TOP

Ekyama ky'olusuku kiri mu kwekolera bigimusa

Added 1st May 2017

KKAMPUNI ya Vision Group efulumya Bukedde, ekwataganye ne bbanka ya DFCU, ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne kkampuni y’ennyonyi eya KLM okunoonya omulimi n’omulunzi asinga mu Uganda omwaka gwa 2016. Abanaavuganya mu mpaka zino mujja kutuweereza amannya gaabwe ku omulimiasinga@newvision.co.ug oba 0752628931 tubatuukirire tubawandiikeko buli Mmande. HERBERT MUSOKE leero awandiise ku Twaha Magandaazi, omulimi w’olusuku e Bukomero akulaga eky’enjawulo ky’alussaamu okumukolera ssente.

 Magandaazi ng’atabula ebigimusa by’akozesa mu lusuku lwe.

Magandaazi ng’atabula ebigimusa by’akozesa mu lusuku lwe.

OBUTETENKANYA ly’ekkubo omulimi mw’asobola okuyita okufuna mu mulimu guno. Eno y’empagi Twaha Magandaazi 30, omulimi w’olusuku ku kyalo Kyomya mu ggombolola y’e Bukomero e Kiboga kw’atambuliza omulimu gwe.

Agamba nti afuba okuyiiyiza olusuku lwe era alowooza nti ssinga buli Munnayuganda asobola okukozesa yiika emu yokka mu ngeri ey’enjawulo, twandibadde wala mu kugoba obwavu.

Magandaazi mutunzi wa ddagala lya kinnansi kyokka mu kiseera kino yasalawo okuyingira obulumi bw’amatooke ga bizinensi.

OKUTANDIKA

Magandaazi agamba nti oluvannyuma lw’okusoma n’atuuka mu S2, ssente zaabula kwe kutandika okutunda eddagala ly’obutonde kuba mulimu gwa famire yaabwe.

“Okuva obuto nga ndi mutetenkanya era nga nkola obulimi obutonotono obwampangayo ssente entonotono okwebeezaawo. Mu mirimu gino nakuηηaanya 800,000/- maama kwe yayongera ne nfuna akakadde mwe nagula ekibanja kino ekiweza yiika nnamba bwe yali mu P6 mu 1992”, Mugalaasi bw’agamba.

Annyonnyola nti bwe yatuuka mu S2 ssente ne zigaana, yasalawo okutandika omulimu gwa kitaawe ogw’okutambuza eddagala mu 1997.

“Omulimu guno gwa kutambula naye oyinza obutafuna ssente.Kino kyampaliriza okulowooza ku mulimu omulala. Mu 2013 natandika okusimba olusuku naye olwa bizinensi nalutandika mu 2014 oluvannyuma lw’okulaba ng’abantu abaagala amatooke weebali”, Magandaazi bw’annyonnyola.

Mu kiseera kino alina yiika emu ey’olusuku lw’alabirira obulungi ddala ng’alukuuma temu luddo wamu n’okululiikiriza okulaba ng’ekiseera kyonna lusigala nga lulabika bulungi ddala era nga lumuwa.

Ekidiba kye yasima okulembeka amazzi g’afukiriza olusuku.

ENDABIRIRA EY’ENJAWULO

Ekitundu kyaffe tutawaanyizibwa nnyo akasana kuba kati tugenda kuweza mwaka nga tetufuna nkuba ewera gy’oyinza kugamba nti esobola okubeezaawo ebirime ate n’olusuku luli ku kaserengeto.

Noolwekyo olina kubeera mutetenkanya okusigala mu bizinensi. Nfuba okukyalira abalimi abansingako be ndaba ku ttivvi ne mu mawulire ne mbayigirako.

Nakizuula ng’okumalako nina okufukirira olusuku, lumu bwe nali ku Bukedde Ttivvi nalaba omulimi eyalina ekinnya mwe yali yassa ettundubaali ng’akung’aanya amazzi ne mukoppa.

Nasima ekinnya kya ffuuti 12X8 mwe nkuηηaanyiza mukoka. Nasima olusalosalo mukoka ono mw’atambulira okuyingira ekidiba nga muno nagenda nzisaamu obuti, obutimba okukwata kasasiro amazzi galeme kuyingira kidiba nga galimu ebisaaniiko n’ebinnya okukwata enfuufu eyandijuzza ekidiba kyange.

Muno nfuniramu amazzi agammala okufukirira olusuku lwange mu kiseera ky’ekyeya kyonna era bw’olutuukako ekiseera kino wadde nga tuva mu kyeeya lulina enjawulo nene ddala.

Olusuku lwange era nalutemamu ebinnya wakati wa layini z’ebitooke bya buwanvu bwa ffuuti 6X2 nga muno mwe nzisa ebisaaniiko byonna ebibeera mu lusuku omuli ebiteteme nga nnyungizza ettooke, essanja n’endagala zonna n’omuddo.

Era wano we nzisa ebijimusa omuli obusa n’ebyamazzi bye ntabula. Wano emirandira gy’ebitooke we ginona ebiriisa. Ebinnya bino era biyamba okukwata mukoka eyandibadde adduka emisinde okuyita mu lusuku nga n’ebiwuka nga kayovu ne kaasa ebyandibadde bikosa ebitooke we bibeera.

OKUTABULA EBIJIMUSA

Ntabula ebijimusa mu nkola y’obutonde nga wano nzisa amazzi mu kinnya mwe nassa ettundubaali ne nzisaamu buli kya kiragala omuli ekigagi, ekimyula, ebisagazi, obusa, omusulo n’ebirala ne mbikkako era obisanga bitokota oluvannyuma lw’ennaku 20 ne nzisaamu evvu okutta obuwuka olwo ne mbikka okumala ennaku endala 10.

Wano bibeera bituuse okukozesa nga nsena njiwa mu kinnya kino kyokka mu kasana njiwa ku bitooke kwennyini kuba ebbugumu libeera liweddemu.

Olusuku luno nali ndulabirira nzekka wabula mu kiseera kino nafuna omukozi omu gwe nkolamu naye okulaba nga tulukuuma nga luyonjo ddala obutabeeramu muddo ng’ono mmusasula 150,000/- omwezi.

Ekinnya mw’assa ebigimusa.

ENNYINGIZA N’AKATALE

Wadde omuntu ayinza okulowooza nti yiika emu ntono, naye nfunamu ssente kuba ntemamu buli luvannyuma lwa wiiki bbiri enkota 20 ze ntunda wakati wa 15,000/- ne 20,000/-.

Kino kitegeeza nfuna wakati wa 600,000/- ne 800,000/- omwezi bwe ntoolako ez’omukozi ne nfuna 450,000/- oba 650,000/-.

Amatooke baganona waka ku nnimiro agasigaddewo ngassa ku pikipiki yange ne ngatwala mu katale e Bukomero nga kino nakyo kinnyamba okwongera ku nnyingiza yange kuba eno ettooke nditunda kutandikira ku 20,000/-.

BYE NFUNYE

Nagoba enjala mu maka gange kuba mbeera n’emmere ekiseera kyonna nga kino kinnyamba okulowooza ku birala ebinkulaakulanya mu kifo ky’okumala ebiseera nga ndowooza abantu bange kye bagenda okulya.

Ssente ze nfunye nzize nzitereka era mu kiseera kino nina ettaka eddala lye nagula lya yiika ttaano nga kuno kwe ηηenda okusimba yiika z’ebitooke endala ttaano.

Abaana bange basoma n’okulabirira famire yange mu ngeri ez’enjawulo. Era nakolera mukyala wange edduuka eritunda ebikozesebwa mu maka. Bwe mbeera nga ηηenze okuddukanya emirimu emirala ng’akwataganya eby’olusuku.

ENTEEKATEEKA Z’OMU MAASO

Mu kiseera kino namala okulongoosa yiika ttaano mwe ηηenda okusimba olusuku olulala lwe njagala okusimbamu ekika kya Mpologoma era nga njagala okubeera ne yiika z’olusuku 20. Ekyama ky’olusuku kiri mu kwekolera bigimusa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...