TOP

Abalimi balaajana lwa kyuma kya muceere kufa

Added 28th August 2017

SIZONI olukubye kkoodi abalimi ne batandika okwetegeka okusiga. Abaasangiddwa nga baasambula bali mu kaweefube w’akumalira nsigo mu ttaka kyokka eriyo n’abalinze okukoola, abaakeera okusiga.

 Omulimi w’omuceere e Semuto ng’alaga omusiri gwe.

Omulimi w’omuceere e Semuto ng’alaga omusiri gwe.

Bya JOHN KATENDE

SIZONI olukubye kkoodi abalimi ne batandika okwetegeka okusiga. Abaasangiddwa nga baasambula bali mu kaweefube w’akumalira nsigo mu ttaka kyokka eriyo n’abalinze okukoola, abaakeera okusiga.

Abalimi b’omuceere gwa Upland Rice aba Kalege Rice Farmers Group (KRFG) e Semuto, bo wadde basize naye ekizibu kye bakyalina kya kyuma ekisunsula omuceere kye baafuna mu 2002 ekifa buli kiseera.

Ekyuma baakifuna kikadde, kikanikibwa buli kiseera era w’osomera bino nga tekikyakola olwa yingini yaakyo ekaddiye ate nga tebalina ssente kugula kipya.

“Tusaba Pulezidenti Museveni oba Gen. Salim Saleh batuyambe okutugulira ekyuma ky’omuceere ekiggya kuba okulima omuceere kwe tumazeemu emyaka 15 kubadde kutuzzizza engulu, kati tuli baakufa bwavu,” Ssentebe Christopher Ssekamanje owa KRFG bwe yagambye.

Ekyuma kino kikozesa Dizero liita 23 okufuna kkiro wakati wa 800 ne 1000) eziwedde okukuba.

Wano bakola emitwalo 20 ezitemwatemwa okufissa 105,000/- ng’amagoba. Kuno ogattako ezikiddaabiriza olw’okuba kibalya nnyo buli lwe kifa.

Abalimi nga bakonkomadde ku kyuma ky’omuceere e Kalege ekyafudde.

 

Ssekamanje yagambye nti abalimi b’omuceere abasinga bali ku looni, naye olw’okuba ekyuma kyafa, amagoba bafuna matono.

Kibawaliriza okutunda ku bbeeyie ntono ne bafiirwa. “ Gavumenti etuyambeko ku nsawo mwe tuyinza okwewola ssente ezitalina magoba mangi, kino kijja kutuyamba okukwatanga sizoni n’okulinda bbeeyi ennungi,” bwe yagambye.

Ekizibu ekirala kye balina kya ddagala. Lirinnya bbeeyi naye ekibadde kibayambako kya kuligula ku bbeeyi y’obusuubuzi mu bwegassi kyokka olwa ssente ezeekuba kibaleetedde obuzibu.

AKATALE

Ssentebe Ssekamanje yategeezezza ng’okutunda omuceere ogutali kibooko bwe gubakolera kuba kkiro Abalimi balaajana lwa kyuma kya muceere kufa batera okugitunda okutandikira ku 2,200/-. Baluubirira kufuna katale ak’awamu, naddala ssinga bayambibwako Gavumenti baleme kudondolwa oba buli mulimi okwetundira omuceere nga bw’alabye.

“Sizoni ewedde twakabalako ttani munaana ezisunsuddwa okuva mu bammemba b’ekibiina abawera 54.

Kibooko tannaggwaayo kuba buli lunaku bagenda mu maaso n’okuleeta lwa kuba ekyuma kyafa,” bwe yagambye.

ENNIMIRO BYE ZIBABANJA

Okufukirira:

Obuuma obufukirira bubeetaagisa okukomya okweraliikirira enkuba buli sizoni nga batya looni ze baalya eziyinza okubalema okusasula.

Kasule Balagadde, ayambako mu kunoonya amagezi g’ekikugu okulima omuceere yagambye nti beetaaga tulakita oba ente ezirima okugaziya ennimiro kyongeze ku makungula.

Eddagala erimala okuba nalyo nga sizoni tennayingira okwewala okutaatagana kw’ebirime, naye nga bino byonna Gavumenti y’eyinza okubayamba.

Beebazizza omubaka Rose Namayanja eyabadduukirira n’enkumbi ne basaba abazirakisa bamukoppe okubafunira ekyuma ekisunsula omuceere, tulakita, oba ebirala ebyetaagisa mu kulima.

GAVUMENTI EYAMBYE

Ng’eyita mu kitongole kya NARO ne Operation Wealth Creation, abalimi efubye okumanya obuzibu bwabwe nga obw’ensigo enkadde kyokka ensigo eyasemba Basaba Gavumenti eyongere okubafunira ensigo ey’omulembe n’okudduukirira mu bintu ebirala.

Esther Nanfuka, omu ku balimi yategeezezza nga bwe yeewola mu Finca obukadde busatu ng’amagoba azzaayo 700,000/- naye embeera y’obudde etaabakosa nnyo ku luno ye yamusobozesa okusasula obulungi.

Ng’oggyeeko omuceere, yiika emu n’ekitundu gy’asimbye, agasseeko ne lumonde yiika ssatu ono gw’asuubira okufunamu obukadde obusukka omwenda.

Lumonde ne nsujju y’emmere endala gye batera okugattira ku muceere ng’ebayambye okugoba enjala n’okuguza abasuubuzi abava e Kampala naddala ab’akatale k’e Kasubi.

Ayagala yenna okubeeyungako mu buguzi bw’emmere kuba ku 0752316496 oba 0773963030.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fred Enanga

Ettemu n'okusobya ku baana ...

EBIKOLWA by’ettemu n’okusobya ku baana bikudde ejjembe mu biseera by’okwekuuma obulwadde bwa ssenyiga era poliisi...

Police FC eyongedde okwenyweza

MU KAWEEFUBE wa Police FC ezannyira mu Star times Uganda Premier League okwetegekera sizoni ejja 2020/2021, basonjodde...

Nakaayi ng'ali mu nsiike ne Nannyondo

Nakaayi yeebugira mpaka z'e...

MUNNAYUGANDA omuddusi Halima Nakaayi ali ku ssaala okulaba ng’emisinde gya ‘Diamond League’ gibeerawo mu kibuga...

Minista Haruna Kasolo ng'asomesa ku kwekulaakulanya n'enkozesa y'ensimbi za MYOOGA

Abatuuze b'ekira basomesedd...

MINISITA omubeezi akola kunsonga z'ebibiina byobwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, akubiriza abantu okwebereramu nga...

Aba Twaweza bafulumizza ali...

KUNOONYEREZA kuzudde nti ab’enganda okusaba abantu babwe sente okubayambako okuvvuunuka embeera kifuuse kyabulijjo...