TOP

'Bannayuganda mulime enva endiirwa'

Added 30th December 2019

BANNAYUGANDA bakubiriziddwa okwenyigira mu bulimi bw’enva endiirwa ng’ekkubo ly’okutumbula enyingiza n’okulwanyisa ebbula ly’ebiriisa mu mibiri.

 Abalimi nga basomesebwa okulima enva endiirwa.

Abalimi nga basomesebwa okulima enva endiirwa.

Kamisona Consolanya Acayo bw'abadde atongoza ekibiina ekigatta abalimi b'enva endiirwa omwegattira abalimi, abakugu abalimisa, abatunda ensigo n'abalala bonna abaliko kye bakola mu kulima enva endiirwa okuyita mu kitongole kya Integrated Seed Sector Development Programme (ISSD) okulaba ng'omulimu guno gutwalibwa mu maaso mu ngeri y'ekikugu.

Kamisona w'ensonga z'abalimisa mu minisitule y'obulimi, obulunzi n'obuvubi Consolanya Acayo, agamba nti, Uganda esobola okufuna ssente nnyingi okuva mu nva endiirwa ssinga zitandika okulimibwa mu ngeri y'ekikugu n'omutindo ne gusitulwa.

Ekibiina kirimu bammemba abasoma mu 5000 nga bano bonna batendekeddwa abakugu okuva ku Wageningen Yunivasite y'e Budaaki mu nkola ez'enjawulo omuli okulonda ensigo, okulabirira ettaka, okuddukanya ennimiro, okulwanyisa obuwuka n'obulwadde, okunoonya akatale, okutunda n'ebirala.

Bano baayitiddwa ba Brigadier', Acayo abakubirizza okugenda mu maaso nga babunyisa amagezi ge bayigiriziddwa eri abalimi abalala okusobola okulaba ng'abalimi abaagala okulima enva endiirwa naddala abavubuka bafuna obukulu bwe beetaaga.

"Mu magye, ‘Brigadier' aduumira abaserikale 500. Naye twagala okubaako abalimi abalala 500 buli omu baakwatako okukyusa enkola zaabwe olwo tubeere nga tufuna abalimi abawera okwetoloola eggwanga", Acayo bw'agamba.

Cate Nakatudde akwataganya eby'enva endiirwa mu kibiina kya ISSD, agamba nti, ekibiina kino kigatta abakugu mu bintundu eby'enjawulo era nga kigobereddwaamu okulaba nga Bannayuganda basobola okufuna ekifo we bafuna amagezi ge beetaaga okutwala obulimi bw'enva mu maaso.

"Tubadde n'obuzibu bw'okufuna amagezi g'ekikugu mu kulima enva endiirwa kuba tewabadde kifo muntu w'asobola kugenda n'afuna okumanyisibwa ku by'alina okukola. Okuyita mu kibiina kino, tukakasa ng'abantu baakusobola okufuna obukugu bwe beetaaga kuba buli mukugu tuli naye wamu", Nakatudde bw'agamba.

Agamba nti, okulima enva endiirwa kikulu mu kukendeeza ebbula ly'emirimu kuba zeetaaga abakozi abawera okusobola okukwataganya buli kirina okukolebwa mu budde obutuufu okwewala ensobi.

"Ng'omulimi yeetaaga omukozi omu oba babiri mu yiika y'ebirime ebirala nga kasooli, omulimi w'enva endiirwa yeetaaga abakozi10.

Olw'okuba nti enva endiirwa zikula mangu, tewali budde bw'akutereeza nsobi, noolwekyo weetaaga okukola buli kimu mu butuufu bwakyo", Nakatudde bw'agamba.

Akulira ekitongole kya ISSD mu Uganda Patrick Oyee, agamba nti, enva endiirwa zirimu ssente kyokka abazirina tebafunamu kuba obungi n'omutindo ebyetaagibwa tebituukirizibwa.

"Okusinziira ku kitongole ky'ebyokulya mu nsi yonna, buli omuntu yeetaaga okulya waakiri 200gms ez'enva endiirwa buli lunaku kyokka mu Uganda tuli ku 5gms-10gms olunaku. Kino kitegeeza nti ssinga Bannayuganda beeyongera okulya enva endiirwa n'omutindo ne gutuukirizibwa, enva endiirwa zisobola okufuuka bizinensi eyimirizaawo Bannayuganda", Oyee bw'agamba.

Agamba nti, okutondebwawo kw'enkola eno awankuhhaanira abakugu ab'enjawulo, kyakuyamba okuwa abalimi obukugu bwe beetaaga okulaba ng'omulimu gwabwe bagukola mu ngeri y'ekikugu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Munnayuganda abadde amansa ...

“Bannayuganda abasukka mu 20 be baakafa Corona e South Africa okuli; Caroline Nantongo abadde amanyiddwa nga Hajjati...

Gav't etumizza ekyuma ekyey...

GAVUMENTI etumizza ekyuma ekifulumya kemiko ezeeyambisibwa mu kukebera obulwadde bwa Corona n’endwadde endala....

Male Mabirizi

Mabirizi attunse ne Ssaabaw...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi asabye kkooti ya East Africa ezzeewo ekkomo ku myaka gya pulezidenti kubanga palamenti...

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....