna ssente zino mu mwaka ogumu! Nze nsimba ekika ekiyitibwa “Sugar 1” .

Nzisimba mu kifo omutatuula nnyo mazzi ate ne ntemamu emikutu gy’amazzi naddala mu kiseera ky’enkuba obutakosa wootameroni.

Mu kiseera ky’omusana, ekikoola kya wootameroni olina okukibikkako ebisubi wansi ku kikolo nga tannayanjala makoola esobole okussa nga tegubye ate ng’ekuuma amazzi g’ofukirira kubanga nze nnima mu musana ne tuyambibwako ekiriisa kya “Black Off” ekisobola okukuuma amazzi ku kikolo okumala ennaku nga ssatu ne bw’oba tozzeemu kufuuyira.

Woomateroni emala ennaku 90 zokka ng’etandise okutundibwa. Ekiimu ku byampalirizza okulekulira kwe kuzuula nti wootameroni nazifunyeemu obukadde 437 sso nga bulijjo abakozi babadde bannyanjulira obukadde nga 100 ne mmanya nti banziba.

Nsereko ng’alaga wootameroni ze yaakasimba.

 

ABAKOZI

Ku ffaamu yange eno nkozesa abakozi 25, era bwe ntemaatema byonna bye nkola omwaka nfunamu obuwumbi nga busatu ne nsaasaanyaako omusaala gwabwe, eddagala n’ebikozesebwa ebirala okuli emmotoka ezitambuza ebintu nange ne nfi ssaako.

Buli mukozi asasulwa 40,000/- buli wiiki okusinzira ku maanyi g’ateekamu mu kukola kubanga emirimu gyo mingi ddala ng’abasinga bakozi ba ku kitundu.

Bano okusooka baali babitaddemu olunkulu naye kati bakola, ekibi nti be mmala okutendeka ate abalala nga babakansa nga bagenda.

Ebirala bye nnima kuliko emmwaanyi yiika ttaano, emiyembe ebikolo 2,500 era nsuubira okugikolamu omubisi gye bujja, kaamulali (Green Pepper) n’ebijanjaalo eby’ensigo yiika 10.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...