TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Endabirira y'olusuku ekuyamba okulufunamu

Endabirira y'olusuku ekuyamba okulufunamu

Added 7th November 2019

By'olina okukolera olusuku lwo okusobola okulufunamu ssente nga terunnakutuka

 Omu ku bakozi b'omusumba Mukiibi ng'asigula endu

Omu ku bakozi b'omusumba Mukiibi ng'asigula endu

Bya Paul Kakande

Ng'emirimu emirala bwe gyetaaga okutetenkanya okusobola okufunamu ekiwera n'obulimi naddala ku nsuku bwe kyetaagisa.

Omusumba Steven Mukiibi, ow'e Kateera God's Grace Church e Kateera mu ggombolola y'e Bukomero mu disitulikiti y'e Kiboga ku gw'obuweereza agattako okulima ebitooke bya mpologoma, agamba nti okufuna mu lusuku olina okulukolerera ennyo era annyonnyola bw'akikola.

Omuntu yenna asimbye olusuku alina okukimanya nti kizibu okulusussa emyaka etaano nga lukyakuwa kinene. Noolwwekyo olina okulukolerera ennyo okulaba ng'olufunamu kye weetaaga waakiri mu myaka esatu.

 musumba ukiibi ngalaga enkota yettooke mu lusuku lwe Omusumba Mukiibi ng'alaga enkota y'ettooke mu lusuku lwe

 

Mu biseera by'enkuba ebitooke bizaala nnyo, wabula abasinga ebitooke bye baba tebaagala batema biteme ne babibikkisa kyokka nga waliwo abasobola okubibagulako ne babawaamu ssente.

Mukiibi agamba nti, endu y'ekitooke egula wakati wa 1,000/- ne 3,000/- okusinziira ku kika ky'ebitooke n'obulungi bwabyo kino kitegeeza ssinga otema endu 100 oba osse emitwalo egiri wakati wa 10 ne 30 gye wandifunye.

Ensonga lwaki abantu abamu tebaagala kusigula nsukusa

Abantu abamu bagamba nti, okusigula ensukusa kitta olusuku naye ssinga oba okikoze bulungi osobola obutakosa bitooke.

Engeri gy'oyinza okusigula endu n'otakosa bitooke

1. Ebitooke birina kusigulwa mu biseera bya nkuba mwokka kubanga mu budde buno ekitooke kiba kirina emmere emala era kiba kyeyagala bulungi nga ne bw'oba okisiguddeko endu tekikosebwa ate kisobola okuddamu ne kizaala bulungi.

2. Bw'oba osigula ensukusa, weewale okukozesa enkumbi, kozesa nsuululu kubanga yo tekosa mirandira gya kitooke ate weeyambise oludda oluliko akasongezo lw'otojja kutta bitooke byo.

3. Sigulamu ebitooke ebito naddala ebitasukka ffuuti nnya, ebyo bibeera tebinnakakata ate n'enkolokolo yaabyo ebeera tennaguma noolwekyo tekyetaagisa kuyiikuula kinnya kigazi n'okutema ewala ku nkolokolo y'ekitooke ekikulu ng'oggyako endu.

 usumba ukiibi nomu ku bakozi be nga balaga endu ze basigudde ezigenda okutundibwa Musumba Mukiibi n'omu ku bakozi be nga balaga endu ze basigudde ezigenda okutundibwa

 

4. Olusuku ssinga luba luwezezza emyaka ebiri oba esatu, manya nti lutandise okukaddiwa era ng'ali mu bizinensi osobola okutandika okusalamu endagala ez'okutunda.

Wabula kino okikola bulungi waakiri mu mwaka bw'osalamu emirundi ena kiba tekikosa era we lutuukira okukutuka okuggwaawo nga naawe osobodde okufunamu ensimbi.

Naye bwe weesiba ku matooke gokka oyinza okwekanga ng'okoleredde kulabirira lusuku lwokka, awo abamu we bagwiira ekibalo ne batuuka n'okugamba nti, ensuku tezifuna.

Jjukira endu tezigwa katale n'endagala kye kimu naye amatooke wabeerawo lwe gakka ebbeeyi mu biseera by'ekyengera ssinga oba weesigamye ku kutunda matooke gokka oyinza okufuna ekitono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...