TOP

Gen. azzizzaamu abalimi b'ennaanansi essuubi

Added 2nd September 2020

NG'ALI mu kawefube w'okwesaggulira obuwagizi mu Bannabukoto Central e Masaka bamuzze mu Paalamenti,amyuka Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi engabo agirumizza maanyi.

Ssekandi ne Saleh

Ssekandi ne Saleh

Munnamateeka Ssekandi y'atutte akulira ekitongole kya Bonnabagaggawale Gem Salim Saleh Akandwanaho mu konsityuwensi ye azzeemu abalonzi be amaanyi ng'abatogoleza omulimo gw'okubazimbira ekyuma ekikamula n'okulongoosa ebibala.
Pulojekiti eno yatumiiddwa Kyesiiga Beverage Bottling Company Ltd ng'ebibala batunuulidde obutunda n'ennanansi ebisinga okulimwa mu magombolola Kyesiiga, Buwunga, Kyanamukaaka ne Bukakatta.
Okuva omuggalo gwa COVID 19 lwe gwabalukawo mu ggwanga n'abalimi bano ne basanyalala olw'ebbeeyi okuggwa ng'obutale gye baabitundanga bwesibye nga mu kiseera kino bangi zibavundiddeko ku misiri olw'okubulwa abaguzi.
Abaguzi b'obupikipiki be babadde bazitambuzaako nga bazitunda wakati w'ennusu 500 ne 2000 naye nga tebasobola kuzimalawo ekyabatuusizza okulaajanira Gavumenti ebakwatizeeko.
Munnamaggye Saleh yalagidde omulimo gutandikirewo n'abasuubiza okubakwatizaako okulaba ng'ekirooto kyabwe kituukirira mu bwangu baganyulwe mu ntuuyo zaabwe.
Mw. Ssekandi yasabye Bannabukoto Central bamwongere ekisanja ayongere okubasakira ng'abafuukira olugogo kwe balembekera enkulaakulana okuva ku keeki y'eggwaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsubuga ng’ali mu kkooti e Masaka.

Gwe baasibira e Kitalya awa...

OW'EKIBIINA kya NUP eyasibwa mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yasangibwa ne magaziini ezibaamu amasasi,...

Wasswa nga bamuyingiza akaduukulu.

Abadde amenya amayumba g'ab...

OMUVUBUKA eyakwatiddwa ku gw'okumenya amayumba g'abantu yeewaddeko obujjulizi ng'enju gye yasoose okumenya bwetabaddemu...

Enanga

Poliisi eyigga omuwala eyag...

POLIISI etandise okunoonya omuwala, Unique Kobusigye gw'erumiriza okusaasaanya amawulire ku kyasse Omusumba w'e...

Balooya ba NUP abakulembeddwaamu Ssegona (ku kkono) nga bakonkomalidde wabweru wa ggeeti.

Poliisi by'esazeewo ku kuva...

POLIISI ekkirizza okuva mu maka ga Kyagulanyi wabula n'etegeeza nti yaakusigala ng'emutambulizaako amaaso. Omwogezi...

Poliisi n’abatuuze b’e Kitega nga bayamba omukazi mmotoka gwe yawabyeko.

Mmotoka yeefudde n'asimattu...

Mmotoka ya buyonjo ewabye n'egwa ne yeefuula nga bw'ekkirira mu kikko ne yekkata ku muti. Abaagirabye ng'egwa baayanguye...