TOP

Engeri gy'olima emicungwa n'emiyembe n'olya kigagga

Added 27th March 2017

“Twasalawo okutandika okuyunga endokwa ze tusimba naddala okuzza we tusigudde era mu kiseera kino tunaatera okumalamu ebika ebirala byonna”,

 Nkuubi ng’alaga emicungwa gye balima n’obucupa omussibwa eddagala eritta obuswera.

Nkuubi ng’alaga emicungwa gye balima n’obucupa omussibwa eddagala eritta obuswera.

KKAMPUNI ya Vision Group efulumya Bukedde, ekwataganye ne bbanka ya DFCU, ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne kkampuni y’ennyonyi eya KLM okunoonya omulimi n’omulunzi asinga mu Uganda omwaka gwa 2016.

Abanaavuganya mu mpaka zino mujja kutuweereza amannya gaabwe ku omulimiasinga@newvision.co.ug oba 0752628931 tubatuukirire tubawandiikeko buli Mmande.

HERBERT MUSOKE leero alaze engeri abooluganda gye baakozesa ettaka kitaabwe lye yabalekera okukola Katende Farm.

 BW’OTUUKA ku Katende Farm ku kyalo Kasuubo-Lukaya mu Masaka, owulira ng’embeera yonna ekyuse olw’akawewo, obukkakkamu n’obulungi bw’ebirime omuli emiti n’obuddo obwebase obulungi by’otunulako.

Ffaamu eno eddukanyizibwa abooluganda bana okuli Charles Magala, Vincent Nkuubi Katende, Dr. Mayanja Katende ne Noah Mutyaba, etudde ku yiika 67.

Ku zino kitaabwe omugenzi Petero Katende yabalekerako yiika 57 nabo ne bagulayo yiika 10 okwongerako.

Kuno abooluganda bano balimirirako emicungwa yiika 9, emiyembe yiika 7 n’ekibira kya Payini yiika 30 n’olusuku nga luno lwa kulyamu mmere lwa yiika 8.

Vincent Katende Nkuubi abeera ku ffaamu, agamba nti obutafaanagana ne bamulekwa abalala, baasalawo okutwala mu maaso omulimu gwa kitaabwe ogw’okulima kuba bazadde baabwe baali balimi.

“Twakula era twasomera ku bulimi nga bazadde baffe balima naddala emmwaanyi naffe ne tulaba ng’okudda ku ttaka kitaffe lye yatulekera okuligabana oba n’okulitunda tetugenda kufunamu kye twava tutuula nga famire ne tusalawo kye tusobola okulikolerako ekinaasigala nga kituliisa.

Mu kiseera ekyo twali tukyali bataano ku baana omwenda be yazaala okwali mwannyinaffe Neolinah Namakula kyokka ono yafa oluvannyuma lw’emyaka emitono ddala nga mu kiseera kino twasigala bana era bwe tuddukanya ffaamu eno”, Nkuubi bw’annyonnyola.

OKUTANDIKA FFAAMU

Nkuubi annyonnyola nti; Oluvannyuma lwa taata okufa, mu 1996 twatuula ng’abaana ne tuteesa ebintu 10 kwe tutambulira okwali; Okwerula empenda z’ettaka lyonna, okutandika okukulaakulanya ettaka lino era twawa Noah Mutyaba omulimu gw’okusaawa, okusalawo eby’okulola ku ttaka lino ng’awagimu twalimirawo emiyembe, emicungwa n’olusuku ate eritali ne tulissaako ekibira omugenda okussibwa ekifo awawummulirwa.

Twasalako ekitundu omuzimbwa amayumba nga buli alina omusaayi gwa Katende bw’ayagala okuzimba azimba, okusalamu enguudo omuyitibwa n’okukozesebwa mu nkulaakulana z’omu maaso, okuteekateeka ekifo awawummulirwa omunaaba woteeri ez’omulembe n’ekibira, okusiba ettaka lyonna n’ebirala.

Ekibira kya payini mwe bagenda okussa ekifo ekiwummulirwamu.

 

EKIBIRA

Mu 2007 twatandika okusimba ekibira kya payini kya yiika 30 nga kino twasimbanga buli sizoni nga tusimba okusinziira ku kye tusobodde.

Wadde nga twali tusobola okugenda mu bbanka ne tewola ssente okutandika ffaamu eno, twagaana nga tulaba nti ssinga wabaawo ekigwawo ne tulemererwa tuyinza okufiirwa ettaka lyaffe ne tusalawo okutambula empola n’ekyo kye tulinawo.

Ekibira twakisimbira emyaka ebiri nga bwe tussaamu n’ebirime ebitambulira ku sizoni nga kasooli, ebijanjaalo n’ebirala.

Ekibira kyaffe tetwakisimba kukisalamu miti wadde nga nagyo gisoboka kuba kati gikuze, naye twagala okukikozesa okussaawo ekifo awawummulirwa omugenda okussibwa obuyumba obw’omulembe, weema, n’ebifo omusobola okussibwa weema ng’abantu basobola okujja wano ne bawummula nga bwe bakola ebyabwe.

Twagala okussaamu ebyokwerinda, amakubo amalongoose obulungi, amataala agamulisa obudde bw’ekiro, ebyemizannyo nga Volleyball, ekidiba ky’okuwuga, wooteeri n’ekirabo ky’emmere eky’omulembe wamu n’ebbaala.

Mu kiseera kino tutandise ku nteekateeka zonna era ne pulaani y’ekifo twamaze okugifuna n’ebikozesebwa mu kuzimba tutandise okubissaawo.

EMICUNGWA

Nkuubi agamba nti balina emicungwa yiika mwenda nga muno basobola okufunamu ebikolo 2,718 nga basimbye obugazi bwa ffuuti 12 ku 12.

“Mu 1997 twatandika okusimba emicungwa mu yiika nnya nga tukolagana n’ekitongole ky’obulimi e Kawanda abaatuguza endokwa ku 5,000/- buli emu n’okutuyamba okulonda emicungwa gye twasimba.

Baatuyamba okututendeka n’okututeekateeka mu ndabirira y’emicungwa ne ffaamu okumala emyaka ebiri olwo ne batuleka”, Nkuubi bw’agamba.

Ono agamba nti wadde nga baali basabye abakugu okubawa emicungwa ekika kya Washington Navel kyokka kuba kino kirina akatale kuno ne mu nsi yonna, gyagenda okutandika okubala nga mulimu ebika ebirala bibiri okuli; Venetia ne Arovine ebitalina nnyo katale.

“Ekibi nti emicungwa gino osobola kugyawula nga gitandise kubala anti ebibala by’ekika kya Washington Navel birina ekkundi emabega okwawukana n’ebika ebirala wadde ne Washington Navel alimu ebika naye bikola kye kimu”, Nkuubi bw’agamba.

Okusinziira ku Nkuubi, ssinga olabirira obulungi ffaamu yo, Washington Navel abala omwaka gwonna nga buli kiseera kubeerako egikuze okunoga.

Ekikolo kimu kisobola okukuwa emicungwa 500 n’okudda waggulu omwaka nga buli mucungwa gugula 1,000/-.

Annyonnyola nti ekika kino kitandika okubala ku myezi esatu ssinga obeera wakozesezza akatabi akakulu okuyunga endokwa kyokka okutandika okukuweera ddala kitwala wakati w’emwaka 3 ku 4.

Baatandika ne yiika nnya ate ettaano bazongeddeko emyaka ebiri nga teginnaba kutandika kubala na kunogebwako.

“Bw’okubisa emicungwa 500 ku 1,000/- ofuna 500,000/- okuva ku buli kikolo omwaka.

Bw’okubisa mu bikolo 2718 ofuna akawumbi kamu n’obukadde 359.

Wabula mu kiseera kino tunoga kuva mu yiika nnya ezaasooka nga kitegeeza nti twandifunye obukadde 604 kyokka olw’okuba tulinamu emicungwa ebika ebirala omwaka oguwedde twafunye obukadde 35 mu micungwa gyokka”, Nkuubi bw’agamba.

Nkuubi ng'alaga akacungwa akato akasizza

 OKUYUNGA ENDOKWA

Oluvannyuma lw’okukizuula nti bafiirwa ssente nnyingi okulima emicungwa ebika ebirala, ku nkomerero y’omwaka oguwedde baatandika okusigulamu ebikolo byonna ebitali Washington Navel.

“Twasalawo okutandika okuyunga endokwa ze tusimba naddala okuzza we tusigudde era mu kiseera kino tunaatera okumalamu ebika ebirala byonna”, Noah Mutyaba mutabani waabwe abeera ne Nkuubi ku faamu bw’agamba.

Okusobola okuyamba abalimi abalala abaagala ekika ky’emicungwa ekya Washinghton Navel baasazeewo okutandika okutunda endokwa zino ku 10,000/- buli emu.

EMIYEMBE

Mu kiseera kino ffaamu eno eriko yiika 7 ez’emiyembe nga baatandika ne yiika bbiri era ze zinogebwamu. Zino zirimu ebikolo 302 bye baasimba mita 8 ku 8.

Nkuubi agamba nti emiyembe balina kika kya Tommy nga kino kibala emiyembe egisoba mu 500 omwaka egitundibwa wakati wa 1,500/- ne 2,000/- buli gumu.

“Omwaka oguwedde twafuna obukadde 17 okuva mu miyembe gye twakungula mu yiika ebbiri.

Tusuubira okwongera ku nnyingiza nga yiika etaano nazo zitandise okubala”, Nkuubi bw’annyonnyola.

OLUSUKU

Okusinziira ku Nkuubi, basooka ne bafuna mu matooke nga gaakatandika nga basobola okutema enkota etundibwa 40,000/- kyokka oluvannyuma olusuku lwakaddiwa olwo ne basalawo okululeka kuba nga ssente z’okululabirira ludde engulu nnyingi okusinga ze basobola okuggyamu.

“Twakitunuulira nga tewali nnyo kye tusobola kufuna mu lusuku ssinga tussaamu ne tusalawo okululeka lubeere lwa kutemamu mmere eri famire”, Nkuubi bw’agamba.

AKATALE

Okusinziira ku Nkuubi, emiyembe n’emicungwa abaguzi babinona ku ffaamu kuba byatttunzi, wabula nabo balina enkola y’okugitwala mu supamaketi.

“Wadde ng’ebisinga bigulirwa ku ffaamu, tulina supameketi ez’enjawulo ze tuguza emiyembe n’emicungwa nga wano emicungwa tugissa mu busero wabula ggyo emiyembe tugisiba bulungi okugitwalayo”, Nkuubi bw’agamba.

Ono agamba nti emiccungwa egikuze obulungi era egijjudde ebiriisa byonna, girina kunogoka gyokka okuva ku butabi ng’abaginoga bakola nsobi era boonoona wadde nga girabika nga myengevu.

“Olw’okuba nti tetunoga minoge lumu, tulina sitoowa ezimbiddwa obulungi nga mulimu siiringi okugiwa obunnyogovu obumala okukuuma emicungwa nga tetunnagitwala ku katale ate emiyembe tuginoga lumu nga tugitwala mu katale”, Mutyaba bw’annyonnyola.

OKUKUUMA OBUTONDE

Ekutundu ky’e Lukaya kifuna akasana akakambwe kuba kisangibwa kumpi n’ekkubo ly’enjuba era okusobola okulima olina okukozesa amagezi ag’enjawulo.

“Twasalawo okunoonya engeri y’okulima kyokka ng’ettaka libikiddwa. Twasooka ne tubikkisa omuddo omukalu kyokka ng’enkuyege zigulya mangu nga kyetaagisa ssente nnyingi okubikka ekiseera kyonna”, Dr. Mayanja bw’agamba.

Ono agamba nti bwe yagenda e South Afrika yasisinkanayo paasipalamu asobola okukola mu nnimiro gwe yaleeta ne batandika okumusimba mu ffaamu yonna era y’akozesebwa.

“Ffe wano ffaamu zonna twazisimbamu pasipalamu, tukola gwa kusaawa kyokka olwo ebisubi ebisaliddwa nabyo ne tubissa mu bikolo nga tukoze omuge. Bino byonna biyamba okukuuma amazzi mu ttaka ng’ekuba bw’eyonnya gayingira ate akasana bwe kaaka ettaka terikala nnyo”, Dr. Mayanja bw’agamba.

Mu ngeri y’emu baasima enzizi ezivaamu amazzi okufukirira ffaamu zaabwe mu kiseera ky’akasana akayitiridde.

“Byonna bye tulima okuggyako emiti, byetaaga amazzi noolwekyo twasima enzizi bbiri nga zino zituwa amazzi ge tukubisa akuuma n’okutambuliza mu payipu okutuuka mu ffaamu okukuuma ennimiro nga zitambula bulungi ddala”, Dr. Mayanja bw’agamba.

EBISEERA EBY’OMU MAASO

Nkuubi agamba nti bakola n’abaana baabwe ku ffaamu okukakasa nti nga bwe badda mu bigere bya kitaabwe, nabo bwe bavaawo abaana baabwe basobola bulungi okutwala ffaamu eno mu maaso.

“Buli mwezi abaana balina okujja ku ffaamu ne babeerako bye bakola okumala ennaku 14.

Kino tukikola okulaba nga abaana baffe bayiga n’okumanya byonna ebitambula ku ffaamu.

Ng’oggyeeko ekyo waliwo mutabani waffe Noah Mutyaba, ono abeerera ddala wano obutavaawo nga tuddukanya naye ffaamu”, Nkuubi bw’agamba.

Mutyaba agamba nti okukola ne bakitaabe kimuyambye okufuna omulimu n’okuyiga okuddukanya ffaamu ky’agamba nti kyakumuyamba nnyo mu biseera by’omu maaso.

OKUSOOMOOZEBWA

Nkuubi agamba nti okusoomoozebwa kwe basinga okufuna kwa kuferebwa mu ndokwa nga kino kibafiirizza nnyo ssente ne basalawo okutandika okweyungira endokwa zaabwe.

Mutyaba agamba nti emiyembe n’emicungwa gimanyi okukunkumuka mu kiseera ky’okuteekako obutengo nga wano balina okufuba okufuuyira nga bakozesa eddagala lya Easy glo okukwasa ekimuli.

Okusoomoozebwa okulala ky’ekyeya kyokka kino twasimba paasikalamu akuuma amazzi mu ttaka ate n’okusima enzizi ezibawa amazzi okufukirira mu kyeeya.

“Waliwo n’obuwuka bwa ‘Fruit flies’, buno buvunza emiyembe n’emicungwa. Buno tubufunira eddagala okubufuuyira n’okusaawo obubutta”, Mutyaba bw’annyonnyola.

Nkuubi alaga olumu ku nzizi ze baasima okufukirira mu kyeya.

 

OKUFUNA SSENTE

Nkuubi agamba nti wadde basobola okwewola ssente okuva mu bitongole by’ensimbi, kino famire yakigaana ne batereka ssente ze bafuna mu ffaamu okwetegekera ebiseera n’enteekateeka z’okukulaakulanya ffaamu yaabwe.

“Buli kye tukola tukikola nga famire era mu kiseera kino tusinga kulowooza ku kugaziya n’okukulaakulana ffaamu eno noolwekyo ssente zonna ze tufuna ng’amagoba tuzizzaamu”, Nkuubi bw’agamba.

OKUKUUMA EBITABO

“Buli kikolebwa eno tukiwandiika mu bitabo okutuyamba okumanya enzirukanya ya ffaamu n’ekirina okukyusibwa era buli mwezi tusisinkana ng’aba famire okutunula mu bitabo bino okulaba nga faamu bw’etambula”, Nkuubi bw’annyonnyola.

Okuzinziira ku bitabo by’omwaka oguwedde, emicungwa gyavaamu obukadde 35 ate emiyembe 17,800,000/- bwe bukadde 55, 800,000/-.

“Kuno kwe twaggya ssente z’okusaawa ekibira n’ennimiro zonna nga zino zisaayibwa buli luvannyuma lwa nnaku 14 mu kiseera ky’enkuba oba omwezi mu kyeya nga kitwala obukadde obusoba mu 12 omwaka olwo ne tusigaza obukadde 43.

EKITUNDU BYE KIFUNYE

Okusookera ddala abantu b’oku kitundu tubawa emirimu nga mu kiseera kino tukozesa abantu 25 ku 30 buli wiiki.

Buli omu asasulwa kusinziira ku ky’akoze.

Gavumenti n’abakulembeze ku kitendera egy’enjawulo bategekera wano emisomo okugeza aba Wealth Creation bwe baali batendeka abalimi mu disitulikiti ezikola Greater Masaka mu kulima emiyembe, emicungwa n’amatooke baabasomesereza wano okumala emyezi ebiri, abayizi ba Muteesa Royal Yunivasite nabo bajjako wano ne basoma okumala emyezi esatu.

“Kino naffe kituyamba okwongera okuyiga kuba waliwo abakugu abajja okusomesa ate n’okwongera okusoma ng’affe okulaba nga twongera okuyiga ku birime bye tulina ku faamu nga tusoma amawulire, ebitabo n’okweyambisa omukutu gwa yintaneeti”, Nkuubi bw’agamba.

Bali ku nnamba; Dr. Katende 0701891189 oba Nkuubi ku 0772672551

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'olulyo Olulangira bafulu...

EKIWANDIIKO KU MBEERA YA KABAKA OKUVA MU BOOLULYO OLULANGIRA

Endabirira y'akamwa n'amannyo.

▶️ Olabirira otya akamwa n'...

▶️ SSAAYANSI W'OBULAMU; Olabirira otya akamwa n'amannyo.  

Yiga okukola emisubbaawa awaka.

▶️ Yiga okukolera emisubbaa...

▶️ Yiga okukolera emisubbaawa awaka ofune ensimbi.

Dr. Specioza Wandira ng'annyonnyola.

▶️ Dr. Specioza Wandira aku...

▶️ Dr. Specioza Wandira akubirizza abantu okugenda babageme Covid 19.

Natalie E. Brown

Omubaka wa Amerika mu Ugand...

OMUBAKA wa  Amerika mu Uganda Natalie E. Brown ayagalizza  Abasiraamu ekisiibo  ekirungi n'agamba nti kino kibeera...