TOP
  • Home
  • Aga wiiki
  • Abalimi b'emmwanyi e Lwabenge basabye Gavumenti okutereeza ebbeeyi beenyumirize mu bulimi

Abalimi b'emmwanyi e Lwabenge basabye Gavumenti okutereeza ebbeeyi beenyumirize mu bulimi

Added 7th July 2020

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira ebaterereze ebbeeyi yaazo nga tekyukakyuka kukka nnyo kubanga ne bafiirwa ze bassaamu.

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Bagiwabudde ne ku ky'okubagabira endokwa,ebigyimusa n'ebirala nti ebyo byokka tebiymba kwagazisa mulimi kusimba mmwanyi nga ky'eragira mw'ezo ze bazze babagabira abantu mu buli sizoni ya nkuba ne bazikaliza ku makubo ne ku bifugi.

"Gavumenti essaamu obutitimbe n'obutitimbe bw ssente mu pulogulaamu y'aokugabira abalimi endokwa naye ziganyulwamu bannasale bbeedi bokka nga y'ensonga lwaki ne pulogulaamu y'ebigyimusa n'ebirala,yekiikiddwamu abasuubuzi abenoonyezaamu ez'amangu",bwe bakaatirizza.

Joseph Musese ow'e Kabaale-Kibisi ng'alima kika kya Cutting ng'azigyimusa n'obusa bw'ente n'obwembizzi nti bumala emyaka ettaano mu ttaka agamba nti annaasimba emmwanyi talinda lwe bannaamuwa ndokwa za bwerere alyoke asimbe oba okuweebwa ebigyimusa agyimuse.

Omu ku balimi, Francis Kibira

N'agattako nti ab'ekika ekyo ssi balimi batuufu nga y'ensonga lwaki bwe buli lwe babibagabira babiragajjalira nti naye Gavumenti bw'etereeza akatale k'emmwanyi ne zirinnya ebbeeyi eya wagulu kijja kuwaliriza abantu bonna okuzeesimbira bokka.

Musese awabudde ne ku bika by'ebika nga Cutting,Elite ne zinnansangwa nti zonna zibala kasita zirabirirwa mu ndabirira entuufu n'okuziwa obudde obumala wadde nga Cutting y'azisingako mu kubala empeke ennene.

Agattako nti Cutting olw'obutabeera na mulandira ogwa luwagga yetaagamu enkizo mu budde n'okulabirirwa naddala mu budde bw'ekyeya nti awulira mangu omusana kubanga emirandira egigye giriira kumpi.

Omulimi David Ssegawa ng'ava okulima okunoga emmwanyi

"Akatale nga kabaddewo akatakyukyuka,omulimi n'atunda emmwanyi ze ku bbeeyi asobolera ddala bulungi okwetuusaako buli kimu naye kati nga kiro ya kasse eyagulako e 5700 /= ng'obudde buno egula wakati wa 3700 ne 3900 kinnafuya saamu ssenteze",Musese bw'akaatirizza.

N'awagirwa Francis Kibira ng'agamba nti Gavumenti okubaterereza mu bbeeyi ky'ekisinga okubagabira ebikola mu by'obulimi kubanga mu  2019 bazitundira wagulu kati nga zakka kyokka ebigulwa ng'eddagala bibaseerwa.

Ate Ronald Kyobe ng'alima Elite yagambye nti nnungi nnyo nnyo ku muntu atandika okulima emmwanyi kasita afuna ensingo ezanogebwa ku bika ebituufu naye abantu bazekanasa nti baagala za Cutting.

Musese ng'alaga emmwanyi ze
Wano ng'alaga obusa bw'ayiwa mu mmwanyi ne buziriikiriza

"Abantu olw'okuba tebasing'aniddwamu kirowoozo kisimba mmwanyi bakitwala nga Gavumenti ezibakako obukasi ne baziragajjalira nga balowooza nti gye bafiiriza",Kyobe bw'annyonnyola.

Bakkiriziganyizza ne Ssentebe wa LCIII e Lwabenge David Sseggawa nti obulimi bugagga naye nga bufunira ataddemu ssente ng'alina ekiruubirirwa ky'obutazifiirwa ng'oyo y'abufunamu eky'okulya n'amagoba ga ssente.

Sseggawa annenyezza abakungu ebekomya ebintu ate bo bennyini bye bayisa okuyamba abalimi n'ajjuliza obuwumbi e 145 obwayisiddwa mu bajeti nti bwakuwolebwa abalimi kyokka ne batannyonnyolwa makubo gayitibwamu kubufuna.

Akunze abavubuka bavve mu kwagala eby'amangu nti betabe mu bulimi naddala obw'emmanyi nti zijja kubagasa nnyo mu bukadde bwabwe n'asaba ne bakulembeze banne okukola kye kimu nga bye bakubiriza abalala okukola nga n'ewaabwe gy'ebiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukwago (ku ddyo) mu lukiiko.

Lipooti ku ddwaaliro lya KC...

MU lukiiko Loodi Mmeeya Erias Lukwago mwe yayombedde olwa Gavumenti okusala ssente zegenda okuwa KCCA, yayanjudde...

Abawagizi ba NUP nga batongoza ekipande kya Bobi ekipya.

Lwaki Bobi akyusizza akakoo...

OMUBAKA Kyagulanyi Sentamu ‘Bobi Wine’, akyusizza ekifaananyi kye ekitongole ekigenda okukozesebwa ku kakonge mu...

Ettaka osobola okulikubirako bbulooka ng'ono omuvubuka.

By'olina okukolera ku ttaka...

Ettaka kye kimu ku by'obugagga ebirabwako omuntu by'abeera nabyo abantu abatali bamunda ne bategeera obukozi bwe...

Paasita Ssennyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga yeeyamye ...

OMUSUMBA Jackson Ssenyonga owa Christian life church e Bwaise yeeyamye okulabirira abaana ba Pasita Yiga abanaakeberebwa...

Ekisse Paasita Yiga Mbizzaa...

PASITA Augustine Yiga Abizzaayo afiiridde ku myaka 43. Ono abadde nga nnawolovu atafiira ku bbala limu.