TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Omwoleso gw'ebyobulimi ogwa Vision Group gukuleetedde abakugu abamanyi okubala sizoni

Omwoleso gw'ebyobulimi ogwa Vision Group gukuleetedde abakugu abamanyi okubala sizoni

Added 14th January 2019

EMBEERA y’obudde kikulu nnyo ku bulunzi n’obulimi mu Uganda kuba abantu bangi kwe beesigamye era ng’olw’obutamanya mbeera ya budde bw’eneebeera, bangi bafiirwa ssente zaabwe ze bassa mu faamu n’amasamba.

 Bano baali ku mudaala gwa Operation Wealthy Creation mu mwoleso gwa Harvest Money Expo e Namboole omwaka oguwedde.

Bano baali ku mudaala gwa Operation Wealthy Creation mu mwoleso gwa Harvest Money Expo e Namboole omwaka oguwedde.

Ekitongole ky'obutonde ekya Uganda National Meteorological Authority kimu ku bitongole by'omugaso eri omulimi n'omulunzi ebigenda okwetaba mu mwoleso gwa Harvest Money ogutegekeddwa kkampuni ya Vision group etwala ne Bukedde mu kisaawe e Namboole nga February, 15- 17 ng'okuyingira kwa 10,000/-.

Lilian Nkwenge, omwogezi w'ekitongole kino agamba nti wabaddewo okucamuukirira mu balunzi olw'oluwandaggirize lw'enkuba olubaddewo nga balowooza nti enkuba etandise ekitali kituufu kuba sizoni entuufu esuubirwa kutandika mu March.

"Abalunzi tebapapa okusimba ensigo zaabwe kuba akasana kakyayaka nga mu kiseera kino balina kusambula na kuteekateeka nnimiro zaabwe okulaba ng'enkuba weetandikira babeera basiga busizi", Nkwenge bw'agamba.

Agamba nti, ekitongole kirina ebintu bingi bye kikola ebisobola okuyamba abalunzi, abalimi n'abavubi ku nnyanja kyokka batono abamanyi omugaso gwakyo wabula baakubeera mu mwoleso gwa ‘Harvest Money' okwongera okunnyonnyola n'okwogerezeganya n'abalimi n'abalunzi buli omu ayongere okutegeera munne n'okunyweza enkolagana.

Akulira Vision group, Robert Kabushenga agamba nti ebitongole bya gavumenti n'ebyobwannannyini ssaako abakugu mu bulimi n'obulunzi ab'enjawulo baakubeera ku mwoleso guno okwongera okulambika abalimi n'abalunzi ku bituufu bye balina okukola.

"Ekimu ku kizihhamizza obulimi n'obulunzi mu Uganda bwe butamanya kituufu kya kukola olwo abantu ne basigala nga batambuliza faamu zaabwe ku kuteebereza n'enkola z'edda ze balowooza nti ze ntuufu ate nga zaayitako dda", Kabushenga bw'agamba.

Akubiriza abalimi n'abalunzi okuggya mu bungi mu mwoleso guno okulambula n'okuyiga ebituufu bye balina okukola okwongera ennyingiza mu faamu n'amasamba gaabwe nga bakola ku nsobi ze babadde bakola ne zibafiiriza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo