TOP

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu mu bulimi

Added 20th January 2020

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye ne weewala okufiirwa n’okufootolwa abaguzi mu kaseera k’amakungula.

Omulimi ng’asunzula ennyaanya.

Omulimi ng’asunzula ennyaanya.

Bya HERBERT MUSOKE

OKUKOLA kontulakiti n'omuguzi y'emu ku ngeri omulimi n'omulunzi mw'asobola okuyita okufuna akatale k'ebintu bye ne weewala okufiirwa n'okufootolwa abaguzi mu kaseera k'amakungula.

Francis Ssekate 24, omulimi wa wootameroni e Namayamba mu ggombolola y'e Makulubita mu Luweero y'omu ku balimi abali mu nkola eno era ng'agamba nti emuyambye okufuna mu bulimi bw'alimu kuba agenda okutuuka ku makungula ng'akatale kamulindiridde.

"Ekisinga obulungi ku nkola eno, obeera mukakafu nti akatale k'ebyamaguzi byo weekali nga ky'olina okukola kwe kugoberera obukwakkulizo obukuweebwa abaguzi naddala obw'omutindo kuba kikulu", Ssekate bw'agamba.

 mulimi ngava okuyunja amatooke Omulimi ng'ava okuyunja amatooke.

 



NTANDIKA OKULIMA

Bwe nnava mu ssomero ku myaka nga 18, natandikawo kkampuni ekola emmere y'enkoko okuva mu musaayi gwe naggyanga ku Kaleerwe kyokka nga temuli magoba ne nsalawo okuyingira obulimi bwe nakula nga ndabako ate nga ssente z'okulima zijja omulundi gumu n'obaako ky'okola eky'omugaso.

Agamba nti, awezezza emyaka etaano ng'alima wootameroni ebika eby'enjawulo kuba zanguwa okukula ng'alima za myezi ebiri n'ekitundu ng'atandika okukungula ate nga teriiko mirimu mingi ng'ebirime ebirala.

 atovu ngali nomulimi wa cukamba Matovu ng'ali n'omulimi wa Ccukamba.

 



OKULIMA WOOTAMERONI

Ssekate agamba, Watameroni alina ebika ebisoba mu 1,000 wadde ng'abamu bamanyi za bibomboola ne kiragala omukwafu wabula mu bino, mulimu ebika era buli lukya waliwo ebifulumizibwa. Enzirugavu nnima Black king ate ez'ebikuubo nnima JY ne Sina kuba zino zikulira mu myezi ebiri n'ekitundu wadde ng'eriyo endala ez'emyezi egisingawo.

"Bw'embeera nsimba ndeka amabanga ga ffuuti 4x4 ne nfuna ebikolo 1200 nga buli kinnya nteekamu ebikolo bibiri. Omukebe gw'ensigo gugula 300,000/- ebika byonna by'ensimba era nga gusobola okusimba yiika", bw'agamba.

Ayongerako nti wootameroni teyeetaaga mazzi mangi wadde enkuba kuba kigiremesa okugejja, n'okukula obulungi era ssinga enkuba ekikwata nga waakasimba ensigo mu ttaka tezimera so nga n'eddagala zeetaaga ttono.

Zisinga kutawaanyizibwa kalalankoma azirya ne zivunda. Ono amutega n'eddagala erissibwa mu bucupa (Fry traps), n'ekigenge nga kino kikuba ebikoola n'ebibala byennyini. Wano obeera olina okuzifuuyira kuba eddagala gyeriri mu maduuka wadde lya buseere.

 sekate ngalabirira ssamya eroni ze Ssekate ng'alabirira ssamya Meroni ze.

 



AKATALE

Ssekate agamba nti, "akatale kansumbuwako ng'atandika okulima. Natandika okunoonya akatale era bwe nawulira aba Kulima Bugagga, ne nkwatagana nabo ne bampa kontulakiti era okuva awo hhenda okusimba nga mmanyi wehhenda okuzitunda".

Bano nga tebannaba kukuwa kontulakiti musooka okutuula ne bakulaga bye bakwetaagamu okusinziira ku katale kaabwe kuba bo balina akatale kuno n'ebweru w'eggwanga.

Wano olina okukuuma omutindo kuba wootameroni erina okuba ng'ewooma ate nga mmyufu era ng'esibye bulungi. "Tussaako ekijimusa kya NPK ne CAN naddala ku kuwooma, eddagala eriyambako okuwooma n'okumyuka nga Mancozeb", Ssekate bw'agamba.

Agamba nti, tewali bbeeyi ya ssalirwa wabula bakuwa bbeeyi esembayo gamba mu kiseera ky'ekidibo tebakka wansi wa 2,000/- ennene ate nga waliwo lwe tulinnya ne batuwa ne 10,000/- mu wootameroni emu. Noolwekyo olina okukola ekintu nga kirungi ne bakuwa ssente ezeegasa naye nabo bagendera ku bbeeyi y'akatale.

Ayongerako nti, ssente z'oyinza okufuna mu yiika ya wootameroni kisinziira ku ngeri gy'olabiriddemu ennimiro yo ate n'embeera y'obudde kuba ssinga enkuba etonnya nga bw'ebadde, togenda kufunamu so nga ssinga obeera n'obusobozi obufukirira ne bwe kibeera kitono kitya ku musana, osobola okulya ssente kuba zigejja ate nga mpoomu.

"Tewali ssente za ssalira z'osobola kugamba nti ze ziva mu yiika kuba kisinziira ku bbeeyi eri mu katale, engeri gy'olabiridde ennimiro yo n'ebirala. Waliwo we nafuna obukadde 10 mu yiika ate bwe nazzaawo n'afunamu 7", bw'agamba.

Yagambye nti, kontulakiti eno emuyambye okufuna mu bulimi era naye aliko bavubuka banne baagenze akwatako ne balima okulaba nga basobola okusigala ng'abawa kkampuni ebibala.

OKUSOOMOOZEBWA

Ssekate agamba nti, alina okusoomoozebwa kw'abakozi kuba abavubuka tebaagala kukola ate ng'abalala abajja okuyigirizibwa batwala abakazi b'obeera nabo.

Ssekate ayagala okulima ekisingawo wabula alina okusoomoozebwa kwa kapito okusobola okugaziya kuba gy'okoma okukola ekinene n'okufunamu.

KONTULAKITI EKUKAKASA AKATALE

Med Matovu dayirekita w‘ekibiina kya Kulima Bugagga, agamba nti, omulimi yenna ayagala okufuna kontulakiti yaabwe alina okubeera mmemba mu kibiina kya Kulima Bugagga ekisangibwa e Lubowa ku lw'e Ntebe.

"Tulina akatale kuno n'ebweru mu Kenya, Sudan, amawange ga Buwalabu ne Bulaaya. Olw'okukakasa omutindo, twasalawo okutandikawo ekibiina era buli ayagala okufuna kontulakiti yaffe alina kwegatta ku kibiina kino", Matovu bw'agamba.

Annyonnyola nti mu kontulakiti essibwako omukono gw'omulimi n'abakulira ekibiina mubaamu ebikkaanyizibwako nga wano omulimi alina okwekakasa ky'agenda okulima; ng'amanyi erinnya, ebbanga kwe kikulira, obungi bw'amakungula, obunene, obuwoomi, obulungi bw'okungulu n'ebirala.

Bano basasulwa okusinziira ku nzikiriziganya etuukiddwaako okutandika ku buli mwezi okutuukira ddala ku luvannyuma lw'omwaka.

EBIRUNGI

Omulimi yandibadde yeegatta ku nkola ya kontulakiti kuba kimuyamba obutafiirwa mu kiseera ky'amakungula kuba assaamu ssente nga wano ky'etaagisa okubeera omukakafu nti olina akatale mw'onatunda ebibala byo.

Mu ngeri y'emu, omulimi akakatibwako okwenyigira mu mirimu gyonna ku ffaamu ye abeera alina okukekkerezza ssente z'asaasaanya n'okumanya entambula ya ffaamu okukakasa omutindo.

"Mu Kulima Bugagga tugula buli kireme ‘ebitamanyiddwa okugeza ‘Gunda' nga kino tukijja Jinja wabula nga tusunsula mu bunene n'ebika. Okugeza amatooke tutwala bika binnansi okusingira ddala Musakala kuba ono abeera n'eminwe eminene ate ng'awangaala nga tannayonooneka naddala nga tumutwala mu Bulaaya", Matovu bw'agamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...

Nabunya ne bba Sheikh Muzaata (mu katono).

Muka Muzaata ataddewo obukw...

MUKA Sheikh Nuhu Muzaata ataddewo obukwakkulizo okuddayo mu ddya. Kuluthum Nabunya yanoba kati emyazi esatu. Muzaata...