TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Abaawangudde empaka z'omulimi asinga bagenze Budaaki kulambula

Abaawangudde empaka z'omulimi asinga bagenze Budaaki kulambula

Added 16th June 2017

ABAWANGUZI b’empaka z’Omulimi Asinga 2016 baakubiriziddwa okubaako bye bayigira ku balimi n’abalunzi mu Budaaki nabo babisse mu nkola nga bakomyewo kuno kibasobozese okutumbula n’okwongera ku nnyingiza yaabwe.

 Abawanguzi b'empaka z'omulimi asinga nga basiibulwa mu butongole okugenda e Budaaki Basiibuddwa minisita Christopher Kibazanga n'omumyuuka w'omubaka wa Budaaki mu Uganda Deputy Netherlangs Hens Peter Van der Woude ku mukono ogwabadde ku kitebe kya DFCU e Nakasero.  EKIF: HERBERT MUSOKE

Abawanguzi b'empaka z'omulimi asinga nga basiibulwa mu butongole okugenda e Budaaki Basiibuddwa minisita Christopher Kibazanga n'omumyuuka w'omubaka wa Budaaki mu Uganda Deputy Netherlangs Hens Peter Van der Woude ku mukono ogwabadde ku kitebe kya DFCU e Nakasero. EKIF: HERBERT MUSOKE

Bwe yabadde ayogerera ku mukolo gw’okusiibula abalimi bano mu butongole ogwabadde ku kitebe kya bbanka ya DFCU e Nakasero, minisita w’obulimi n’obulunzi, Christopher Kibazanga yagambye nti Budaaki ggwanga eririmu abalimi n’abalunzi ab’omulembe ng’okubakyalira kirina kinene kye kigenda okuyamba abalimi bano.

“Okuwangula empaka z’Omulimi Asinga si y’enkomerero era tekitegeeza nti buli kimu okirina wabula nti oli wanjawulo ku balimi abalala era omukisa ogubaweereddwa okugenda e Budaaki okulambula abalimi n’abalunzi mugukozese okulaba nga mwongera okuyiga n’okubaako bye mukoppa okwongera okukulaakulanya faamu zammwe”, Minisita Kibazanga bwe yagambye.

Ssentebe w’akakiiko akafuzi aka bbanka ya DFCU agambye nti bagenda kwongera okussa ssente mu mpaka zino n’akubiriza abalimi n’abalunzi okwongera okuddukanya faamu zaabwe nga bizinensi ng’eno y’engeri gye bagenda okusobola okwekulaakulanya.

Akulira kkampunin ya New Vision, Robert Kabushenga yeebazizza abassa ssente mu mpaka zino, okuli bbanka ya DFCU, kkampuni y’ennyonyi eya KML n’ekitebe kya Budaaki mu Uganda ng’agamba nti empaka zino zireesewo abantu okwongera okwettanira obulimi n’obulunzi mu ggwanga.

“Empaka zino zaatandikibwa ng’ekirowoozo ekirala kyonna kyokka tetwamanya nti zisobola okufuuka ennene bwe ziti. Abantu bangi kati batandise okwenyigira mu bulimi n’obulunzi naddala abavubuka nga kino kyakuyamba okutuusa Uganda ku biruubirirwa byayo eby’okuggya Bannayuganda mu bwavu”, Kabushenga bw’agamba.

Abawangunzi 12 be baasiibuddwa okugenda e Budaaki okulambula abalimi n’abalunzi baayo era nga baasimbudde Lwamukaaga (June, 17) okugenda e Budaaki.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.

Ekibalo ky'okulima ennyaany...

ENNYAANYA kireme ekyettanirwa abangi olw’okuba kikula mangu ate nga kirina akatale okutandikira ku bantu b’okukyalo...

Basajjabalaba

Ebyapa Basajjabalaba by'ali...

EBYAPA omugagga Haji Hassan Basajjabalaba bye yafuna ku ttaka lya Panda PL e Luzira, bisattiza abatuuze nga bagamba...

Abatuuze nga bagezaako okuzikiriza omuliro

Omuliro gwokezza amayumba 1...

ABATUUZE b’e Kawaala bali mu maziga olw’omuliro ogugambibwa okuva ku masannyalaze okusaanyaawo amayumba agawera...

Abakozi ba Imperial Royale ...

ABAKOZI ba wooteeri ya Imperial Royale bavunaaniddwa okujingirira ebiwandiiko n’okufiiriza gavumenti ya Uganda...