TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Engeri abalunzi b'enkoko gye batabuddwa olwa bbeeyi y'emmere

Engeri abalunzi b'enkoko gye batabuddwa olwa bbeeyi y'emmere

Added 5th June 2017

Bbeeyi y’emmere tenyize Bisaso yekka, wabula abalunzi abalala ab’enkoko n’ebisolo naddala ebibeerawo ku mmere entabule basobeddwa, naye ate oba okyasaasira abo naye n’abatunda emmere y’ebisolo n’enkoko nabo basobeddwa eka ne mu kibira olwa bakasitoma okukendeera buli olukya

 Musitafa Bbosa, omutabuzi we mmere y’enkoko ng’alaga emmere ewedde okutabulwa.

Musitafa Bbosa, omutabuzi we mmere y’enkoko ng’alaga emmere ewedde okutabulwa.

Bya EDWARD SSERINNYA

LAWRENCE Bisaso, omulunzi w’enkoko e Mazzi mu ggombolola y’e Ssisa mu Wakiso agamba enkoko ze ez’amagi 500 nga zibadde za myezi esatu yazitunze olw’okulemwa okuziriisa.

Bisaso agamba: Nabadde naakazza abaana ku ssomero, kyokka enkoko nga nnina okuzisaasaanyizaako emitwalo egisoba mu 40 kyokka nga ne bw’                                                                                                                                                                                                                                                                  oba weetabulidde mmere kati kkiro eggweera mu 1300/- ate bw’ogula entabule kkiro eba ya 1500/- awo okusinga okuwaliriza n’ofiirwa azitunze oba osinga.

Bbeeyi y’emmere tenyize Bisaso yekka, wabula abalunzi abalala ab’enkoko n’ebisolo naddala ebibeerawo ku mmere entabule basobeddwa, naye ate oba okyasaasira abo naye n’abatunda emmere y’ebisolo n’enkoko nabo basobeddwa eka ne mu kibira olwa bakasitoma okukendeera buli olukya.

Mustafa Bbosa omutabuzi w’emmere y’enkoko mu Kisenyi agamba nti, ekiseera kino bizinensi tetambula bulungi kubanga abalunzi bagenze badduka mu bulunzi ne badda mu bintu ebirala.

Bbeeyi y’emmere kati eri waggulu, kasooli okulinnya n’atuuka ku 1,700/- ekibadde tekitera kubaawo, kyalinnyisa bbeeyi ya ccacu ate nga kino kye kirungo ekikulu mu mmere y’enkoko ate nga tewali kintu kiri awo ky’ogamba nti oyinza okukikozesa nga ccacu ekitali ku mukene gw’oyinza okuyiiyiza mu soya ate ne soya naye bbeeyi eri waggulu nga kkiro egula wakati wa 2,700/- ne 3,000/-.

Wabula ccacu kati agula 750/- ku 770/- sso nga mu mbeera eya bulijjo teyandisaanye kusukka 350/-, wabula ebirungo ebirala bibadde bikkakkanyeemu katono nga kati mukene owa Victoria agula 3,000/- ate Albert 2,500/-, obusonko bwa 500/- ate Sunfl ower agula 1000/-, ppamba wa 1,300/- ky’olaba nti si kibi naye ate ccacu abyonoona.

Dr. Bered Bbuye, omusawo w’ebisolo e Wakiso agamba nti, emmere y’ebisolo okubaamu waggulu tekikoma kukosa mulunzi yekka olw’okufuna amagoba amatono ate olumu bw’alaba nga takyayitawo bizinensi y’okulunda ng’agivaamu naye manya nti bw’agivaamu ggwe oba ogenda kujjanjaba ki?

Ate tewali njawulo wakati wa bisolo na nkoko kubanga ebirungo bisigala bye bimu. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.