TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Ekibiina ekigatta abalimi mu ggwanga kivuddeyo ku bbeeyi ya kasooli eserebye

Ekibiina ekigatta abalimi mu ggwanga kivuddeyo ku bbeeyi ya kasooli eserebye

Added 14th August 2018

EKIBIINA ekigatta abalimi mu ggwanga ekya Uganda National Farmer Federation (UFFE) kivuddeyo ku bbeeyi eyateereddwawo gavumenti okubagulako kasooli gye batakkiriziganya nayo kubanga ebanyigiriza nga tebalina magoba ge bafunako .

 EKIBIINA ekigatta abalimi mu ggwanga ekya Uganda National  Farmers Federation kivuddeyo ku bbeeyi ya kasooli gye bagambye nti enyigiriza omulimi wa wansi . Wano Okuva ku (kkono) Grace Musimami Kezi omwogezi w'ekibiina (wakati)  Dr. Dick Nuwamanya Kamuganga ne  Augustine Mwendya nga yaakulira ekibiina kino nga bali mu lukiiko lw'abaamawulire mwe baayogeredde ku nsonga ezikwata ku bbeeyi ya Kasooli

EKIBIINA ekigatta abalimi mu ggwanga ekya Uganda National Farmers Federation kivuddeyo ku bbeeyi ya kasooli gye bagambye nti enyigiriza omulimi wa wansi . Wano Okuva ku (kkono) Grace Musimami Kezi omwogezi w'ekibiina (wakati) Dr. Dick Nuwamanya Kamuganga ne Augustine Mwendya nga yaakulira ekibiina kino nga bali mu lukiiko lw'abaamawulire mwe baayogeredde ku nsonga ezikwata ku bbeeyi ya Kasooli

Dr. Dick Nuwamanya  Kamuganga nga ye pulezidenti w'ekibiina kino agamba nti gavumenti yandibadde essaawo bbeeyi ya 700/= nga yeesembayo okubeera  wansi okusinzira ku bintu  omulimi by'atekamu ng'asimba kasooli .

Gavumeti  yataddewo bbeeyi ya 500/=  ng'eno  yeesembaayo okubeera wansi kwe bagenda okugulira kasooli ku balimi kyokka nga waliwo ebitundu ebimu gye bamugulira ku 150/ - 300/=.

Agamba nti abalimi babatuukiridde nga beebuuza eky'okukola kubanga ensigo bagigula ku bbeeyi ya waggulu , ne bagula ebigimusa, kuteekako bapakasi okumukoolamu omuddo , okukungula ku musiri.

Grace Musimami Kezio nga ye mwogezi w'ekibiina kino  agamba nti kyandibadde kirungi ssente ezigula kasooli gavumenti okuziyisa mu kibiina kyabwe kino kubanga kirimu abalimi ba kasooli abatuufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Caral Nantongo bamukoledde ...

Carol Nantongo avudde ku kabaga k'amazaalibwa ge nga munyivu lwa bayimbi banne abayitiddwa okumujagulizako obutalabikako....

Mawejje ne Mukwaya

Famire z'abattiddwa zaagala...

FFAMIRE z'abantu abaakubiddwa amasasi mu kwekalakaasa ku Lwokusatu baagala Gavumenti ebaliriyirire. Charles...

Sipiika Kadaga

Palamenti evumiridde effujj...

PALAMENTI eteesezza ku mbeera eriwo mu ggwanga ery'okwekalakaasa n'okukwatibwa kw'abamu ku bannabyabufuzi, ababaka...

Stephanie

Ebya Bobi bituuse mu ofiisi...

ENSONGA z'okukwata Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) zituuse mu ofiisi ya Ssaabawandiisi w'ekibiina ky'amawanga amagatte...

Gen. Tumwine

Poliisi tugiragidde kukuba ...

Minisita w'obutebenkevu Gen, Elly Tumwine alabudde abeekalakaasi n'akiggumiza nti; Poliisi n'ebitongole ebikuumaddembe...