TOP

Baleese tulakita ezirima n'awafunda

Added 19th December 2016

Gavumenti egenda kukwatagana ne kkampuni ezituusa tulakita zino wano okulaba nga bayamba abalimi basobole okwongera ku bungi n’omutindo gwe bintu bye bakola.

 Minisita Ssempijja ng’atongoza tulakita ekika kya Tafe.

Minisita Ssempijja ng’atongoza tulakita ekika kya Tafe.

Bya PONSIANO NSIMBI

MINISITA w’ebyobulimi ,obulunzi n’obuvubi, Vincent Bamulangaki Ssempijja asabye abalimi okwegatta mu bibiina by’obwegassi n’okwewandiisa mu bitundu byabwe, Gavumenti esobola okubayamba n’okubagabira ebikozebwa basobole okwongera ku bungi bw’emmere gye balima.

Bino yabyogeredde ku Serena Hotel bwe yabadde asisinkanye abakugu mu byobulimi n’abatunda ebikozesebwa mu byobulimi ab’amawanga ag’enjawulo okukubaganya ebirowoozo ku ngeri gye bayinza okutumbulamu ebyobulimi n’okwongera ku bungi bw’emmere abantu basobole okutundako n’okusigazaawo ey’okulya.

Ku mukolo gwe gumu, minisita yatongozza tulakita y’ekika kya Tafe ng’eno esobola okukozesebwa n’abalimi abalimira mu bifo ebifunda nga zino zikoleddwa mu bika eby’enjawulo era nga zikola emirimu egy’enjawulo omuli okusiga, okukabala n’ebirala.

Ssepijja yagambye nti Gavumenti egenda kukwatagana ne kkampuni ezituusa tulakita zino wano okulaba nga bayamba abalimi basobole okwongera ku bungi n’omutindo gwe bintu bye bakola.

Gavumenti etaddewo enkola ey’okulaba nti buli mulimi yeewandiisa mu kibiina w’eneesinziira okubayamba n’okuzzaawo ebibiina by’obwegassi ng’essira egenda kuliteeka mu kubangula abalimi ku magezi ag’ekikugu.

Chris Kaijuka, Ssentebe wa Uganda Grain Council yagambye nti amawanga ga Afrika gakyatawaanyizibwa enjala olw’ebbula ly’ebyagi.

Med Mwiri, omwogezi wa Engineeringa Solutions (u)Ltd abatuusa kuno tulakita za Tafe yagambye nti tulakita zaabwe mpangaazi ate ziri ku bbeeyi nsaamusaamu era nga zaakuyamba nnyo abalimi abalimira awafunda okwongera omutindo ku bye balima.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...