TOP

Vision Group ereese omusomo gw'abalimi n'abalunzi

Added 9th January 2017

VISION Group efulumya ne Bukedde etumbudde ebyobulimi n’obulunzi ng’eyita mu butabo okuli Enkumbi Terimba akafulumira mu Bukedde buli Mmande ne Harvest Money akafulumira mu New Vision buli Lwakubiri, etegese omwoleso gw’abalimi n’abalunzi ogugenda okubeera mu kisaawe e Namboole nga February 18 ne 19, 2017.

 Robert Kabushenga naye mulimi. Wano yali alambuza Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru, ennimiro ye ey’amapaapaali.

Robert Kabushenga naye mulimi. Wano yali alambuza Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru, ennimiro ye ey’amapaapaali.

Bya HERBERT MUSOKE

VISION Group efulumya ne Bukedde etumbudde ebyobulimi n’obulunzi ng’eyita mu butabo okuli Enkumbi Terimba akafulumira mu Bukedde buli Mmande ne Harvest Money akafulumira mu New Vision buli Lwakubiri, etegese omwoleso gw’abalimi n’abalunzi ogugenda okubeera mu kisaawe e Namboole nga February 18 ne 19, 2017.

Gugenda kubeeramu okusomesa ebikwata ku bulimi n’obulunzi eby’omulembe ng’essira tulitadde ku kulima ng’ofukirira.

Olunaku lwa February 17, 2017, abagenda okwolesa lwe bagenda okukozesa okutegeka emidaala gyabwe.

Abayizi bagenda kuweebwa enkizo okulambula omwoleso, ayagala okuleeta ababe olinna okujja ng’ebula ekiseera n’obateekerateekera era mu mbeera eno abayizi bajja kuweebwa omukisa basasule kitundu (5,000/-) ku mutemwa ogulina okusasulibwa abantu abalala.

Akulira Vision Group, Robert Kabushenga yategeezezza nti kkampuni ekirabye nga waliwo obwetaavu bw’okuziba omuwaatwa oguli wakati w’abantu abakola ebintu eby’enjawulo mu bulimi n’obulunzi kwe kutegeka omwoleso guno ogubaleeta awamu.

“Oluvannyuma lw’okutandika omulimu gw’okusikiriza n’okwagazisa abantu okulima n’okulunda, twagala okwongera okulaba nga buli omu asobola okumanya bye yeetaaga gy’asoboola okubiggya nga tusisinkanya abantu bano mu kifo kimu”, Kabushenga bwe yaggumizza.

Omwoleso gwakubeeramu abakugu okusomesa abantu ku bikwata ku bulimi n’obulunzi. Buli anaayingira mu mwoleso waakusasula 10,000/- okulambula, ayagala okwetaba mu misomo abakugu mwe banaasomeseza osasula 20,000/- buli lunaku.

Kyokka aneetaba mu misomo olina okujja ku Vision Group n’osasula ng’omwoleso tegunnaba kutuuka n’otegeezebwa enteekateeka nga bw’eneebeera. Kabushenga yayongedde okulambulula nti omwoleso guno gugendereddwaamu okulaba ng’abaguzi basisinkana abatunzi.

Abakugu mu bintu eby’enjawulo okuli okulunda enkoko, ente, embizzi, okulima emmwaanyi, amajaani, enva endiirwa, emmere ey’ensigo nga kasooli.

Abakugu bagenda kukulaga engeri gy’oyinza okunoga ensimbi mu bintu ebyo ne wa gy’oyinza okufuna obuyambi ne bakuteekamu ssente ng’olima.

Eno gy’ogenda okumanyira ludda wa gy’oyinza okusanga ebintu ng’abatunda ensigo entuufu, ebyuma ebifukirira, ttulakita n’ebirala. Abasuubuzi n’abalina bye bakola mu bikunguddwa basisinkane abalimi n’abalunzi buli omu amanye omulala bye yeetaaga.

Abakugu baakukulaga ennonda y’ensigo, entegeka y’ennimiro, endabirira n’enkozesa y’eddagala n’ebigimusa, enkwata y’amakungula, okunoonya akatale, okugattako omutindo ku ky’okola n’ebirala.

“Bino byonna biruubirirwamu okulaba ng’obulimi bufuulibwa omulimu ogusobola okuyimirizaawo abaguyingiddemu nga bakola ebyo ebibasobozesa okufunamu ssente”, Kabushenga bwe yannyonnyodde.

Kabushenga akubiriza abazadde okuyita n’abaana baabwe kubanga eggwanga ery’enkya lirina kuzimbibwa kati era nga kye twagala abaana baffe babeere kirina kubassibwamu okuviira ddala nga bato.

Okusinziira ku Davi Mukholi avunaanyizibwa ku pulojekiti ez’enjawulo, Omulimi asinga owa 2016 waakulangirwa mu mwoleso. Abalamuzi bamaze okulambula abo bebaalonda ku basinze mwe bagenda okuggya omuwanguzi.

Olumala okulangirira Omuwanguzi ng’ate tutongoza empaka z’omulimi asinga owa 2017. Abawanguzi 10 okuva mu bitundu eby’enjawulo baakugabana obukadde 150 n’okuweebwa okugendo okugenda e Budaaki bongere okubangulwa mu byobulimi.

Empaka z’Omulimi Asinga ziteekebwa ssente kkampuni okuli: Vision Group, ekitebe kya Budaaki mu Uganda, DFCU bank ne KLM Airlines.

“Tukubiriza abantu okwongera okuyingira mu mpaka zaffe ez’Omulimi Asinga kubanga mulimu ebirungi bingi omuli okuwangula ssente okutuuka ku bukadde 50 n’olugendo olusasuliddwa okugenda e Budaaki okulambula n’okuyigira ku balimi n’abalunzi abaakula edda olwo naawe osobole okwongera ku nnyingiza okuva mu ffaamu yo”, Kabushenga bw’agamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...