TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Abavubi b'e Nkombe -Buikwe batabukidde ababaka ba Palamenti - Tubeetaaga

Abavubi b'e Nkombe -Buikwe batabukidde ababaka ba Palamenti - Tubeetaaga

Added 18th March 2019

Abavubi batabukidde ababaka baabwe abataddayo kubategeeza nsonga zibaluma eziteesebwako mu Palamneti ng'ate tebakkaanya nazo.

 Abavubi ku mwalo gw'e Nkombwe nga bali mu lukung'aana lw'abalimi

Abavubi ku mwalo gw'e Nkombwe nga bali mu lukung'aana lw'abalimi

Bya Paddy Bukenya

ABAVUBI mu disitulikiti y'e Buikwe bawanda muliro olw'ababaka baabwe mu Palamenti obutabawa mukisa kuwa ndowooza zaabwe eri eggwanga ku nsonga z'okutongoza tekinologiya wa GMO ne bategeeza nti balina bingi bye batakkaanya nabyo ku nteekateeka eno bye beetaaga eggwanga okusooka okufumiitirizaako kyokka ababaka baabwe babasuuliridde.

Bino byabadde ku mwalo gw'e Nkombwe mu disitulikiti y'e Buikwe ku Lwokuna mu lukiiko lw'okukubaganya ebirowoozo (Palamenti y'abalimi) ku nsonga ezikosa ebyobulimi, obulunzi n'obuvubi ebikosa ekitundu olutegekebwa ekitongole kya Slow Food International buli luvannyuma lwa myezi esatu.

 bavubi ku mwalo gwe kombwe nga bava okuvuba empuuta Abavubi ku mwalo gw'e Nkombwe nga bava okuvuba empuuta

 

Abavubi baategeezezza nti, beeraliikirivu ku tekinologiya ono nti ayinza okuttattana obutonde bw'ebyennyanja mu nnyanja ebibaddewo emyaka n'ebisiibo olwo ennyanja efuuke ekitagasa ne bongerako nti amawulire ge bawulira gagamba nti mu nsi ezaakula yo GMO tebazaagala zittattana obutonde bw'ensi kyokka ate bbo ababaka kino tebakitutte ng'ekikulu.

Omukubiriza wa Palamenti y'abalimi eno, Hussein Ssebadduka yakubidde ababaka b'ekitundu kino mu Palamenti okuli Judith Babirye ne David Mutebi omulanga okuwaayo ekiseera basisinkane abavubi bawulirize ebirowoozo byabwe kuba ensonga eno nkulu ekosa obulamu bw'abantu n'ebintu ebibeetoolodde.

Abavubi bali mu kutya nti, tekinologiya wa GMO ono ayinza okutta ebyennyanja n'ebitonde ebirala bingi mu nnyanja eby'omugaso ne bafiirwa emirimu, obutonde bw'ennyanja n'obuwangwa, kuba bangi ku bo balina emizizo egyekuusa ku nnyanja ng'ebika ebimu ebiva mu nnyanja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...