TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Yiga okuziyiza ssennyiga n'omusujja mu mbizzi n'enkoko

Yiga okuziyiza ssennyiga n'omusujja mu mbizzi n'enkoko

Added 23rd January 2017

Dr. Mugabi agamba nti ebinyonyi ebyasenguka okuva mu mawanga ag’ebweru olw’obutiti byafudde mu bungi ku bbiici ya Lutembe nga kiva ku ssennyiga ate oluvannyuma n’embaata ne zitandika okufa mu disitulikiti y’e Masaka.

 Tokkiriza buli omu kumala gayingira mu kiyumba kya nkoko sikulwa akuleetera ssennyiga n’azitta zonna.

Tokkiriza buli omu kumala gayingira mu kiyumba kya nkoko sikulwa akuleetera ssennyiga n’azitta zonna.

Bya HERBERT MUSOKE NE JACINTA BWANIKA

ABAVUBI ku myalo okuli Kachanga ne Lambu ne Bukakata mu Masaka basattira olwa ssennyigga w’ebinyonyi asse embaata n’enkoko zaabwe n’omusujja gw’embizzi ogusse eziwera kyokka abamu ne babirya olw’obutamanya.

Minisitule y’ebyobulimi, obulunzi n’obuvubi ku ntantikwa ya wiiki ewedde yalangirira nga ssennyiga w’ebinyonyi bw’alumbye Uganda mu naddala ku myalo e Bukakata e Masaka ne Lutembe e Ntebe mu Wakiso ku lubalama lw’ennyanya Nalubaale.

Ate omusujja gw’embizzi gwalangiriddwa e Masaka nga nagwo gw’akatta embizzi ezisoba mu 200, abalunzi ne balabulwa okubeera abeegendereza ku faamu zaabwe n’abantu okwewala okukwatibwa obulwadde buno.

Dr. Kenneth Mugabi avunaanyizibwa ku birwadde ebibalukawo mu minisitule ly’ebyobulimi, obulunzi n’obuvubi agamba nti ssennyiga ono akwata ebinyonyi, ensolo n’abantu.

Dr. Mugabi agamba nti ebinyonyi ebyasenguka okuva mu mawanga ag’ebweru olw’obutiti byafudde mu bungi ku bbiici ya Lutembe nga kiva ku ssennyiga ate oluvannyuma n’embaata ne zitandika okufa mu disitulikiti y’e Masaka.

Kigambibwa nti abavubi e Lutembe basatandika okulaba eminyonyi nga bifa ku ntandikwa y’omwzi guno wabula ab’e Bukakata bagamba nti embaata zaabwe zaatandika okufa mu December.

GISO Charles Mawanda ne ssentebe wa ggombolola y’e Bukakata Ssaalongo Aloysius Jjuuko balaajanidde Gavumenti okutwala abakugu mu kitundu kino okwekebejja abatuuze kubanga okuva ekiseera ekyo ng’abantu balya embaata ezifudde olw’obutamanya bulwadde buzitta.

“Wabadde tewannabaawo muntu afa oba kulwala mu ngeri eyo kyokka tulina okutya kubanga abantu balidde enkoko n’embaata ebibadde birabika nga birwadde era kino kiyinza okuba nga nabo kyabaviiriddeko okukwatibwa obulwadde”, Ssentebe Jjuuko bw’agamba.

Enkoko n’embaata ezisoba mu 20,000 ze zaakafa nga kino kitadde abalunzi baabyo mu kutya naddala olw’okufiirizibwa.

Avunaanyizibwa ku byekulaakulana y’ekitundu Ritah Nantume alaze olweraliikirivu olw’ebibiina by’abavubuka n’abakyala ebibadde biyimiriddewo ku kulunda enkoko n’ebizzi.

Ssaalongo Robert Sserwanga, omukugu mu by’enkoko okuva mu kkampuni ya Agrarian Systems yagambye nti obulwadde buno businga kutawaanya masekkati ga ggwanga ate nga mulimu abalunda enkoko nga bizinensi abasoba mu bukadde omwenda.

Wabula agamba nti ekizibu ekiriwo kwe kwawula obulwadde buno ku bulwadde bw’enkoko obulala ng’ekiddukano (New Castle) kubanga obubonero bwabwo bufaanagana n’obwassennyiga ono. 

Mu kiseera kino eky’omusujja gw’embizzi, olina okukebera embizzi zo buli kiseera.

 

Obubonero bwa ssennyiga

  • Okukolola
  • Ssennyiga akulukuta
  • Okuzimba emimiro.
  • Ekiddukano lOkukaluubirirwa mu kussa lOmusujja gw’ebbugumu eriyiridde (100.4F)
  • Okulumwa nnakanyama
  • Okubulwa emirembe

OMUSUJJA GW ’EMBIZZI

Omusujja guno gusinga mu ggombolola y’e Kimaanya - Kyabakuza. Eno embizzi ezisoba mu 100 ze zaakafa.

Muky. Phiona Kataama, omulunzi w’embizzi agamba nti yaakafiirwa embizzi ezisoba mu 43 kyokka ng’endala ezisoba mu 100 zonna zaakwatiddwa.

“Mu kiseera kino sikyalina kya kuzza, embizzi zange zonna eziri mu ludda lw’ezizaala zaamaze okukwatibwa omusujja era ngenda kuzisaanyaawo”, Kataama bw’agamba.

Dr. Godfrey Gandugga, omusawo w’ebisolo mu Luweero era ng’akola n’ekitongole kya Luweero Plan for Modernisation of Agriculture Action Team (LUPMAT] agamba nti omulunzi wenna ssinga okizuula nti ffaamu yo erumbiddwa omusujja gw’embizzi, totawaana kujjanjaba kubanga tewali ddagala lijjanjaba bulwadde buno okuggyako okuggyawo ezikyali ennamu.

“Mu kiseera kino abantu kye balina okukola kwe kufuba okulaba nga batangira obulwadde buno okwongera okusaasaana,”  Dr. Gandugga bw’agamba.

Agamba nti ng’ekirwadde kino nga kyakayingira ffaamu yo, embizzi 2-3 ze zisobola okulabibwa nga ndwadde mu nnaku ebbiri ezisooka wabula oluvannyuma embizzi zo zitandika okulaba obubonero nga:  

Okukolola kabonero akakulaga obulwadde buno. Wadde zitera okukolola naddala nga zirina enjoka, ssinga olaba ng’embizzi yo etandise okukolola, yita omusawo.  

2. Okukaluubirwa okussa, okwasimula n’okuva amazzi mu nnyindo agalinga eminyira.  

3. Omusujja ogw’amaanyi, ezimu zitandika okukankana n’okwokya. Ku ntandikwa, ezimu zitera okusesema ate oluvannyuma zitera okwesiba olubuto.  

4. Obutayagala kulya n’okumenyeka amagulu nga tesobola kuyimirira wabula okwebaka ekiseera kyonna.  

5. Ziyinza okuvaamu amawako naddala ku myezi emito n’okuzaala obwana obufu  n’obutayagala kuyonsa.  

6. Ebeera terya bulungi era ebeera emyukiridde naddala enjeru nga n’ennyama ebeera mmyuufu.

OKUBUTANGIRA

  • Dr. Emma Naluyima, omulunzi w’embizzi e Bwerenga-Ntebe mu Wakiso agamba nti ssinga ozuula nga ffaamu yo erumbiddwa obulwadde buno, wandibadde byonna (enkoko oba embizzi) obitta wabula bw’obeera osobola ku mbizzi zaawule buli emu ebeere yokka.
  • Weewale okuyingiza abagenyi mu ffamu yo, ate naawe okukyalira ffaamu endala wabula ssinga kibeera kibaddewo beera n’ebikooti by’owa abagenyi era ssaawo eddagala naddala jiiki mwe balinnya nga tebannayingira ffaamu.
  • Naawe bw’oba oliko ffaamu gy’ovaamu toyingira ffaamu yo nga tonnaba kunaaba na jiiki era mukozese okufuuyira okwetooloola ffaamu yo waakiri omulundi gumu buli wiiki.
  • Genderera ennyama gy’ogula okulya awaka, wandibadde mu kiseera kino oviira ddala ku nnyama y’embizzi ssinga owulira obulwadde bw’omusujja mu kitundu kyo.
  • Ssinga embizzi ekwatibwa oba efa omusujja giziike mu kinnya ekiwanvu, ensolo ng’embwa obutagiziikulayo kubanga bwe zigirya zijja kutambuza obulwadde.
  • Kuuma obuyonjo ng’oyoza ebiriirwamu n’ebinywerwamu ate obyanike ku katandaalo mu kasana okutta obuwuka.
  • Kakasa nti obunyonyi bw’omu nsiko tebulina we buyita kuyingira kulya ku mmere ya nkoko oba mbizzi zo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu