TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Disitulikiti nnya ziggyiddwaako kalantiini w'okutunda ebisolo

Disitulikiti nnya ziggyiddwaako kalantiini w'okutunda ebisolo

Added 11th March 2019

DISITULIKITI nnya ku 57 ziggyiddwaako kalantiini y’okutambuza ensolo naddala ente oluvannyuma lw’okukakasibwa nti tezikyalimu kirwadde kya Kalusu ekisumbuye amagana mu Uganda okuva mu 2012 mu disitulikiti omusinga abalunzi.

 Patrick Vudriko ng’annyonnyola engeri gye bagenda okukozesa labalatole okukebera obulwadde mu nsolo.

Patrick Vudriko ng’annyonnyola engeri gye bagenda okukozesa labalatole okukebera obulwadde mu nsolo.

Bino byayogeddwa minisita w'obulimi, obulunzi n'obuvubi, Vincent Balulangaki Ssempijja ng'agamba nti, ebitundu okuli; Maddu ne Kabulassoke mu disitulikiti y'e Gomba, disitulikitu y'e Lyantonde, Lugusuulu mu Ssembabule, ne ggombolola ya Ruyonza disitulikiti y'e Kyegegwa kyokka ng'endala zonna tezikkirizibwa kuggyibwamu bisolo.

"Abasuubuzi n'abalunzi baddembe okutambuza ebisolo mu bitundu bino kyokka nga balina okugoberera amateeka agalambika entambuza yaabyo mu ggwanga", Ssempijja bw'agamba.

Yannyonnyodde nti, okusalawo kuno kwatuukiddwaako oluvannyuma lw'okunoonyereza okwakoleddwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku bulamu bw'ebisolo okuyita mu kitongole ekikola ku kunoonyereza ku bulwadde mu bisolo ekya National Animal Diseases Diagnostic and Epidemiology Centre e Ntebe ne kizuula nti ebisolo mu bitundu bino tebikyalina bulwadde bwa Kalusu.

Disituliki 57 zeezibadde zassibwako kalantiini era nga Ssempijja agamba nti, bakyagenda mu maaso n'okwekebejja ebisolo mu disitulikiti 53 ezisigaddeyo okulaba oba nga nazo teziriimu bulwadde buno era n'akubiriza abalimisa mu disitulikiti eziggyiddwako kalantiini okuyamba abalunzi okukwataganya embeera n'okukozesa enkola esobola okutangira obulwadde buno okuddamu okuyingira amalundiro gaabwe.

Ssempijja agamba nti, obulwadde buno bukwata n'abantu nga busaasaanyizibwa okuyita mu mazzi g'ennume, amata, ennyama, obusa n'omusulo n'akubiriza abalunzi okusiba enkomera ku faamu zaabwe okwewala buli kisolo okuyingira mu magana gaabwe n'okwawula bisolo erwadde okuva mu nnamu n'okutegeeza omukugu mu bwangu okwewala obulwadde okusaasaana.

Okukebera ente endwadde Mu kiseera ky'ekimu abalunzi abeegattira mu kibiina kya Uganda Meat production cooperative Union nga bayambibwako ekitongole kya Zoetis okuyita mu nteekateeka ya African Livestock productivity and Health Advancement bazimbye labalatole bbiri ez'omulembe e Nabitanga mu Nakaseke n'e Butanga mu Ssembabule nga bakolaganira wamu ne Makerere yunivasite okukebera ebisolo ebirwadde.

Dr. Joshua Waiswa pulezidenti w'ekibiina kino gamba nti, abalunzi babadde bafiirizibwa ssente ze bassa mu kujjanjabisa ensolo zaabwe olw'okuba abasawo babadde baziwa obujjanjabi nga basinziira ku bubonero bwe bazirabyeko ate nga waliwo obulwadde obubeera n'obubonero obufaanagana.

Agamba nti, abalunzi bonna n'abaali bammemba baakuyambibwa nga wano waliso abasawo abatendekeddwa mu kitongole okuyamba abalunzi okuggya omusaayi ku bisolo olwo gutwalibwe mu labalatole okwekebejjebwa okukakasa obulwadde bw'ennyini ng'agamba nti kigenda kutwalanga essaawa mbale okubeera ng'omulunzi amaze okutegeezebwa ekituufu ate ku ssente entono.

Dr. Gabriel Varga akulira ekitongole kya Zoetis mu Afrika agamba nti, kino bakikoze okuyambako abalunzi ababadde bafiirizibwa ssente nga bajjanjabisa ebisolo ne batafunamu n'oluusi n'ebisolo byennyini bituuka okufa.

"Olw'okuba ebisolo ebisinga okulundibwa mu Afrika naddala Uganda bisalibwa kuliibwa nga nnyama, ssinga bikuumibwa nga biramu bulungi kitegeeza nti n'abantu ababirya baakubeera balamu", Dr. Varga bw'agamba.

Dr. Sylvia Baluka pulezidenti w'abasawo b'ebisolo mu ggwanga ekya Uganda Veterinary Association alaze obwennyamivu olwa ssente entono ezissibwa mu kitongole kino z'agamba nti kimu ku biremesa abasawo okukola emirimu gyabwe.

Basabye gavumenti okwongera ssente mu kitongole ky'abasawo b'ebisolo kuba okujjanjaba ebisolo okutuufu kitangira endwadde nnyingi ezandibadde zisiigibwa mu bantu okuva ku ebisolo nga bulusera, akafuba, kkookolo n'endala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...