TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Abakugu baabano abagenda okusomesa mu misomo gya 'Harvest Money'

Abakugu baabano abagenda okusomesa mu misomo gya 'Harvest Money'

Added 10th February 2020

VISION Group etwala ne Bukedde eronze ttiimu n’abakugu abagenda okusomesa abalimi n’abalunzi mu misomo egy’enjawulo mu nnaku essatu ez’omwoleso gwa Harvest Money mu kisaawe e Namboole.

 Abamu ku bagenda okusomo mu mwoleso gwa Harvest Money e Namboole.

Abamu ku bagenda okusomo mu mwoleso gwa Harvest Money e Namboole.

Omwoleso gwakubeerawo okutandika ku Lwokutaano nga February, 14 okutuuka ku Ssande nga February16 era nga mu nnaku zino wategekeddwaawo emisomo munaana buli lunaku egitandika ku ssaawa 3:00 ez'oku makya ng'okugyetabamu osasula 20,000/- olunaku ate n'akawungeezi okutandika ku ssaawa 11:00 okutuusa ku 1:00 wabeerewo omulala gumu ogw'obwereere.

Abasomesa balondeddwa okuva mu bitongole ebikola ku bulimi n'obulunzi kwossa abalimi n'abalunzi abaddukanya ffaamu zaabwe nga bizinensi okusobola okukuwa obukodyo bw'okutambuza ffaamu yo nga bizinensi ofune ssente.

ABAKUGU ABANAASOMESA

Dr. Jolly Kabirizi: Mukugu mu ndiisa y'ensolo n'okulundira awafunda ng'essira waakulissa ku ngeri y'okukozesa kasasiro amalagala ga lumonde, ebisoolosoolo, kalimbwe, ebikuta by'ebikajjo, ebikuta by'amatooke n'ebirala.

Dr. Arthur Tumwine: Musazi wa nsolo era agenda kutunuulira ebikwata ku bulamu bw'ente. Bano bagenda kusomesa ku Lwomukaaga okutandika ku ssaawa 8:00 okutuusa ku 10:00 ez'olweggulo.

Edward Lutaakome: Mukugu mu kunoonyereza ku by'emmwaanyi era agenda kusomesa ku ngeri y'okwongera omuwendo ku mmwaanyi okutandikira ku musiri.

Dr. Godfrey Kagezi: Mukugu okuva mu kitongole kikola ku kunoonyereza ku mmwaanyi mu Uganda ekya National Coffee Research Institute ekikolera wansi wa NARO. Bano baakusomesa ku Lwokutaano ku ssaawa 3:00 okutuusa ku 5:00 ez'oku makya ne ku Ssande okutandika ku ssaawa 8:00 okutuusa ku 10:00 ez'olweggulo.

Dr. Emma Naluyima (Maama pig): Muwawo wa nsolo era mulunzi wa mbizzi ku ffaamu ye esangibwa e Bwerenga-Ntebe. Agenda kusomesa engeri gy'okamula ssente mu mbizzi ng'otandikira ku kulonda olulyo n'okulwanyisa obulwadde.

Christopher Mulindwa: Mukugu mu kunoonyereza ku bulunzi bw'embizzi n'obulamu. Dr. Naluyima ne Mulindwa baakusomesa ku Lwokutaano okutandika ku ssaawa 3:00 okutuusa ku 5:00 ez'oku makya.

Ali Kiyaga: Mukugu mu bulunzi bw'ebyennyanja era mulunzi wa byennyanja mu Sanga Fish farm. Agenda kusomesa ku kulunda n'okufuna mu byennyanja.

Owori Odende: Mukugu mu kulunda ebyennyanja. Ono ne Kiyaga baakusomesa ku Lwokutaano okutandika ku ssaawa 3:00 - 5:00 ez'oku makya.

Grace Bwogi: Mukugu mu kulunda embuzi e Rakai ng'alina embuzi ezisoba mu 400.

Dr. James Muwanga: Musawo alongoosa ebisolo okuva mu Makerere yunivasite era nga mulunzi e Ssembabule nga y'akulira ffaamu ya Ssembeguya Uganda Estates. Ono waakwegatta ku Bwogi okusomesa obulunzi bw'embuzi nga baakusomesa ku Lwokutaano ku ssaawa 3:00 - 5:00 ez'oku makya ne ku Lwomukaaga okutandika ku ssaawa 8:00 - 10:00 ez'olweggulo.

Bashir Mayiga: Mmuwanguzi w'empaka z'omulimi asinga 2016 era omulimi w'obutunda omukuukuutivu y'agenda okukulemberamu omusomo guno okuwa abalimi amagezi g'okulima obutunda mu ngeri ennyangu.

Paul Buyungo: Ono naye mulimi wa butunda era agenda kusomesa abalimi ku bulwadde obutawaanya obutunda n'engeri gy'osobola okubulwanyisa. Bano bagenda kusomesa ku Lwokutaano okutandika ku ssaawa 8:00 - 10:00 ez'olweggulo ne ku Lwomukaaga okutandika ku ssaawa 8:00 - 10:00 ez'olweggulo.

Ssaalongo Robert Sserwanga: Mukugu mu by'okulunda enkoko okuva mu kitongole kya Agrarian Systems e Wakaliga mu Kampala.Dr. Samuel Ssewagudde: Musawo mukugu mu by'okuliisa enkoko okuva mu Trouw Nutrition okuva mu Budaaki. Bano baakusomesa ku Lwokutaano okutandika ku ssaawa 8:00 - 10:00 ate guddibwemu ku Ssande okutandika ku ssaawa 3:00 - 5:00 ez'oku makya.

Chris Magezi: Y'omu ku bakulira kkampuni ya Chammprisa International abatuusa emmere y'enkoko esinga omutindo era emu ku kkampuni ezaatadde ssente mu mwoleso gwa Harvest Money. Bano baakusomesa okulunda enkoko nga bizinensi ku Lwokutaano okutandika ku ssaawa 8:00 -10:00 ez'olweggulo.

Bruce Benywanira: Ono mulimi wa lusuku olunene ddala mu disitulikiti y'e Isingiro ng'agenda kukuwa obukodyo bw'okulima amatooke nga bizinensi.

Ssaalongo Washington Mugerwa: Musomesa mutendeke era mulimi e Bwerenga-Entebbe. Agenda kusomesa obulimi bw'amatooke nga bizinensi ng'essira waakulissa ku kulwanyisa akawuka akakaza ebitooke nga weeyambisa ekigimusa ky'osobola okukola okuva mu butonde. Bano baakusomesa okutandika ku ssaawa 8:00 - 10:00 ez'olweggulo ne ku Lwomukaaga okutandika ku ssaawa 3:00 okutuusa ku 5:00 ez'oku makya.

Prof. Diana Nambatya Nsubuga: Ono mukugu mu kukola ebijimusa eky'obutonde mu Ugda era waakusomesa ku ngeri y'okulimira awafunda n'okusomesa abatu engeri gye kikolebwamu.

Harriet Nakabaale: Mukugu mu kuteekateeka ennimiro z'awafunda mu kutiya, ebisawo, ebipipa, ebidomola n'ebirala. Baakusomesa ku Lwokutaano okutandika ku ssaawa 8:00 - 10:00 ez'olweggulo.

Steven Kunihira ( Mr. Bee): Mukugu mu kulunda enjuki okuva mu kitongole kya NARO. Waakusomesa ku Lwomukaaga okutandika ku ssaawa 3:00 - 5:00 ez'oku makya.

Dr. Charles Lagu: Y'akulira ekitongole ekikola ku kuzaazisa n'okwazisa endyo mu Uganda. Waakusomesa ku Lwomukaaga okutandika ku ssaawa 3:00 - 5:00 ez'oku makya.

Abel Kiddu: Mulimi wa butiko e Makindye mu Kampala. Waakisomesa ku Lwomukaaga okutandika ku ssaawa 3:00 - 5:00 ez'oku makya.

Joseph Male: Mukugu era akola n'ekitongole kya Holland Green Tech. Waakusomesa okutandika ku ssaawa 8:00 - 10:00 ez'olweggulo.

David Ochama: Mukugu mu by'emiti okuva mu NARO era agenda kusomesa okulima emiti gy'ebibala nga Ovakedo, emiyembe n'ebirala. Waakusomesa ku Ssande okutandika ku 3:00 - 5:00 ez'oku makya.

Musubi Farm: Abagiddukanya bagenda kusomesa abalimi ennima ya ovakedo, enkungula n'engeri y'okufunamu ssente ku Ssande okutandika ku ssaawa 8:00 - 10:00 ez'olweggulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...