TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Abalimi basomeseddwa okukola ekigimusa okuva mu musulo gw'abantu

Abalimi basomeseddwa okukola ekigimusa okuva mu musulo gw'abantu

Added 12th August 2019

Abalimi basomeseddwa okukola ekigimusa okuva mu musulo gw’abantu

Abantu nga basomesebwa enkozesa y’omusulo.

Abantu nga basomesebwa enkozesa y’omusulo.

ABALIMI basula batakula mitwe okunoonya engeri gye basobola okwongera ebirungo bya Nitrogen, Phosphorus ne Potassium ekimanyiddwa ennyo nga NPK ebiriisa ebirime okuva mu ttaka okuliisa ebirime bafunemu ekiwera.

Wano ab'ekibiina kya African Science Graduate Organization, we bajjidde n'enkola y'okukozesa omusulo gw'abantu okugimusa ettaka olwo abalimi basobole okufuna mu ffaamu zaabwe n'okwekulaakulanya.

Mesullam Wakobere omu ku badayirekita b'ekitongole agamba nti, omusulo gufumbekeddemu obugagga okuviira ddala mu birungo ebijimusa ettaka okutuuka ku birungo ebirala ebisobola okuvaamu amafuta, ebyuma n'ebirala okusinziira ku tekinologiya gwe mulina. "Mu kiseera kino ffe tutandise n'omusulo okuguggyamu ebijimusa by'amazzi okuyamba abalimi ababadde bafiirizibwa ssente ze bassa mu kulima n'abalala mu kugula ebigimusa by'ebicupuli", Wakobere bw'agamba.

Bano bagamba nti, baatandika okukuhhaanya omusulo nga mu kiseera kino bali mu disitulikiti 70 nga buli sitoowa esangibwa mu disitulikiti mulimu liita ezisoba mu100. "Omusulo guno tugugula kuva mu bantu nga bano balina okusooka okusomesebwa mu nkola zaffe kuba twagala omusulo omulamu era wano tubawa akuuma ke bassa mu kadomola ka liita emu olwo buli liita ne tugibagulako 32,000/-", Wakobere bw'agamba.

Ye Hassan Ssembatya agamba nti, baagala okusooka okuweza abantu abasobola okubawa obungi bw'omusulo gwe beetaaga olwo batandike okugussa ku katale wabula nga mu kiseera kino bakyatalaaga eggwanga okusomesa abantu bonna ebirungi n'enkola yaabwe gye bagenda okukola ekigimusa ku musulo. Bano bagamba nti boogerezeganya n'abakulembeze okulaba nga batambulira wamu mu kusomesa abantu n'okulaba nga beegatta ku kibiina beeyongera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....

Fred Enanga

Ettemu n'okusobya ku baana ...

EBIKOLWA by’ettemu n’okusobya ku baana bikudde ejjembe mu biseera by’okwekuuma obulwadde bwa ssenyiga era poliisi...