TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro okusobola okuyita mu muggalo gwa Covid19

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro okusobola okuyita mu muggalo gwa Covid19

Added 23rd May 2020

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali lye yegattako mu muggalo gwa COVID 19 ogwagotaanyizza emirimo gye egy'okuwola ssente mu kampuni ye eya Tambridge investments Ltd.

Agamba nti wadde kampuni ye mpandiise ng'erina layisinsi ya Uganda Microfinance Regulatory Authority (UMRA) era nga tebaggalwawo naye Coronavirus oba ssenyiga omukambwe yagisanyalazizza.  

Tamale ensimbi aziwolera mu Lukaya e Kalungu n'e Kampala ng'agamba nti bizinensi eno eyimiriddewo ku basuubuzi abaagala okuzizaazamu amagoba ng'emirimo olwaggalwawo n'abewola ne balekera awo.

Olw'omugaggalo ogutaliiko bbanga ggere,yasalawo akwate enkumbi ng'asimbiddemu endokwa z'emmwanyi 300 ez'ekika kya Cutting n'endu z'ebitooke 350 mu yiika bbiri  ez'ettaka ku kyalo Lutente mu Lukaya.

Agamba nti omwazi guno we gunnagwerako ng'asimbye endokwa 1000 ez'emmwanyi ng'asuubira nti mu myaka ebiri ajja kuba atandise okukungula.

Takomye awo era Tamale yefunyiridde mu kusimba omusiri gwa lumonde nga mu kiseera kino yakasimba yiika 4 gw'agamba nti y'ajja okumwanguyiza ku ssente.

"Omuggalo gumpadde obudde okutandika obulimi obwesigamiziddwa ku mulamwa gw'ebyenfuna okusobola okuzibikira bye nfiiriziddwa mu kusanyalazibwa kwa Coronovirus",Tamale bw'annyonnyola.

Gwe alina w'olimira,omuggalo ogweyambisizza otya okugunjaawo ekkubo eddala ery'okuggamu ssente?

 

 

alt=''

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oulanyah

Oulanyah alangiridde okwesi...

OMUMYUKA wa Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah agambye nti mwetegefu okuttunka ne Rebecca Kadaga ku kifo kya...

Capt. Zizinga waakuziikibwa...

MAJ. Olivier Zizinga 84, munnansiko eyali omuyambi wa Pulezidenti Yoweri Museveni mu nsiko gwe baalumiriza okumuwa...

Fr. Musaala.

Musaala awolerezza bannaddi...

FAAZA Anthony Musaala agambye nti kikyamu okukissa ku Klezia nti yeyuddeko NRM obutakola bulungi mu kalulu mu kitundu...

Pulezidenti Museveni.

Museveni mwetegefu okutabag...

PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni agambye nti mwetegefu okutabagana n’abooludda oluvuganya Gavumenti oluvannyuma...

Abasajja nga basitudde omukazi eyakoseddwa.

Poliisi y'e Lugazi eridde m...

POLIISI erwanaganye n'abawagizi ba Asea John Bosco awangudde ekya Mmeeya wa Lugazi Municipality.Bano babadde baagala...