TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Engeri emmwaayi ez'omusana gye zikosezzaamu abalimi baazo

Engeri emmwaayi ez'omusana gye zikosezzaamu abalimi baazo

Added 10th October 2016

Sitoowa y’emmwaanyi ebe ya mmwaanyi ate zaanule nga ziweddemu ebbugumu obuteefumba naddala ku misana egisooka.

 Mayamja Kibuuka, omusuubuzi w’emmwaanyi ng’alaga ekirerya.

Mayamja Kibuuka, omusuubuzi w’emmwaanyi ng’alaga ekirerya.

Bya EDWARD SSERINNYA NE BENADINO KATE

ABALIMI batandise okunoga emmwaanyi mu bitundu ebimu, wabula omusana ogwase okuva mu May okutuuka mu September gulese gukazizza emiti gy’emmwaanyi egimu, kyokka egiwonyeewo emmwaanyi zisigadde birerya.

Kino kitegeeza omutindo gw’emmwaanyi kukka, omulimi ayolekedde okufiirwa kuba emmwaanyi tezigenda kuzitowa eri oyo atunda Kibooko, kyokka ate abasuubuzi bajja kumuggyamu obwesige olw’okubaguza emmwaanyi ezitaliimu mulamwa!

Omusuubuzi n’omulimi agattako omutindo ogusooka ng’akuba kase ate waakufuna emiwula emiddugavu( ‘Black Bean’) kyokka n’ezinaalama zaakubalirwa wansi olw’emiwula emitono.

 

 

Kino tekikoma ku mulimi wabula kikosa n’akatale k’emmwaanyi za Uganda ku katale k’ensi yonna. Kati ate ekirerya kyegasseemu enkuba ne gujabagira, abalimi abakwata obubi emmwaanyi, abaanika ku ttaka mukoka n’azitwala, abazireka n’ezikubira ebweru okwo gattako abazaanikiramu ebbugumu ne babulwa omusana ne zikukula ate abatalina sitoowa nga baziteeka mu bisibo by’embuzi!

Byonna byakutta omutindo gw’emmwaanyi.

 

 

Lutaakome Ssentamu, atwala ekitundu kya Buganda mu kitongole kya UCDA agamba: Abalimi basaanye okwongera okukuuma omutindo so si kugwongerako kubanga twanoonya omutindo ne tugufuna kati ekikulu kugukuuma.

Emmwaanyi kituufu awamu zikoze ekirerya, kati ekyo okuggyako okukubamu ebikuta naye tekiba na mugaso mulala. Ne bw’osanga abakigula, bbeeyi eba ya wansi.

Wabula enkuba bwe yatonnya ekirerya kigudde n’okwengera amangu, emmwaanyi ezisigadde ku miti nga nkalu ezo nnamu zijja kukola emiwula emirungi era enkuba eno kati ejja kuzengeza, ekikulu abantu bazirinde bazinoge nga zengedde.

Okuwona ekirerya

Okuwona ekirerya kati omulimi w’emmwaanyi asaanye okuseeseetuka, okulaba ng’atandika okufukirira emmwaanyi naddala mu kumulisa oba nga zimaze okumulisa.

Kino kijja kuyamba okumalawo ekirerya, okuzibikka n’okutemamu ensalosalo nayo ebe ennyongereza.

Okwanika emmwaanyi kikulu, enkuba etonnya naye ate tugyetaaga kubanga eziyamba okwengera obulungi.

Abalimi basaanye okukozesa amatundubaali ate abantu abasemberedde enjazi nazo nnungi okwanikako emmwaanyi. Sitoowa y’emmwaanyi ebe ya mmwaanyi ate zaanule nga ziweddemu ebbugumu obuteefumba naddala ku misana egisooka.

Miriam Nabagereka Ssenyonjo, omutuuze w’e Nakaseeta -Mpigi mu Luweero nga mulimi wa mmwaanyi agamba nti, emmwaanyi ze zikoseddwa ekyeya ekibadde kigenda mu maaso kyokka nga talina busobozi buyinza kuzifukirira.  

Enkuba etonnye etaasizzaako emmwaanyi ezimu naye endala bifuuse birerya.

“Kati kye hhenda okussaako essira kwe kubikka emmwaanyi zange okusobola okukuuma amazzi mu ttaka, kubanga omusana buli lwe guzisanga nga sizibisse nfiirwa nnyo.

Ensawo eyandizitoye kkiro 80 weekanga muvuddemu 40, ate ng’abasuubuzi nazo basigula bakubadala,” Nabagereka bw’agamba.

Ssaalongo Ahmed Nsereko, omutuuze w’e Busoke mu Luweero, agamba ku luno ekyeya kibadde kiwanvu ate kyajja mu kiseera nga tekisuubirwa kale ne watabaawo kwetegeka kumala mu balimi abasinga obungi ekivuddeko emmwaanyi ezisinga okukala.

“Emmwaanyi kye kirime kye nsinga okulima ate abasubuuzi bagenda kutugulira ku bbeeyi ya wansi kubanga omutindo si mulungi,” bwe yagambye.

Kyokka William Kibuuka Mayanja, omusuubuzi ate omukubi wa kase e Buloba agamba, “Ffe ng’abasuubuzi b’emmwaanyi ate nga tukuba kase tugenda kukosebwa kubanga abalimi abasinga tebalina mmwaanyi ziri ku mutindo.

Abamu bakikola mu bugenderevu n’ekigendererwa ky’okubba abasuubuzi, olwo bo balowooza nti baba bafunamu,” bwe yawunzise.

Agamba: Mu mbeera eya bulijjo, Kibooko kkiro 1000 ziba zivaamu kkiro 600, wabula bwe ndaba sizoni eno mwandivaamu nga 400 olw’ebirerya ng’ezimu zijja kubulira mu bikuta ku kyuma.

Wabula omuntu ssinga ayawula ebirerya ku mmwaanyi ezirimu emiwula kijja kuyambako kubanga ebirerya ate bijja kutta omutindo ssinga byani

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...