TOP

Bbeeyi ya Vanilla ezzeemu okulinnya

Added 13th February 2017

BBEEYI ya Vanilla yeeyongedde okulinnya nga kati kkiro egula wakati wa 180,000/- ne 200,000/- okusinziira ku kkampuni ez’enjawulo ezimutwala ebweru.

BBEEYI ya Vanilla yeeyongedde okulinnya nga kati kkiro egula wakati wa 180,000/- ne 200,000/- okusinziira ku kkampuni ez’enjawulo ezimutwala ebweru.

Kumpi embeera yali bw’eti mu myaka gya 1990 Vanilla bwe yalinnya n’atuuka mu mitwalo 17 olwo abantu ne batandika okumulima, wabula oluvannyuma yagwa lumu era abaali batemye emmwaanyi okusimba Vanilla ne bafiirwa.

Wadde nga Vanilla azzeemu okulinnya naye abantu tebannaba kumujjumbira olw’okutya nti bbeeyi eyinza okukka nga bwe gwali luli.

Vanilla yatandika okulimibwa mu Uganda mu 1912, Abayindi be baamusimba kyokka nabo tebaagikolanga nga bizinensi.

Bwe baabagoba mu 1972, Vanilla yaddirira n’asigala kulimibwa mpolampola mu maka agamu.

Ku ntandikwa ya 2003, abalimi baggwaamu amaanyi Vanilla bwe yagwa ebbeeyi n’abulako n’abuuza kino kyavaako abalimi okulekera awo okutundula Vanilla n’abamu ne bakwatibwa obusungu ne batandika okumusaawa.

Ekyasuula Vanilla Vanilla w’e Madagascar yafuna ekizibu ng’ensi eyali esinga okufulumya Vanilla mu nsi yonna, baali tebakyasobola kufulumya Vanilla olw’ekyeya.

Obungi bwa Vanilla bwakendeera ku katale olwo abaguzi ne batandika okunoonya Vanilla mu buli kanyomero awo owa Uganda we yafunira omukisa ogulinnya bbeeyi.

Minisita w’ebyobulimi, obulunzi n’obuvubi, Vincent Bamulangaki Ssempijja agamba nti, Vanilla okugwa bbeeyi kyava ku balimi ba Uganda obutakuuma mutindo nga banoga Vanilla omuto.

Kino era kyava ne ku basuubuzi okutandika okusuubula Vanilla omuto nga bakaka abalimi okumugula ne bamubikka n’asobola okufuuka omuddugavu.

Aga Ssekalala Snr, dayirekita wa kkampuni ya Uvan etunda Vanilla ebweru, agamba embeera y’okunoga Vanilla nga muto aba taliimu kawoowo kamala.

Akawoowo kano abaguzi ke baagala mu Vanilla, bw’anogebwa nga muto tayita ku mutindo.

Abakungu okuva mu kitongole ekigula Vanilla mu nsi yonna ekya Sustainable Vanilla Initiative, baabaddeko mu Uganda ne basisinkana abalimi, abasuubuzi n’abalala abakwatibwako ku Vanilla okwabadde ne Minisita Ssempijja ssaako abakungu okuva mu Operation Wealth Creation (OWC), ne bakakasa nti akatale ka Vanilla tekabangako kabi.

Dr. Okello okuva mu OWC yategeezezza nti ekimu ku bizibu Vanilla by’asinze okusanga kwe kunoga Vanilla omuto, abalimi okubulwa embowabowa, obutabaawo mateeka, okubulwawo abalimisa abayamba ku balimi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.