TOP

Batendese abavuzi ba tulakita ezirima 560

Added 7th January 2020

Abavuzi batulakita 560 batendekeddwa okuvuga tulakita 320 ezaaguliddwa Gavumenti nga za kuyamba ku balimi b'omu byalo eby'enjawulo nga basasula ssente entono

 Abaatendekeddwa nga balaga kye baayize okukola

Abaatendekeddwa nga balaga kye baayize okukola

Bya Paddy Nsobya   

Ekitongole kya NAADS kifulumizza abavuzi ba tulakita 560 okuyamba okukozesa obulungi tulakita 320 ze kireese mu nteekateeka ya gavumenti ey'okusitula omutindo gw'ebyobulimi n'okwongera ku bungi bw'ebintu ebirimibwa okuva mu bitundu by'eggwanga ebitali bimu.

 baatendekeddwa okuvuga tulakita nga balaga satifikeeti zaabwe ze baafunye Abaatendekeddwa okuvuga tulakita nga balaga satifikeeti zaabwe ze baafunye

 

Akulira ekitongole kya NAADS, Samuel Mugasi bwe yabadde akwasa abamu ku bagoba ba tulakita abaatendekeddwa ku kitebe ky'ebyobulimi ekya MUZARDI e Ntaawo e Mukono ebbaluwa zaabwe gye buvuddeko, yagambye nti batendese abantu bano okuyamba okukozesa obulungi tulakita zino gavumenti zeereese okutumbula ebyobulimi mu byalo.

"Tulakita zino mutendekeddwa muzikozese okutumbula ebyobulimi mu disitulikiti ze mukiikiridde so si kusomba musenyu na mayinja na mbaawo mu byalo. Abalimi baakuzipangisa ku nsimbi ensaamusaamu," Mugasi bwe yagambye.

 kulira ekitongole kya  mu ggwanga amuel ugasi ngakwasa omu ku baatendekeddwa ebisumuluzo bya tulakita abalage nga bwayize okugirimisa Akulira ekitongole kya NAADS mu ggwanga, Samuel Mugasi ng'akwasa omu ku baatendekeddwa ebisumuluzo bya tulakita abalage nga bw'ayize okugirimisa.

 

Yagambye nti, abalimi okukozesa enkumbi basaasaanya ssente nnyingi ate n'obudde kitwala bungi okuteekateeka ennimiro kyokka akozesa tulakita asaasaanya kitono bwogeraageranya n'ow'enkumbi, ate n'obudde owa tulakita akozesa butono okuteekateeka ennimiro ebirime ne bikulira mu budde.

Yeebazizza ekitongole kya MUZARDI ne kkampuni ya Engineering Solution abayambye ku NAADS okubangula abavuzi ba tulakita bano n'ategeeza nti, gavumenti nayo eyanguyirwa emirimu bw'efuna abagikwatirako ku mirimu gyayo egy'okutumbula ebyobulimi mu ggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...