TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Baleese ebyuma ebyongera ku makungula mu bulimi n'obulunzi

Baleese ebyuma ebyongera ku makungula mu bulimi n'obulunzi

Added 31st January 2019

KKAMPUNI ezitunda ebyuma ebikozesebwa mu bulimi n’obulunzi 15 ze zimaze okukakasa okwolesa mu mwoleso gwa Harvest Money Expo ogutegekeddwa kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde.

 Minisita Persis Namuganza (wakati) omubeezi ow'ebyettaka ne Robert Kabushenga mu mwoleso gw'omwaka oguwedde.

Minisita Persis Namuganza (wakati) omubeezi ow'ebyettaka ne Robert Kabushenga mu mwoleso gw'omwaka oguwedde.

Omwoleso guno gwakumala ennaku ssatu nga gutandika nga February, 15-17 mu kisaawe e Namboole.

Gusikirizza kkampuni n'ebitongole ebikola ku bintu eby'enjawulo mu bulimi n'obulunzi okugwetabamu ng'ezituusa kuno ebyuma n'okubitunda ze zimu ku zigenda okubeerayo.

Medi Mwiri owa ENGSOL nga be bamu ku batadde ssente mu mwoleso guno, agamba nti bagenda kuleeta tulakita ebika byonna abalimi n'abalunzi bye baagala ku ffaamu zaabwe mu kaweefube w'okutumbula omutindo gw'okulunda n'okulima.

"Bangi balowooza nti tulakita zikozesebwa mu kulima kwokka, wabula abalunzi naddala ab'ente mu butundu by'obugwanjuba bwa Uganda ab'enjawulo baagula tulakita ze bakozesa okukola omuddo omukalu ekika kya 'sayiregi' gwe baliisa ente zaabwe", Mwiri bw'agamba.

Ono agamba nti baakuleeta tulakita abalimi n'abalunzi ze beetaaga n'ebikozesebwa byonna kuba singa ogula tulakita nga tekuli bikozesebwa tebeera na mugaso.

"Ebikozesebwa bino kuliko; enkumbi, ebyuma ebitemaatema omuddo, ebisimba, ebisaawa, ebifuuyira, ebifukirira n'ebirala nga byonna bigenda kuleetebwa mu mwoleso ate abalimi n'abalunzi abanaaba baagala okugula ebyuma bino bagenda kukolerwa enteekateeka nga basobola okugenda ne kye baguze", Mwiri bw'agamba.

OMULAMWA GW'OMWOLESO

Omulamwa gw'omwoleso gw'omwaka guno gugamba, "Okukola obulimi n'obulunzi nga bizinensi", ng'abalimi n'abalunzi baakuweebwa amagezi n'enkola ez'enjawulo mwe basobola okuyita okukola ssente okuva ku ffaamu zaabwe.

Mwiri agamba nti mu kiseera kino ng'obulimi n'obulunzi busitulwa okuggyibwa ku ddaala ly'okulima okufuna ekyokulya awaka bufuulibwe omulimu, omulimi oba omulunzi alina okwekwata okukozesa ebyuma nga waakiri asobola okukipangisa.

"Okugeza singa obeera ogenda kusambula yiika osimbe kasooli wa sizoni, kiyinza okukutwalira ebbanga singa obeera okozesezza mikono n'okuluusi ebiseera by'okusimba ne bikukwata ate ng'owa tulakita kimutwalira olunaku lumu ate ng'akikolera ku bbeeyi ya wansi.

Kino kitegeeza nti mu katale agenda kubeera n'ebyokutunda nga bingi ate mu budde okusinga akozesa emikono", Mwiri bw'agamba.

Okuyingira mu mwoleso kwa kusasulira 10,000/- ate okwetaba mu misomo nakwo kwa 10,000/- nga wateekeddwateekeddwawo emisomo egy'enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...