TOP

Can. Ntulume azze ku njiri ya kugoba bwavu mu maka

Added 9th January 2017

Nsinga kulima gonja ne ndiizi kubanga batono ababirima noolwekyo akatale kannoonya bunoonya.

 Rev. Can. Ntulume ng’alaga egimu ku miyembe gy’alima.

Rev. Can. Ntulume ng’alaga egimu ku miyembe gy’alima.

Bya BETTY NAMUKWAYA

ABADDE Ssaabadinkoni w’e Nateete Rev. Can. Henry Ntulume awa ekyokulabirako ekirungi ekya munnaddiini abuulira enjiri ey’omubiri n’omwoyo.

Can. Ntulume abadde Ssaabadinkoni w’e Nateete, yawummudde obuweereza ku myaka 65 egiragirwa Ekkanisa bwatyo n’adda mu kyalo e Kapeeka gy’alimira n’okulundira.

Amaze emyaka 40 mu buweereza bw’Ekkanisa naye agamba nti bwe yaategeera nti ekiseera ky’okuwummula kinaatera okutuuka, kwe kutandikawo ffaamu okulima n’okulunda.

Amaze ebbanga ng’alima ebibala by’atunda mu masomero ag’amaanyi mu Kampala n’emiriraano n’afuna ku ssente okujjuuliriza ez’obuweereza. Alimira ku kyalo e Kapeeka mu disitulikiti ye Luweero. Alima emiyembe, olusuku, alunda enkoko n’ente nga byonna yabissa ku ttaka lya yiika mukaaga kwe yassa n’amaka mw’abeera.

Can. Ntulume ng’alaga emu ku mbizzi z’alunda.

 

EMIYEMBE

Can. Ntulume agamba nti emiyembe agirimira ku yiika ssatu era yagisimba mu ngeri nti alina egibala n’egikyali emito. Kino yakikola bwati obutaggweebwako miyembe okusobola okumayiza akatale k’alina.

Alina ebika eby’enjawulo naye byonna yabissa mu bibangirizi bya njawulo okusobola okugifunamu amangu n’okulondoola embala yaagyo.

Ebika by’emiyembe by’alima mulimu Kagoogwa, Doodo, Kawanda , Kkoona ne Ssejjembe.

Doodo

“Doodo gwe nnima ye mulongooseemu, agwa mu kiti kya Ssejjembe owa langi eya Kakobe Gubeera munene nnyo, bwe guba gukuze bulungi gusobola okuzitowa kkiro ssatu, omuto guweza kkiro emu.

Doodo yeetaaga nnyo okufukirira, naddala ng’awezezza emyezi ebiri. Bw’otokikola ayanguwa okukala.

Naye fukirira buli luvannyuma lwa nnaku bbiri. Yeetaaga endabirira ennungi, ku myaka ebiri aba atandise okussa naawe okunoga ssente.

Emiyembe gino engeri gye gizitowa osobola okugitunda buli gumu 1,000/- oba 1,200/- nga nze bwe nkola ku musiri olwo omusuubuzi ye n’atandikira ku 2000/- oba okusingawo.

Kagoogwa: Buno bwe bubeera obuyembe obutono mu sayizi nga era buli nnyo ku katale. Abangi babwettanira lwa kuwooma nnyo n’okuba ku bbeeyi eya wansi kuba ogumu gutandikira ku 100/- ku ffaamu yange.

Obuyembe buno buli w’okasimba kakula, tekeetaga nnyo kulabirira nga kano osobola n’okumalako wiiki bbiri nga tokafukiridde naye ne kasigala nga kakyakula bulungi nnyo ate era n’okafunamu.

Ku ffaamu yange ngatta Kagoogwa musanvu ne ngitunda 1,000/-. Abasuubuzi emiyembe gino bagyagala kubanga gizza mangu amagoba.

Awaka alundirawo n’ente.

 

ENDABIRIRA Emiyembe gisimbibwa mu ngeri nnyingi. Endokwa ennungi zitandikira ku 1,000/- ogisimba mu mabanga ga ffuuti ssatu oba ttaano okusinziira ku kika ky’omuyembe.

Amabanga amanene gagiyamba obutalwanira biriisa mu ttaka, ne gigejja okusinga emifuutiike.

Kiyamba n’emirandira obuteegatta. Emiyembe bwe giba gikyali mito osobola okugisimba mu buveera, bwe gikulamu awo ate oba osobola okugisimbuliza n’ogitwala mu kifo ekigazi we ginaakulira obulungi wamu n’okugiwa amabaga agamala. Emiyembe gyange ngifuuyira okuva nga mito.

Nfuuyira buli luvannyuma lwa wiiki bbiri gisobole okukula obulungi nga tegirumbibwa buwuka.

Emiyembe buli luvannyuma lw’omwezi girina okulimibwamu okwewala ebiwuka n’ebintu eby’enjawulo ebigiremesa okukula mpozzi n’okusobola okutereka amazzi gaagyo.

AKATALE

Emiyembe giri ku ttunzi, giri ku ssente nnyingi era bw’ossaamu ssente zivaayo. Buli muyembe omutono guli ku 100/- ate eminene buli gumu 1000/- ne 1,200/-.

Nze egyange baginona waka. Okumanya giri ku ttunzi, oluusi nfuna abagula ogumugumu naye nga bwe ngatta olunaku nfunye wakati w’emitwalo 20 ne 30. Oluusi olunaku ntunda ensawo wakati w’essatu n’ettaano lwe baba bazze abatono.

Emiyembe gyange bw’oba ogula nsawo eya Kagoogwa , Kawanda ne Kkoona ngitunda 30,000/- bw’oba musuubuzi ate atwala emu ya 35,000/-.

Ate Doodo ne Ssejjembe buli nsawo ya 45,000/- bw’oba musuubuzi ate bw’oba oyagala gigyo gya mikolo osasula 50,000/- ensawo.

Kye ndabye nti emiyembe ne bw’otofuna mudaala mu katale n’ogitundira waka era ofuna akatale kubanga abagyetaaga bangi,” bw’agamba.

Ebirala Can. Ntulume agamba nti okulima emiyembe gy’atwala nga bizinensi y’awaka, omuva ssente eza buli lunaku ezirabirira amaka ge n’okuterekako.

Wabula alunda enkoko 270 nga mu zino alinamu ez’ennyama 120 n’ez’amagi 150. “Ezange ze nnunda, enkoko y’ennyama ngitunda 10,000/- ne 12,000/- okusinziira ku bunene.

Bw’oba oyagala ttule y’amagi ngisuubulira ku 12,000/-, erimu lya 400/- ate eryatiseeko lya 200/- Nnina olusuku ku yiika emu, naye ekyeya kye tulimu kinkosezza nnyo, ne lukanduka kubanga sinnafuna ngeri gye ndufukiriramu.

Nsinga kulima gonja ne ndiizi kubanga batono ababirima noolwekyo akatale kannoonya bunoonya.

Buli wiiki mbadde nsalira okukuuma olusuku nga luyonjo naye mu musana, mbadde nkikendeezezza kubanga ebitooke byetaaga amazzi kale ebireka n’ebyayi bigiyizaako amazzi mu kitooke okufuumuuka.

Ngimusa olusuku naye nsinga kukozesa bukuta bw’emmwaanyi , obusa bw’ente n’embizzi wamu n’ebikuta by’amatooke.

Mu kyeya kino mbadde ngezaako okufukirira buli luvannyuma lwa wiiki bbiri. Nnunda n’embizzi, kati nninawo munaana kuba ezikula ze ntunda. Emu ngitunda 900,000/-. Nziriisa ccacu n’emmere eya bulijjo.

Kye nazuula nti bw’oba n’amaka, teekawo ebintu ebyangu okwetunda nga tonoonyezza katale.

Kale obubizzi obuto ababwagala bajja waka ne mbubaguza ku 100,000/-; bwe mba nnina embizzi gye ntunda era baginona waka.

Era ssinga nsalawo okutunda ennyama y’embizzi, mmanyi nti kkiro ya 15,000/- kale era mba nfunamu,” Can/ Ntulume bwe yagambye.

Alina yiika emu ey’olusuku lwa gonja ne ndiizi.

 

Ebimusoomooza

Abantu babba ebintu byange;

eddagala baliseera nnyo naddala ery’emiyembe ate ng’oluusi abantu betuligulako batuuwa effu ne litakola.

Amagi akatale kaago kanafu, ate bw’okafuna omusuubuzi ayagala buli ggi alitwalire ku 200/- sso ng’emmere y’enkoko ya buseere ennaku zino.

Amazzi agafukirira ebitooke n’emiyembe tugaggya wala, okufukirira yiika nnya (ssatu ez’emiyembe n’emu ey’olusuku) oluusi weetaaga abantu bangiko okukima amazzi ago.

ENTANDIKWA

Bwe namanya nti ngenda kuwummula nalowooza nnyo eky’okukola ate nga kigya mu myaka gyange. Nalina ennyumba e Ntebe, naye nakiraba ng’eyo sijja kusobola kwebeezaawo na famire kuba anti tolina w’olimira, buli kimu olina kukigula.

Nali nagula ettaka e Kapeeka ne nsalawo okusenga eyo ntandike ebyobulimu, kale we nawummulira nga mmalirizza okufuna buli kimu ekyetaagisa mu nnimiro.

Naye nasooka kusimba yiika emu ey’emiyembe okulaba bwe gikola era ng’enze nnyongerako mpola. Nkyayongera okugisimba, era nsuubira gye bujja nja kufuna akuuma akakamula emiyembe okufunamu juyisi mmutunde.

N’ebitooke nsoose yiika emu, naye olusuku nja kulugaziya. Buli kimu ntandika mpola, enkoko n’embizzi nnina ntono naye bino mbikozesa kusomerako nga bwe nfunamu ssente entonotono, nja kubyongerako bwe nnaazuula engeri ennyangu ey’okukekkereza ssente ng’ate bwe nfunamu,” Can. Ntulume bwe yagambye.

Okugeza enkoko natandika na 100, ente nasooka n’emu aba NAADS ne bampa endala, nasooka n’embizzi emu ye yazaala endala.

Nkozesa abakozi basatu bokka. Nkubiriza Bannayuganda, tandika ne ky’osobola ogende ng’ogaziwa,” bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ekiggwa ky'Abajulizi e Namu...

Engeri Ekiggwa ky'Abajulizi e Namugongo gye kifaanana. Eno gye battira Abajulizi era ekifo kino kyafuuka kya bulambuzi...

Abamu ku beetabye mu lukiiko.

Alina poloti etaweza 50 ku ...

Minisitule y’eby’ettaka n’okuteekerateekera ebibuga bafulumizza enteekateeka empya ey’okuzimba mu bibuga. Bategeezezza...

SPC Faizal Katende.

SPC Faizal Katende eyakwati...

OFIISA wa poliisi SPC Faizal Katende asabye kkooti emukkirize okuyimbulwa ku kakalu ka`ayo. Bino Ssentebe wa kkooti...

Ssentebe Sserwanga (alina enkumbi) ng'atema evvuunike ly'okuzimba eddwaaliro.

Gavumenti ewadde ab'e Kayun...

GAVUMENTI ewadde ab’e Kayunga obukadde bw’ensimbi 600 okugaziya eddwaaliro lya Busaale mu ggombolola y’e Kayunga...

Ssaabadinkoni w'e Ndeeba mu Bugerere, Ven. Balamaze (akutte akazindaalo) ng'atuuza Rev. Ssendege (ku ddyo).

Bannaddiini mubuulire enjir...

SSAABADINKONI w’e Ndeeba mu Bugerere, Ven. Edward Balamaze akuutidde Bannaddiini babuulire enjiri ekumakuma abantu...