TOP

Engege zirumbiddwa akawuka akazikenenya - Minisita

Added 14th February 2019

ENGEGE mu nnyanja Nalubaale zirumbiddwa obuwuka obuzirwaza ne zikenene okusinziira ku minisita w'obulimi, obulunzi n'obuvubi Vincent Bamulangaki Ssempijja.

 Minisita Ssempijja (ku ddyo) mu lukiiko olwetabyemu abakulembeze n'abavubi.

Minisita Ssempijja (ku ddyo) mu lukiiko olwetabyemu abakulembeze n'abavubi.

Abavubi ku nnyanja Nalubaale mu mawanga okuli Kenya, Tanzania ne Uganda emitima gibeewanise olw'obulwadde buno obulumbye ebyennyanja ekika ky'engege ne zitandika okukonziba n'okukenena.

Minisita Ssempijja agamba nti, okusinziira ku bwiino gwe baakafunako, ekika ky'obulwadde obulumbye engege bugwa mu kika ekiyitibwa 'virus'. Yategeezezza nti akawuka kano kaviirako engege obutakula bulungi n'obutagejja ne zibeera mu mazzi nga zikenena bukenenyi.

Embeera eno etadde ne Uganda ku bunkenke era nga Gavumenti, yagambye nti bateekateeka okutuula mu lukiiko n'amawanga okuli Kenya ne Tanzania balabe bwe bayinza okunogera ekizibu kino eddagala mu bwangu ng'embeera tennasajjuka n'okusaasaana mu nnyanja endala.

Minisita yasinzidde ku mwalo gw'e Maye mu ggombolola y'e Nairambi mu disitulikiti y'e Buvuma.

Era Ssempijja yategeezezza nti, Gavumenti esoosootodde enteekateeka Gavumenti mw'egenda okuyita okuyamba abavubi naddala abakkiriza ne bava ku nvuba embi nga bano Gavumenti egenda kubawa ensimbi batandike okulunda ebyennyanja.

Ssempijja agambye nti Uganda eri mu kunoonyereza ku ngeri eno gy'ezze ekola mu nsi okuli Yisirayiri, Hungary ne Philippines gye basinze okugyeyambisa ennyo.

Yasabye n'abavubi okwekolamu ebibiina ng'enteekateeka eno w'enaatuukira ejja kubayamba nnyo ng'eyita mu bibiina.

Abavubi mu kiseera kye kimu baamusabye abeeko ky'annyonnyola ku nsonga y'abavubi abakaaba olw'okutulugunyizibwa abaserikale ba UPDF ababagoba ku nnyanja olw'envuba embi.

Ye omubaka w'e Buvuma mu Palamenti Robert Migadde Ndugwa yagambye nti ebbanga ddene baludde nga basaba Gavumenti ebeereko ky'ekolera abavubi abeewaddeyo ne bava ku nvuba embi okusinga okubaleka mu bbanga ate nga bwe banaabaleka mu bbanga bagenda kuddayo bavube obwennyanja obuto.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...