TOP

Omusolo omupya ku kasooli gunyiga mulimi

Added 18th June 2018

Omusolo omupya ku kasooli gunyiga mulimi

 Abalimi nga bakuba kasooli mu nnimiro.

Abalimi nga bakuba kasooli mu nnimiro.

ABANGUYA ebigambo bajeti y’omwaka 2018/19 baagituumye weesiba ekimyu (kisibwa omuntu ali mu nnaku naddala ey’okufiirwa omuntu ow’oku lusegere). Mu bwangu kitegeeeza nti bajeti nkakali.

Mu bagenda okwesiba ebimyu n’abalimi tebajja kubulamu. Mu Uganda, kasooli kyekimu ku birime ebisinga okulimwa naddala abalimi bamufunampola kyokka omusolo gwe batadde ku kasooli mukakali.

Minisitule y’obulimi, obulunzi n’obuvubi yaweereddwa obuwumbi 914 n’obukadde 710. Gavumenti etaddewo omusolo gwa 112 ku buli kkiro ya kasooli, ehhano, omuceere n’entungo ebitali bisunsule nga bitundwa ebweru wa Uganda.

Jjukira nti kasooli gwe tusinga okutunda ebweru, agenda mu mawanga agatuliraanye okuli South Sudan, Kenya, Rwanda, Tanzania ne Burundi era agendayo nga wa mpeke newankubadde nga tutundayo n’obuwunga obutonotono.

KITEGEEZA KI ERI OMULIMU?

Charles Kifumuuka nga ye dayirekita wa Biyinzika Millers ng’akuba n’okutunda obuwunga mu Kisenyi yagambye nti: Kasooli agenda ebweru nga wa mpeke kiyinza okuba ekizibu okukoma, kino kitegeeza ssinga omusuubuzi oyo bamuggyako 112/- ku buli kkiro, omugugu gwonna tayinza kugutikka kasitoma gy’amutwala ate jjukira oli agula mu bungi nga tojja ku muzza mu ebyo, wabula alina kunyiga mulimi mu kumugulako kasooli, asobola okusalawo okukendeeza ku magoba naye nnusu nga 80 zisobola okudda ku mulimi, olwo eyandifunye 450/- buli kkiro aba agenda kufuna 370/-, kati omulimi eyalima yiika n’akungula kkiro 1500 aba afiiriddwa emitwalo 12, ezo ssente nnyingi ku mulimi waabulijjo.

Nze nsasula ssente z’okupangisa 800,000/- buli mwezi konteyina gy’enkoleramu, amasannyalaze buli kiro 100, zitwala 20,000/-, KCCA ensasuza 260,000/- za layisinsi.

Twala kyakulabirako ku muntu nga nze atunda wano akawunga, okutuusa kasooli okutuuka mu Kisenyi mmotoka ereeta kkiro 10,000 okutambuza kasooli ekuggyako emitwalo nga 80, okwo gattako emisoso gya minzaani, abakozi ku kyuma, amasannyalaze n’ebirala byonna nga bibalwa mu 200/- ku buli kkiro ate ng’olina okuffissaako mbeera nina kusala bbeeyi gye ngula omulimi, kubanga bw’ogamba okwongeza akawunga kiba tekisoboka kuba abamu ku banno baba tebakongezza nga banyigiriza mulimi.

Kino kitegeeza nti omulimi y’agenda okuddamu okubonaabona, kati bw’ogattako omusolo omulala ndabawo obuzibu, okuggyako Gavumenti ssinga yaweze butaddamu kutanda mmere ya mpeke bweru ekyo kyandibadde kisingako kuba embeera yonna enyingiriza mulimi.

Twala eky’okulabirako ekya kasooli agula 650/- e Kampala, kitegeeza omulimi afuna 450/-, kitegeeza omuggyeeko nnusu 200/- naawe oteteenkanye entambula n’emisoso emirala. Ebirala ebiteereddwaako omusolo kuliko ehhano, omuceere n’entungo.

OMUKISA GW’OMULIMI MU BAJETI

lGavumenti amaanyi egenda kugateeka ku kutumbula ebitundibwa ebweru wa Uganda naddala emmwaanyi ennyingi ebweru ng’omwaka 2018/2019 eruubirira kutunda ensawo 7,353,278 eza kiro 60.

Kitegeeza omulimi w’emmwaanyi ssinga oyongera amaanyi mu kuzirabirira akatale weekali ate Gavumenti erina okukakuuma nga kalungi okuzzaamu abantu amaanyi.

lGavumenti yaakuwa kkampuni ez’enjawulo n’abantu ssekinnoomu banneekoleragyange satifikeeti 10,000 okusobala okukakasa omutindo. Wano ggwe omusuubuzi weetegeke n’ebisaanyizo okubeera omu ku bakkirizibwa, waliwo omukisa gw’okufuna ssente abaguzi kasita bamanya nti ebintu byo bituukana n’omutindo

. lOkuwola abantu ssente bazimbe ebyuma ebisunsula emmwaanyi, abalimi wano okufunamu mwekoleramu ebibiina mu kitundu kyammwe musabe ssente zino muzimbe ekyuma ekisunsula emmwaanyi nga muzirima n’okuzisunsula mujja kwongera ku magoba nga mutunda kase.

lOkuyamba abantu baabulijjo okuzimba ebifo eby’omulembe ebirongoosa ennyama n’amata.

lOkuzimba ebifo ebifukirira ebikozesa sola kiweereddwa enkizo. Naawe omulimi omulembe gwa sola tegwandikuyiseeko kubanga kati okufukirira kwe kuliwo, sola ekkekkereza nga mu kugikozesa teweetaaga mafuta.

lOkuzimba amakolero g’amajaani mu bitundu okuli Kisoro, Kabale, Kanungu, Zombo ne Mityana. Wano abalimi ssinga mwekolamu omulimu ne mukolera wamu kya kubayamba okuganyulwa mu nteekateeka eno, kuba ekyuma kisembedde wammwe nga mugenda kwongera okuganyulwa mu kugattako omutindo.

lOkuwagira abavubuka, abakadde n’abakyala 3,000 mu disitulikiti ya Lira, Hoima ne Kamuli mu kulunda embizzi. Bw’oba obeera mu bitundu ebyo wandibadde weetegeka mu bintu ebisookerwako gamba nga okuzimba ekiyumba.

lOkulondoola ebikozesebwa mu byobulimi ebiyingizibwa mu ggwanga okusobola okulwanyisa ebicupuli, kigenda kukolebwa ku nsalo eziyingira mu Uganda ne ku kisaawe ky’ennyonyi. Omulimi abadde akaaba ebicupuli ssinga kiteekebwa mu nkola oba olidde.

lOkuteekawo ebiyumba omulimkirwa (Green House) 10 mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo okusobola okutumbula eby’obulimi ebitundibwa ebweru w’eggwanga, wano omukisa gw’omulimi gwa kukoppawo magezi ku nnima ey’omubiyumba ey’omulembe.

lOkwongera ku mutindo gw’omuddo gw’ebisolo. Omusana ogwaka, ssinga kino abalunzi bakiyiga kijja kubayamba okutereka emmere y’ensolo zaabwe kyongere ku magoba nga tabakaaba muddo nga bwe kibeera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...