TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala ani amuwadde akatebe

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala ani amuwadde akatebe

Added 21st October 2019

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

 David Ssekandi ng'alaga ebitooke ebyasuuliddwa kibuyaga

David Ssekandi ng'alaga ebitooke ebyasuuliddwa kibuyaga

Bya Joanita Nakatte

Abatuuze b'oku kyalo Nassaka mu ggombolola y'e Nakisunga mu disitulikiti y'e Mukono beeraliikirivu olw'enjala eboolekedde oluvannyuma lw'enkuba etonnya okuboonoonera emmere.

David Ssekandi, omulimi ku kyalo kino  yategeezezza nti enkuba etonnya ensangi zino ey'amaanyi ng'erimu ne kibuyaga ssaako omuzira esudde ebirime okuli amatooke, muwogo, kasooli n'ebijanjaalo.

Ekibi kasooli n'ebijanjaalo bibadde bitandiikiriza okumulisa naye byonna ebirese ku ttaka.

"Ennimiro yange eri ku yiika bbiri era erimu kasooli, muwogo, amatooke n'ebijanjaalo wabula byonna bisaanyiziddwaawo kibuyaga n'omuzira. Amatooke nago gabadde gatandiikiriza okussa wabula gonna enkuba egalese ku ttaka.

Ndi mweraliikirivu simanyi kye ng'enda kuliisa famire yange ng'enkuba eno eweddeyo," Ssekandi bwe yagambye.

 rafat amboobi ngannyonnyola ku bweraliikirivu bwe balina ku nkuba etonnya Arafat Namboobi ng'annyonnyola ku bweraliikirivu bwe balina ku nkuba etonnya

 

Ono yayongeddeko ng'abalimi bwe boolekedde akaseera akazibu olw'obutamanya we bagenda kuggya nsigo ya kusiga nga bazzeemu okulima.

Arafat Namboobi, omu ku batuula ku kakiiko akafuga ekyalo kino yawanjagidde gavumenti n'abavunaanyizibwa ku by'obulimi mu Mukono okubadduukirira n'ensigo olw'ensonga nti, abatuuze bo tebalina we basuubira kuggya nsigo za kusiga.

"Tuli beeraliikirivu era tetumanyi ngeri kyalo kyaffe gye kigenda kusimattuka njala mu maaso eyo, wabula ng'oggyeeko eky'okubadduukirira n'ensigo tusaba gavumenti okubajjukira mu maaso n'emmere enkalu eyinza okubayamba okubayisa mu mbeera enzibu gye boolekedde," Namboobi bwe yannyonnyodde.

Ono era yasabye abazadde okubeera abeegendereza mu nkuba eno okulaba nga mukoka takulukusa baana baabwe olw'engeri gy'etonnya nga mpitirivu n'asaba n'abasomesa obutabakkiriza kuva ku masomero ssinga bagiraba ng'eneetera okutonnya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...