TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Muyigirize abayizi ebyobulimi n'obulunzi

Muyigirize abayizi ebyobulimi n'obulunzi

Added 14th October 2019

Abazadde muyigirize abaana okulima n'okulunda n'abasomesa bongereze okwo

 Abayizi basobola okusomesebwa nga balimira mu bipiira

Abayizi basobola okusomesebwa nga balimira mu bipiira

Bya Stella Naigino

Ebiseera ebisinga, abaana bwe bagenda ku masomero, balowooza nti bagenze kusoma bya mu mutwe byokka era bw'obabuuza nti emmere gye balya eva wa, abasinga bajja kuddamu nti eva mu dduuka oba mu katale.

Abaana tebamanyi nti, emmere bagirima ne bagikungula ssaako okugirongoosa nga tennatuuka mu katale oba mu maduuka.

 bayizi nga bagabirira obumyu Abayizi nga bagabirira obumyu

 

Noolwekyo abakugu mu by'okulima n'okulunda bakubiriza abasomesa okusomesa abaana ebintu bino bakule nga babimanyi kuba  ennaku zino bye bisinze okuyimirizaawo abantu mu byenfuna.

Moses Sabika, omulimi era omulunzi agamba nti, abaana balina kutandikira waka okuyigirizibwa obulimi n'obulunzi olwo abasomesa bongerezeeko.

Agamba nti, tekyetaagisa yiika okulima kuba omuntu asobola okulimira mu buveera, obukutiya, emipiira gy'emmotoka, nga kw'otadde n'okulunda.

 ark utebi ngasimba emiti Mark Mutebi ng'asimba emiti

 

Tom Lubuulwa naye mulunzi agamba nti, okulunda ennaku zino omuntu ne bwatabeera na ttaka ddene, asobola okulunda.

Agamba nti, okuyigiriza omwana ng'akyali muto kimuyamba okugezesa by'asoma ate n'okusobola okuyita mu bulamu obw'omu maaso.

Bino babyogeredde ku mwoleso gwa bayizi ogw'ebintu ebisobola okukolebwa awaka mu kulima n'okulunda ssaako ebyemikono ebirala.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...

Ekizimbe kya Ivory Tower e ...

Amyuka Cansala wa Makerere University Polof. Barnabas Nawangwa atuuse ku ofiisi y'ebyensimbi n'evunaanyizibwa ku...